LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 24:8
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 8 “‘Naye ng’ayogera ku bibala by’ettiini ebibi ennyo ebitasobola kuliibwa,+ Yakuwa agamba bw’ati: “Kabaka Zeddeekiya+ owa Yuda, abaami be, n’abantu b’omu Yerusaalemi abaawonawo, abo abakyali mu nsi eno n’abo abali mu nsi ya Misiri,+ nja kubatwala ng’ebibala by’ettiini ebyo.

  • Yeremiya 34:21
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 21 Ate era nja kuwaayo Kabaka Zeddeekiya owa Yuda n’abaami be mu mukono gw’abalabe baabwe ne mu mukono gw’abo abaagala okubatta ne mu mukono gw’eggye lya kabaka wa Babulooni+ erigumbulukuse ne libaviira.’+

  • Yeremiya 37:17
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 17 Awo Kabaka Zeddeekiya n’amutumya, n’abaako by’amubuuza mu kyama mu nnyumba ye.*+ Yamubuuza nti, “Waliwo ekigambo kyonna ekivudde eri Yakuwa?” Yeremiya n’amugamba nti, “Weekiri!” era n’ayongerako nti, “Ojja kuweebwayo mu mukono gwa kabaka wa Babulooni!”+

  • Yeremiya 38:18
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 18 Naye bwe muteeweeyo* eri abaami ba kabaka wa Babulooni, ekibuga kino kijja kuweebwayo eri Abakaludaaya, era bajja kukyokya omuliro,+ era tojja kusimattuka mu mukono gwabwe.’”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share