LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Matayo 15
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Obulombolombo bw’abantu (1-9)

      • Ebyonoona omuntu biva mu mutima (10-20)

      • Omukazi Omufoyiniikiya eyalaga okukkiriza okw’amaanyi (21-28)

      • Yesu awonya endwadde nnyingi (29-31)

      • Yesu aliisa abantu 4,000 (32-39)

Matayo 15:1

Marginal References

  • +Mak 7:1, 2

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 136

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/1989, lup. 10

Matayo 15:2

Footnotes

  • *

    Kuno tekwali kunaaba ngalo eziddugala, naye kwali kutuukiriza kalombolombo k’Abayudaaya ak’okwetukuza.

Marginal References

  • +Luk 11:38; Yok 2:6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    8/2016, lup. 30

    Yesu—Ekkubo, lup. 136

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/1989, lup. 10

Matayo 15:3

Marginal References

  • +Mat 15:9; Mak 7:8-13; Bak 2:8

Matayo 15:4

Marginal References

  • +Kuv 20:12; Ma 5:16; Bef 6:2
  • +Kuv 21:17; Lev 20:9

Matayo 15:5

Marginal References

  • +Mak 7:11, 12

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 136

    Essanyu mu Maka, lup. 174-175

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/1989, lup. 10

Matayo 15:6

Marginal References

  • +Mak 7:13

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 136

    Essanyu mu Maka, lup. 174-175

    2/1/1989, lup. 10-11

Matayo 15:7

Marginal References

  • +Mak 7:6

Matayo 15:9

Marginal References

  • +Is 29:13; Mak 7:7

Matayo 15:10

Marginal References

  • +Mak 7:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/1989, lup. 11

Matayo 15:11

Marginal References

  • +Mak 7:15; Bef 4:29; Yak 3:6

Matayo 15:12

Marginal References

  • +Mak 7:17

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 136

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/1989, lup. 11

Matayo 15:14

Marginal References

  • +Mat 23:15, 16; Luk 6:39

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 58

Matayo 15:16

Marginal References

  • +Mak 7:18-23

Matayo 15:18

Marginal References

  • +Mak 7:20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2002, lup. 30-31

    8/1/1996, lup. 23

Matayo 15:19

Footnotes

  • *

    Mu Luyonaani por·neiʹa. Laba Awanny.

Marginal References

  • +Lub 8:21; Yer 17:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2013, lup. 10-12

Matayo 15:20

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Mat 15:2.

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 136-137

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/1989, lup. 11

Matayo 15:21

Marginal References

  • +Mak 7:24

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 138

Matayo 15:22

Marginal References

  • +Mak 7:25-30

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 138

Matayo 15:24

Marginal References

  • +Is 53:6; Mat 10:5, 6; Bik 3:26; 13:46; Bar 15:8

Matayo 15:26

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 5 2017 lup. 9

    Yesu—Ekkubo, lup. 138

Matayo 15:27

Marginal References

  • +Mak 7:28

Matayo 15:28

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/1995, lup. 11-12

Matayo 15:29

Marginal References

  • +Mak 7:31

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 138

Matayo 15:30

Marginal References

  • +Is 35:5; Mat 19:2; Mak 3:10

Matayo 15:31

Marginal References

  • +Mat 9:33

Matayo 15:32

Marginal References

  • +Mat 14:14; Mak 6:34
  • +Mak 8:1-9

Matayo 15:33

Marginal References

  • +2Sk 4:42-44

Matayo 15:36

Marginal References

  • +Mat 14:19

Matayo 15:37

Marginal References

  • +Mak 8:8, 9

Matayo 15:39

Marginal References

  • +Mak 8:10

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 140

General

Mat. 15:1Mak 7:1, 2
Mat. 15:2Luk 11:38; Yok 2:6
Mat. 15:3Mat 15:9; Mak 7:8-13; Bak 2:8
Mat. 15:4Kuv 20:12; Ma 5:16; Bef 6:2
Mat. 15:4Kuv 21:17; Lev 20:9
Mat. 15:5Mak 7:11, 12
Mat. 15:6Mak 7:13
Mat. 15:7Mak 7:6
Mat. 15:9Is 29:13; Mak 7:7
Mat. 15:10Mak 7:14
Mat. 15:11Mak 7:15; Bef 4:29; Yak 3:6
Mat. 15:12Mak 7:17
Mat. 15:14Mat 23:15, 16; Luk 6:39
Mat. 15:16Mak 7:18-23
Mat. 15:18Mak 7:20
Mat. 15:19Lub 8:21; Yer 17:9
Mat. 15:21Mak 7:24
Mat. 15:22Mak 7:25-30
Mat. 15:24Is 53:6; Mat 10:5, 6; Bik 3:26; 13:46; Bar 15:8
Mat. 15:27Mak 7:28
Mat. 15:29Mak 7:31
Mat. 15:30Is 35:5; Mat 19:2; Mak 3:10
Mat. 15:31Mat 9:33
Mat. 15:32Mat 14:14; Mak 6:34
Mat. 15:32Mak 8:1-9
Mat. 15:332Sk 4:42-44
Mat. 15:36Mat 14:19
Mat. 15:37Mak 8:8, 9
Mat. 15:39Mak 8:10
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Matayo 15:1-39

Matayo

15 Awo Abafalisaayo n’abawandiisi+ ne bava e Yerusaalemi ne bajja eri Yesu, ne bamugamba nti: 2 “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera bulombolombo bwa bajjajjaffe? Ng’ekyokulabirako, tebanaaba mu ngalo* nga bagenda okulya emmere.”+

