LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ekyamateeka 32
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Oluyimba lwa Musa (1-47)

        • Yakuwa, Lwazi (4)

        • Isirayiri yeerabira Olwazi lwe (18)

        • “Okuwoolera eggwanga kwange” (35)

        • “Musanyuke mmwe amawanga awamu n’abantu be” (43)

      • Musa wa kufiira ku Lusozi Nebo (48-52)

Ekyamateeka 32:2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    6/2020, lup. 10

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    4/2016, lup. 3-4

Ekyamateeka 32:3

Marginal References

  • +Yok 17:26
  • +1By 29:11; Zb 145:3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    6/2020, lup. 10-11

Ekyamateeka 32:4

Marginal References

  • +2Sa 22:31; Zb 18:2; 19:7; Yak 1:17
  • +Zb 33:5
  • +Ma 7:9; 1Pe 4:19
  • +Ma 25:16
  • +Lub 18:25

Indexes

  • Research Guide

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 112

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2004, lup. 11

Ekyamateeka 32:5

Marginal References

  • +Ma 31:27; Bal 2:19; Zb 14:1
  • +Is 1:4
  • +Zb 78:8; Luk 9:41

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/1989, lup. 3

Ekyamateeka 32:6

Marginal References

  • +Is 1:2
  • +Yer 4:22
  • +Kuv 4:22; Ma 32:18; Is 63:16

Ekyamateeka 32:7

Marginal References

  • +Kuv 13:14; Zb 44:1

Ekyamateeka 32:8

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “abaana b’abantu.”

Marginal References

  • +Lub 10:5; Zb 115:16
  • +Lub 11:9
  • +Ma 2:5, 19; Bik 17:26
  • +Lub 15:18; Kuv 23:31

Ekyamateeka 32:9

Marginal References

  • +Kuv 19:5; Ma 7:6
  • +Zb 78:71

Ekyamateeka 32:10

Marginal References

  • +Ma 8:14, 15
  • +Yer 2:6
  • +Nek 9:19, 20
  • +Zek 2:8

Ekyamateeka 32:11

Marginal References

  • +Kuv 19:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2001, lup. 20

Ekyamateeka 32:12

Footnotes

  • *

    Wano boogera ku Yakobo.

Marginal References

  • +Ma 1:31
  • +Is 43:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2001, lup. 20

Ekyamateeka 32:13

Marginal References

  • +Ma 33:29
  • +Ma 8:7, 8

Ekyamateeka 32:14

Footnotes

  • *

    Obut., “N’amasavu g’endiga.”

  • *

    Obut., “musaayi.”

Marginal References

  • +Zb 147:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2015, lup. 15

    10/1/2004, lup. 11

Ekyamateeka 32:15

Footnotes

  • *

    Kitegeeza, “Omugolokofu.” Kino kitiibwa ekikozesebwa ku Isirayiri.

Marginal References

  • +Ma 31:20; Nek 9:25
  • +Is 1:4; Kos 13:6

Ekyamateeka 32:16

Marginal References

  • +Bal 2:12; 1Sk 14:22; 1Ko 10:21, 22
  • +2Sk 23:13; Ezk 8:17

Ekyamateeka 32:17

Marginal References

  • +Lev 17:7; Zb 106:37; 1Ko 10:20

Ekyamateeka 32:18

Marginal References

  • +Zb 106:21; Is 17:10; Yer 2:32
  • +Ma 4:34

Ekyamateeka 32:19

Marginal References

  • +Bal 2:14; Zb 78:59

Ekyamateeka 32:20

Marginal References

  • +Ma 31:17
  • +Ma 32:5; Is 65:2; Mat 17:17
  • +Is 1:2

Ekyamateeka 32:21

Footnotes

  • *

    Oba, “Bankwasizza obuggya.”

