Yeremiya 25:15, 16 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 15 Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bwe yaŋŋamba: “Ggya mu mukono gwange ekikopo kino eky’omwenge ogw’obusungu bwange, onywese amawanga gonna gye nnaakutuma. 16 Bajja kunywa batagale era babe ng’abalalu olw’ekitala kye nnaasindika mu bo.”+
15 Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bwe yaŋŋamba: “Ggya mu mukono gwange ekikopo kino eky’omwenge ogw’obusungu bwange, onywese amawanga gonna gye nnaakutuma. 16 Bajja kunywa batagale era babe ng’abalalu olw’ekitala kye nnaasindika mu bo.”+