LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Olubereberye 26
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Isaaka ne Lebbeeka e Gerali (1-11)

        • Katonda abuulira Isaaka ekyo kye yasuubiza (3-5)

      • Okukaayanira enzizi (12-25)

      • Isaaka akola endagaano ne Abimereki (26-33)

      • Bakazi ba Esawu ababiri Abakiiti (34, 35)

Olubereberye 26:1

Marginal References

  • +Lub 12:10

Olubereberye 26:3

Marginal References

  • +Lub 20:1; Beb 11:8, 9
  • +Lub 12:7; 15:18
  • +Lub 22:16-18; Zb 105:9-11; Beb 6:13, 14

Olubereberye 26:4

Marginal References

  • +Lub 15:1, 5; Beb 11:12
  • +Ma 34:4
  • +Lub 12:1-3; Bik 3:25; Bag 3:8

Olubereberye 26:5

Marginal References

  • +Lub 17:10, 23; 22:3, 12; Beb 11:8; Yak 2:21

Olubereberye 26:6

Marginal References

  • +Lub 26:17

Olubereberye 26:7

Marginal References

  • +Lub 12:11-13
  • +Lub 24:16

Olubereberye 26:8

Footnotes

  • *

    Oba, “ng’amuwambaatira.”

Marginal References

  • +Lub 24:67

Olubereberye 26:9

Marginal References

  • +Lub 20:11

Olubereberye 26:10

Marginal References

  • +Lub 12:18
  • +Lub 20:9

Olubereberye 26:12

Marginal References

  • +Lub 24:34, 35

Olubereberye 26:14

Marginal References

  • +Lub 12:16

Olubereberye 26:15

Marginal References

  • +Lub 21:27, 30

Olubereberye 26:17

Marginal References

  • +Lub 10:19; 20:1

Olubereberye 26:18

Marginal References

  • +Lub 21:25
  • +Lub 21:31

Olubereberye 26:20

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Okukaayana.”

Olubereberye 26:21

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Okulumiriza.”

Olubereberye 26:22

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Ebifo Ebigazi.”

Marginal References

  • +Lub 17:5, 6; 28:1, 3

Olubereberye 26:23

Marginal References

  • +Lub 21:31

Olubereberye 26:24

Marginal References

  • +Lub 17:1; 28:13
  • +Lub 15:1
  • +Lub 17:19; Zb 105:9-11

Olubereberye 26:25

Marginal References

  • +Lub 12:8, 9
  • +Beb 11:9

Olubereberye 26:26

Marginal References

  • +Lub 21:32

Olubereberye 26:28

Marginal References

  • +Lub 21:22
  • +Lub 21:27

Olubereberye 26:31

Marginal References

  • +Lub 21:22-24

Olubereberye 26:32

Marginal References

  • +Lub 26:18

Olubereberye 26:33

Marginal References

  • +Bal 20:1

Olubereberye 26:34

Marginal References

  • +Lub 36:2, 3

Olubereberye 26:35

Marginal References

  • +Lub 27:46; 28:8

General

Lub. 26:1Lub 12:10
Lub. 26:3Lub 20:1; Beb 11:8, 9
Lub. 26:3Lub 12:7; 15:18
Lub. 26:3Lub 22:16-18; Zb 105:9-11; Beb 6:13, 14
Lub. 26:4Lub 15:1, 5; Beb 11:12
Lub. 26:4Ma 34:4
Lub. 26:4Lub 12:1-3; Bik 3:25; Bag 3:8
Lub. 26:5Lub 17:10, 23; 22:3, 12; Beb 11:8; Yak 2:21
Lub. 26:6Lub 26:17
Lub. 26:7Lub 12:11-13
Lub. 26:7Lub 24:16
Lub. 26:8Lub 24:67
Lub. 26:9Lub 20:11
Lub. 26:10Lub 12:18
Lub. 26:10Lub 20:9
Lub. 26:12Lub 24:34, 35
Lub. 26:14Lub 12:16
Lub. 26:15Lub 21:27, 30
Lub. 26:17Lub 10:19; 20:1
Lub. 26:18Lub 21:25
Lub. 26:18Lub 21:31
Lub. 26:22Lub 17:5, 6; 28:1, 3
Lub. 26:23Lub 21:31
Lub. 26:24Lub 17:1; 28:13
Lub. 26:24Lub 15:1
Lub. 26:24Lub 17:19; Zb 105:9-11
Lub. 26:25Lub 12:8, 9
Lub. 26:25Beb 11:9
Lub. 26:26Lub 21:32
Lub. 26:28Lub 21:22
Lub. 26:28Lub 21:27
Lub. 26:31Lub 21:22-24
Lub. 26:32Lub 26:18
Lub. 26:33Bal 20:1
Lub. 26:34Lub 36:2, 3
Lub. 26:35Lub 27:46; 28:8
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Olubereberye 26:1-35