Marginal References

  • +Zb 96:5; 1Ko 10:21, 22
  • +1Sa 12:10, 21
  • +Kos 2:23; Bar 9:25; 11:11; 1Pe 2:10
  • +Bar 10:19

Ekyamateeka 32:22

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +Kuk 4:11
  • +Am 9:2

Ekyamateeka 32:24

Marginal References

  • +Ma 28:53
  • +Ma 28:21, 22
  • +Lev 26:22

Ekyamateeka 32:25

Marginal References

  • +Kuk 1:20
  • +Ezk 7:15
  • +2By 36:17; Kuk 2:21

Ekyamateeka 32:27

Marginal References

  • +1Sa 12:22; Ezk 20:14
  • +Kuv 32:12; Kbl 14:15, 16
  • +Zb 115:2

Ekyamateeka 32:28

Footnotes

  • *

    Oba, “eritawuliriza kubuulirirwa.”

Marginal References

  • +Mat 13:15

Ekyamateeka 32:29

Marginal References

  • +Zb 81:13
  • +Kos 14:9
  • +Yer 2:19

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 35

Ekyamateeka 32:30

Marginal References

  • +2By 24:24
  • +Bal 2:14; 1Sa 12:9

Ekyamateeka 32:31

Marginal References

  • +1Sa 2:2
  • +Kuv 14:25; 1Sa 4:8; Ezr 1:2, 3

Ekyamateeka 32:32

Marginal References

  • +Yud 7
  • +Is 5:4; Yer 2:21

Ekyamateeka 32:34

Marginal References

  • +Bar 2:5

Ekyamateeka 32:35

Marginal References

  • +Nak 1:2; Bar 12:19; Beb 10:30
  • +Zb 73:12, 18

Ekyamateeka 32:36

Footnotes

  • *

    Oba, “alyejjusa olwa.”

Marginal References

  • +Beb 10:30
  • +Bal 2:18; Zb 90:13; 106:45; 135:14

Ekyamateeka 32:37

Marginal References

  • +Bal 10:14

Ekyamateeka 32:38

Footnotes

  • *

    Oba, “Abaalyanga ssaddaaka zaabwe ezisingayo obulungi.”

Marginal References

  • +Kos 2:8; 1Ko 10:20, 21

Ekyamateeka 32:39

Marginal References

  • +Is 41:4; 48:12
  • +Ma 4:35
  • +1Sa 2:6; Zb 68:20
  • +2By 21:16, 18
  • +Kbl 12:13; Yer 17:14
  • +Is 43:13

Ekyamateeka 32:40

Marginal References

  • +1Ti 1:17; Kub 10:5, 6

Ekyamateeka 32:41

Marginal References

  • +Nak 1:3
  • +Is 1:24; 59:18

Ekyamateeka 32:43

Footnotes

  • *

    Oba, “Alirongoosa.”

Marginal References

  • +Lub 12:2, 3; 1Sk 8:43; Bar 3:29; 15:10
  • +2Sk 9:7; Kub 6:10
  • +Mi 5:15

Ekyamateeka 32:44

Footnotes

  • *

    Lino lye linnya Yoswa lye yasooka okutuumibwa. Koseya lye linnya Kosaaya nga lisaliddwako, Kosaaya litegeeza, “Alokoleddwa Ya; Ya Alokodde.”

Marginal References

  • +Kub 15:3
  • +Kbl 11:28; Ma 31:22, 23

Ekyamateeka 32:46

Marginal References

  • +Ma 11:18
  • +Ma 6:6, 7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/2001, lup. 12

Ekyamateeka 32:47

Marginal References

  • +Lev 18:5; Ma 30:19; Bar 10:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/15/2008, lup. 6

Ekyamateeka 32:49

Marginal References

  • +Kbl 27:12
  • +Ma 34:1
  • +Lub 10:19; 15:18; Yos 1:3

Ekyamateeka 32:50

Footnotes

  • *

    Kino kisoko ekitegeeza okufa.

