3 Ku lunaku Yakuwa lw’alikuggyako obulumi n’okweraliikirira okw’amaanyi n’emirimu egy’obuddu gye baakuwalirizanga okukola,+ 4 olyogera olugero luno ku kabaka wa Babulooni:
“Oyo eyakakanga abalala okukola emirimu naye atuuse ku nkomerero ye!
Okunyigirizibwa kukomye!+