Olubereberye

26 Ne wagwa enjala mu nsi, etali eri ey’olubereberye eyagwa mu kiseera kya Ibulayimu.+ Isaaka n’agenda eri Abimereki kabaka w’Abafirisuuti e Gerali. 2 Yakuwa n’amulabikira n’amugamba nti: “Togenda Misiri. Beera mu kitundu kyonna kye nnaakulaga mu nsi. 3 Beera mu nsi eno ng’omugwira,+ era nja kubeeranga naawe era nja kukuwa omukisa kubanga ensi zino zonna nja kuzikuwa ggwe n’ezzadde lyo,+ era ndituukiriza bye nnalayirira kitaawo Ibulayimu,+ 4 ‘Era ndyaza ezzadde lyo libe ng’emmunyeenye ez’oku ggulu+ era ezzadde lyo ndiriwa ensi zino zonna;+ era amawanga gonna ag’oku nsi galyefunira omukisa okuyitira mu zzadde lyo,’+ 5 olw’okuba Ibulayimu yawuliriza eddoboozi lyange, n’atuukiriza bye nnalinga mmwetaaza, ebiragiro byange, n’amateeka gange.”+ 6 Bw’atyo Isaaka ne yeeyongera okubeera e Gerali.+

7 Abasajja b’omu kitundu ekyo bwe baamubuuzanga ebikwata ku mukazi we, ye ng’abagamba nti: “Oyo mwannyinaze.”+ Yali atya okwogera nti “Mukazi wange,” kubanga yagambanga nti, “Abasajja b’omu kitundu bayinza okunzita olwa Lebbeeka,” olw’okuba yali alabika bulungi nnyo.+ 8 Awo nga wayiseewo ekiseera, Abimereki kabaka w’Abafirisuuti bwe yali ng’atunula mu ddirisa, n’alengera Isaaka ng’alaga mukazi we Lebbeeka omukwano.*+ 9 Amangu ago Abimereki n’ayita Isaaka n’amugamba nti: “Ono mukazi wo! Kati olwo lwaki wagamba nti ‘Mwannyinaze’?” Awo Isaaka n’amuddamu nti: “Nnakyogera olw’okutya nti nnyinza okuttibwa ku lulwe.”+ 10 Naye Abimereki n’amugamba nti: “Kiki kino ky’otukoze?+ Omu ku bantu bange abadde ayinza okwebaka ne mukazi wo n’otuleetako omusango!”+ 11 Awo Abimereki n’alagira abantu bonna nti: “Omuntu yenna anaakwata ku musajja ono ne mukazi we taaleme kuttibwa!”

12 Awo Isaaka n’atandika okusiga ensigo mu nsi eyo, era mu mwaka ogwo bye yakungula byakubisaamu bye yasiga emirundi 100, kubanga Yakuwa yamuwa omukisa.+ 13 N’agaggawala, ebintu bye ne byeyongera obungi okutuusa lwe yagaggawala ennyo. 14 N’afuna ebisibo by’endiga n’amagana g’ente n’abaweereza bangi,+ Abafirisuuti ne batandika okumukwatirwa obuggya.