Marginal References

  • +Kbl 20:28; 33:38

Ekyamateeka 32:51

Marginal References

  • +Kbl 20:12, 13
  • +Lev 22:32; Is 8:13

Ekyamateeka 32:52

Marginal References

  • +Kbl 27:13, 14; Ma 3:27; 34:4, 5

General

Ma. 32:3Yok 17:26
Ma. 32:31By 29:11; Zb 145:3
Ma. 32:42Sa 22:31; Zb 18:2; 19:7; Yak 1:17
Ma. 32:4Zb 33:5
Ma. 32:4Ma 7:9; 1Pe 4:19
Ma. 32:4Ma 25:16
Ma. 32:4Lub 18:25
Ma. 32:5Ma 31:27; Bal 2:19; Zb 14:1
Ma. 32:5Is 1:4
Ma. 32:5Zb 78:8; Luk 9:41
Ma. 32:6Is 1:2
Ma. 32:6Yer 4:22
Ma. 32:6Kuv 4:22; Ma 32:18; Is 63:16
Ma. 32:7Kuv 13:14; Zb 44:1
Ma. 32:8Lub 10:5; Zb 115:16
Ma. 32:8Lub 11:9
Ma. 32:8Ma 2:5, 19; Bik 17:26
Ma. 32:8Lub 15:18; Kuv 23:31
Ma. 32:9Kuv 19:5; Ma 7:6
Ma. 32:9Zb 78:71
Ma. 32:10Ma 8:14, 15
Ma. 32:10Yer 2:6
Ma. 32:10Nek 9:19, 20
Ma. 32:10Zek 2:8
Ma. 32:11Kuv 19:4
Ma. 32:12Ma 1:31
Ma. 32:12Is 43:12
Ma. 32:13Ma 33:29
Ma. 32:13Ma 8:7, 8
Ma. 32:14Zb 147:14
Ma. 32:15Ma 31:20; Nek 9:25
Ma. 32:15Is 1:4; Kos 13:6
Ma. 32:16Bal 2:12; 1Sk 14:22; 1Ko 10:21, 22
Ma. 32:162Sk 23:13; Ezk 8:17
Ma. 32:17Lev 17:7; Zb 106:37; 1Ko 10:20
Ma. 32:18Zb 106:21; Is 17:10; Yer 2:32
Ma. 32:18Ma 4:34
Ma. 32:19Bal 2:14; Zb 78:59
Ma. 32:20Ma 31:17
Ma. 32:20Ma 32:5; Is 65:2; Mat 17:17
Ma. 32:20Is 1:2
Ma. 32:21Zb 96:5; 1Ko 10:21, 22
Ma. 32:211Sa 12:10, 21
Ma. 32:21Kos 2:23; Bar 9:25; 11:11; 1Pe 2:10
Ma. 32:21Bar 10:19
Ma. 32:22Kuk 4:11
Ma. 32:22Am 9:2
Ma. 32:24Ma 28:53
Ma. 32:24Ma 28:21, 22
Ma. 32:24Lev 26:22
Ma. 32:25Kuk 1:20
Ma. 32:25Ezk 7:15
Ma. 32:252By 36:17; Kuk 2:21
Ma. 32:271Sa 12:22; Ezk 20:14
Ma. 32:27Kuv 32:12; Kbl 14:15, 16
Ma. 32:27Zb 115:2
Ma. 32:28Mat 13:15
Ma. 32:29Zb 81:13
Ma. 32:29Kos 14:9
Ma. 32:29Yer 2:19
Ma. 32:302By 24:24
Ma. 32:30Bal 2:14; 1Sa 12:9
Ma. 32:311Sa 2:2
Ma. 32:31Kuv 14:25; 1Sa 4:8; Ezr 1:2, 3
Ma. 32:32Yud 7
Ma. 32:32Is 5:4; Yer 2:21
Ma. 32:34Bar 2:5
Ma. 32:35Nak 1:2; Bar 12:19; Beb 10:30
Ma. 32:35Zb 73:12, 18
Ma. 32:36Beb 10:30
Ma. 32:36Bal 2:18; Zb 90:13; 106:45; 135:14
Ma. 32:37Bal 10:14
Ma. 32:38Kos 2:8; 1Ko 10:20, 21
Ma. 32:39Is 41:4; 48:12
Ma. 32:39Ma 4:35
Ma. 32:391Sa 2:6; Zb 68:20
Ma. 32:392By 21:16, 18
Ma. 32:39Kbl 12:13; Yer 17:14
Ma. 32:39Is 43:13
Ma. 32:401Ti 1:17; Kub 10:5, 6
Ma. 32:41Nak 1:3
Ma. 32:41Is 1:24; 59:18
Ma. 32:43Lub 12:2, 3; 1Sk 8:43; Bar 3:29; 15:10
Ma. 32:432Sk 9:7; Kub 6:10
Ma. 32:43Mi 5:15
Ma. 32:44Kub 15:3
Ma. 32:44Kbl 11:28; Ma 31:22, 23
Ma. 32:46Ma 11:18
Ma. 32:46Ma 6:6, 7
Ma. 32:47Lev 18:5; Ma 30:19; Bar 10:5
Ma. 32:49Kbl 27:12
Ma. 32:49Ma 34:1
Ma. 32:49Lub 10:19; 15:18; Yos 1:3
Ma. 32:50Kbl 20:28; 33:38
Ma. 32:51Kbl 20:12, 13
Ma. 32:51Lev 22:32; Is 8:13
Ma. 32:52Kbl 27:13, 14; Ma 3:27; 34:4, 5
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
  • 40
  • 41
  • 42
  • 43
  • 44
  • 45
  • 46
  • 47
  • 48
  • 49
  • 50
  • 51
  • 52
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ekyamateeka 32:1-52

