-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:22, 23Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
22 Kyokka ne mu kiseera mwe yalabira ennaku, Kabaka Akazi yeeyongera bweyongezi butaba mwesigwa eri Yakuwa. 23 Yatandika n’okuwaayo ssaddaaka eri bakatonda b’e Ddamasiko+ abaamuwangula,+ n’agamba nti: “Olw’okuba bakatonda ba bakabaka ba Busuuli babayamba, nange nja kuwaayo ssaddaaka gye bali bannyambe.”+ Naye baamuviirako ye ne Isirayiri yonna okwesittala.
-