-
Eby’Abaleevi 18:25Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
25 N’olwekyo, ensi efuuse etali nnongoofu, era nja kugibonereza olw’ensobi zaayo, era ejja kusesema abo abagibeeramu.+
-
-
Isaaya 24:3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
3 Ensi eriggibwamu buli kintu;
Erinyagibwa obutalekebwamu kantu,+
Kubanga Yakuwa y’ayogedde ekigambo kino.
-
-
Yeremiya 25:9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 ŋŋenda kutumya ab’amawanga gonna ag’ebukiikakkono,”+ Yakuwa bw’agamba, “n’omuweereza wange+ Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni, era nja kubaleeta balwanyise ensi eno,+ n’abagibeeramu bonna, n’amawanga gonna agabeetoolodde.+ Nja kubazikiriza era mbafuule ekintu eky’entiisa era eky’okufuuyira oluwa, era mbafuule amatongo ag’olubeerera.
-