Ekyamateeka

 32 “Wulira ggwe eggulu, nange ka njogere,

N’ensi k’ewulire ebigambo by’akamwa kange.

 2 Okuyigiriza kwange kunaatonnya ng’enkuba;

Ebigambo byange binaagwa ng’omusulo,

Ng’enkuba etonnya empola empola ku muddo

Era ng’enkuba ennyingi etonnya ku bimera.

 3 Nja kulangirira erinnya lya Yakuwa.+

Mwogere ku maanyi ga Katonda waffe!+

 4 Olwazi, by’akola bituukiridde,+

Amakubo ge gonna ga bwenkanya.+

Katonda omwesigwa+ ataliimu butali bwenkanya;+

Mutuukirivu era mwenkanya.+

 5 Bo bennyini be beeyisizza obubi.+

Si baana be, ensobi yaabwe.+

Mulembe ogwakyama!+

 6 Bwe mutyo bwe musaanidde okuyisa Yakuwa,+

Mmwe abantu abasirusiru era abatalina magezi?+

Si ye Kitaawo eyakuteekawo,+

Eyakukola era n’akutebenkeza?

 7 Jjukira ennaku ez’edda;

Lowooza ku myaka egy’emirembe egyayita.

Buuza kitaawo akubuulire;+

Buuza abakadde bakutegeeze.