3 N’abaddamu nti: “Lwaki mumenya amateeka ga Katonda olw’obulombolombo bwammwe?+ 4 Ng’ekyokulabirako, Katonda yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,’+ era nti ‘Oyo avuma kitaawe oba nnyina attibwenga.’+ 5 Naye mmwe mugamba nti, ‘Oyo agamba kitaawe oba nnyina nti: “Kyonna kye nnandikuwadde okukuyamba nnakiwaayo ng’ekirabo eri Katonda,”+ 6 aba talina kuyamba kitaawe.’ Mudibizza ekigambo kya Katonda olw’obulombolombo bwammwe.+ 7 Mmwe bannanfuusi, Isaaya bye yaboogerako bituufu, bwe yagamba nti:+ 8 ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, naye emitima gyabwe gindi wala. 9 Batawaanira bwereere okunsinza, kubanga bayigiriza biragiro bya bantu.’”+ 10 Awo n’ayita ekibiina ky’abantu n’abagamba nti: “Muwulire era mutegeere amakulu g’ebigambo bino:+ 11 Ekyo ekiyingira mu kamwa k’omuntu si kye kimwonoona, wabula ekyo ekiva mu kamwa ke.”+

12 Awo abayigirizwa ne bajja ne bamugamba nti: “Okimanyi nti Abafalisaayo banyiize bwe bawulidde by’oyogedde?”+ 13 N’abaddamu nti: “Buli kimera Kitange ow’omu ggulu ky’ataasimba, kijja kusimbulwa. 14 Abo mubaleke. Be bakulembeze abazibe b’amaaso. Kale omuzibe w’amaaso bw’akulembera muzibe munne, bombi bagwa mu kinnya.”+ 15 Peetero n’amugamba nti: “Tunnyonnyole amakulu g’ekyokulabirako ekyo.” 16 N’abagamba nti: “Nammwe temunnaba kutegeera?+ 17 Temumanyi nti buli ekiyingira mu kamwa kiyita mu lubuto ne kifuluma? 18 Naye, ebyo ebifuluma mu kamwa biva mu mutima era bye byonoona omuntu.+ 19 Ng’ekyokulabirako, mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi:+ obutemu, obwenzi, ebikolwa eby’obugwenyufu,* obubbi, okuwaayiriza, n’okuvvoola. 20 Ebyo bye byonoona omuntu, naye omuntu okulya nga tanaabye mu ngalo* tekimwonoona.”

21 Yesu n’avaayo, n’agenda mu bitundu by’e Ttuulo ne Sidoni.+ 22 Laba! omukazi Omufoyiniikiya ow’omu bitundu ebyo n’ajja, n’ayogerera waggulu nti: “Nsaasira Mukama wange, Omwana wa Dawudi. Muwala wange atawaanyizibwa dayimooni.”+ 23 Naye n’atamuddamu kigambo kyonna. Abayigirizwa be ne bajja ne bamugamba nti: “Mugambe agende kubanga atuleekaanira.” 24 N’addamu nti: “Saatumibwa walala wonna wabula eri endiga ezaabula ez’ennyumba ya Isirayiri.”+ 25 Naye omukazi n’asembera, n’amuvunnamira, n’amugamba nti: “Mukama wange, nnyamba!” 26 N’amuddamu nti: “Tekiba kituufu okuddira emmere y’abaana n’ogisuulira obubwa obuto.” 27 Omukazi n’amuddamu nti: “Yee ssebo, naye obubwa bulya obukunkumuka obugwa okuva ku mmeeza ya bakama baabwo.”+ 28 Yesu n’amugamba nti: “Mukazi ggwe, okukkiriza kwo kwa maanyi nnyo; ka kibeere nga bw’oyagala.” Muwala we n’awona mu kiseera ekyo.

29 Yesu bwe yava eyo, n’agenda okumpi n’Ennyanja ey’e Ggaliraaya,+ n’ayambuka ku lusozi n’atuula eyo. 30 Ekibiina ky’abantu ne kijja gy’ali nga baleese abalema, abaliko obulemu, abazibe b’amaaso, abatayogera, n’abalwadde abalala bangi, ne babateeka kumpi n’ebigere bye, n’abawonya.+ 31 Abantu ne beewuunya nnyo bwe baalaba abaali batayogera nga boogera, abalema nga batambula, abaliko obulemu nga bawonye, n’abazibe b’amaaso nga balaba, era ne bagulumiza Katonda wa Isirayiri.+

32 Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti: “Abantu bano mbasaasira,+ kubanga kati ziweze ennaku ssatu nga bali nange, naye nga tebalina kya kulya; era saagala kubasiibula nga tebalina kye balidde. Bayinza okugwa ku kkubo.”+ 33 Naye abayigirizwa ne bamugamba nti: “Mu kifo kino ekyesudde, tunaggya wa emigaati egimala okukkusa abantu bano bonna?”+ 34 Yesu n’abagamba nti: “Mulinawo emigaati emeka?” Ne bamugamba nti: “Musanvu, era n’obwennyanja butono.” 35 Awo oluvannyuma lw’okugamba abantu okutuula wansi, 36 Yesu yakwata emigaati omusanvu n’obwennyanja, ne yeebaza, n’abimenyamu, n’abiwa abayigirizwa, abayigirizwa ne babigabira abantu.+ 37 Bonna ne balya ne bakkuta, ne bakuŋŋaanya obutundutundu obwafikkawo ne bajjuza ebisero ebinene musanvu.+ 38 Abo abaalya baali abasajja 4,000 nga tobaliddeeko bakazi na baana. 39 Bwe yamala okusiibula abantu, n’alinnya eryato n’agenda mu bitundu by’e Magadani.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share