15 Awo enzizi zonna abaweereza ba kitaawe ze baali basimye mu kiseera kya Ibulayimu Abafirisuuti ne baziyiwamu ettaka ne baziziba.+ 16 Oluvannyuma, Abimereki n’agamba Isaaka nti: “Va mu kitundu kino kubanga ofuuse wa maanyi nnyo okutusinga.” 17 Bw’atyo Isaaka n’avaayo n’asiisira mu kiwonvu ky’e Gerali+ n’atandika okubeera eyo. 18 Isaaka n’addamu okusima enzizi zonna ezaali zisimiddwa mu kiseera kya Ibulayimu kitaawe, Abafirisuuti ze baali bazibye oluvannyuma lw’okufa kwa Ibulayimu;+ n’aziyita amannya kitaawe ge yazituuma.+

19 Abaweereza ba Isaaka bwe baali basima mu kiwonvu ne bazuula oluzzi olw’amazzi amayonjo 20 Abasumba b’e Gerali ne batandika okukaayana n’abasumba ba Isaaka nga bagamba nti: “Amazzi gaffe!” Oluzzi olwo kyeyava alutuuma Eseki,* kubanga baakaayana naye. 21 Ne batandika okusima oluzzi olulala, era nalwo ne balukaayanira, n’alutuuma Situna.* 22 Oluvannyuma n’avaayo eyo n’asima oluzzi olulala, naye luno tebaalukaayanira. Bw’atyo n’alutuuma Lekobosi,* ng’agamba nti: “Kubanga kaakano Yakuwa atuwadde ekifo ekimala era atwazizza mu nsi.”+

23 N’avaayo eyo n’ayambuka e Beeru-seba.+ 24 Yakuwa n’amulabikira ekiro ekyo, n’amugamba nti: “Nze Katonda wa Ibulayimu kitaawo.+ Totya+ kubanga ndi naawe; nja kukuwa omukisa era nja kwaza ezzadde lyo olw’omuweereza wange Ibulayimu.”+ 25 Bw’atyo Isaaka n’azimba eyo ekyoto n’akoowoola erinnya lya Yakuwa,+ era n’asimba eyo weema ye;+ abaweereza be ne basimayo oluzzi.

26 Nga wayise ekiseera, Abimereki yajja gy’ali ng’ava e Gerali ng’ali wamu ne Akuzasi, omuwi we ow’amagezi, ne Pikoli omukulu w’eggye lye.+ 27 Isaaka n’abagamba nti: “Lwaki muzze gye ndi ng’ate mwankyawa ne mungoba mu kitundu kyammwe?” 28 Ne bamuddamu nti: “Mazima ddala tukirabye nti Yakuwa ali naawe.+ Kyetuvudde tugamba nti, ‘Ggwe naffe buli omu alayirire munne era tukole endagaano naawe,+ 29 nti tolitukolako kabi nga naffe bwe tutaakukolako kabi. Twakukolera birungi byokka ne tukuleka n’ogenda mirembe. Kaakano Yakuwa ggwe gw’awadde omukisa.’” 30 Awo n’abafumbira ekijjulo, ne balya era ne banywa. 31 Ne bazuukuka enkeera ku makya ennyo buli omu n’alayirira munne.+ Oluvannyuma Isaaka n’abasiibula ne bagenda mirembe.

32 Ku lunaku olwo abaweereza ba Isaaka bajja ne bamubuulira ku luzzi lwe baali basimye,+ ne bamugamba nti: “Tuzudde amazzi!” 33 Bw’atyo n’alutuuma Siba. Eyo ye nsonga lwaki ekibuga kiyitibwa Beeru-seba+ n’okutuusa leero.

34 Esawu bwe yaweza emyaka 40 n’awasa Yudisi muwala wa Beeri Omukiiti ne Basemasi muwala wa Eroni Omukiiti.+ 35 Abakazi abo baaleetera Isaaka ne Lebbeeka ennaku ey’amaanyi.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share