 8 Asingayo Okuba Waggulu bwe yawa amawanga obusika,+

Bwe yayawulamu abaana ba Adamu,*+

Yassaawo ensalo z’amawanga+

Ng’asinziira ku muwendo gw’abaana ba Isirayiri.+

 9 Abantu ba Yakuwa gwe mugabo gwe;+

Yakobo bwe busika bwe.+

10 Yamusanga mu ddungu+

Mu ddungu eryereere, omuli ensolo eziwoowoola.+

Yamwebulungulula n’amulabirira,+

N’amukuuma ng’emmunye y’eriiso lye.+

11 Ng’empungu bw’eyigiriza obwana bwayo okubuuka,

Bw’epapalira we buli,

Bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo n’ebutwala,

Bw’ebusitulira ku biwaawaatiro byayo,+

12 Yakuwa yekka ye yamukulemberamu;*+

Tewaaliwo katonda mulala eyali naye.+

13 Yamutambuliza ku bifo by’ensi ebigulumivu,+

N’alya emmere ey’omu nnimiro.+

Yamuliisa omubisi gw’enjuki okuva mu lwazi

N’amafuta okuva mu lwazi olugumu,

14 Yamuwa omuzigo oguva mu ggana n’amata agava mu kisibo,

N’endiga ezisingayo obulungi,*

N’endiga ennume ez’e Basani, n’embuzi ennume,

N’eŋŋaano esingayo obulungi;+

Era yanywa envinnyo eva mu mubisi* gw’ezzabbibu.

15 Yesuluni* bwe yagejja, yasamba.

Ogezze, oyimbulukuse, obwegedde.+

Bw’atyo yaleka Katonda eyamukola,+

N’anyooma Olwazi olw’obulokozi bwe.

16 Baamusunguwaza olwa bakatonda abalala be baafuna;+

Baamunyiiza olw’ebintu byabwe eby’omuzizo.+

17 Baawaayo ssaddaaka eri badayimooni so si eri Katonda,+

Eri bakatonda be baali batamanyi,

Abapya abaali baakajja,

Eri bakatonda bajjajjammwe be bataamanya.

18 Mwerabira Olwazi,+ oyo eyabazaala,

Era temwajjukira Katonda eyabazaala.+

19 Yakuwa bwe yakiraba n’abavaako,+

Olw’okuba batabani be ne bawala be baamunyiiza.

20 Bw’atyo n’agamba nti, ‘Ndibakweka obwenyi bwange;+

Ndiraba ekiribatuukako.

Kubanga mulembe omwonoonefu,+

Baana abataliimu bwesigwa.+

21 Bansunguwazza* n’ebitali katonda;+

Bannyiizizza n’ebifaananyi byabwe ebitalina mugaso.+

Kyendiva mbakwasa obuggya nga nkozesa eggwanga eritalina mugaso;+

Ndibanyiiza nga nkozesa eggwanga essirusiru.+

22 Obusungu bwange bukoleezezza omuliro+

Ogujja okwaka okutuukira ddala wansi emagombe,*+

Gujja kwokya ensi n’ebigiriko

Gujja kwokya emisingi gy’ensozi.

23 Ndibongerako ebizibu;

Ndibamalirako obusaale bwange.

24 Balinafuwa olw’enjala+

Era balimalibwawo omusujja ogw’amaanyi n’okuzikirizibwa okw’obulumi.+

Ndibasindikira amannyo g’ensolo+

N’obusagwa bw’ebyewalula eby’omu nfuufu.

25 Ebweru ekitala kiribaggyako abaabwe;+

Munda entiisa eribaggyako abaabwe,+

Baliggibwako omulenzi n’omuwala embeerera,

Ayonka n’omusajja ow’envi.+

26 Nnandibadde ŋŋamba nti: “Nja kubasaasaanya;

Nja kubaleetera obutaddamu kujjukirwa mu bantu,”

27 Singa nnali sitya balabe kye banaagamba,+

Kubanga abalabe bayinza okukitwala obulala.+

Bayinza okugamba nti: “Tuwangudde olw’amaanyi gaffe;+

Yakuwa si y’akoze bino byonna.”

28 Isirayiri ggwanga eritalina magezi,*

Era mu bo temuli kutegeera.+

29 Kale singa baalina amagezi!+ Kino bandibadde bakifumiitirizaako.+

Bandibadde balowooza ku ebyo ebyandivuddemu.+

30 Omu yandisobodde atya okugoba 1,000,

N’ababiri okuddusa 10,000?+

Tekyandisobose okuggyako ng’Olwazi lwabwe y’abatunze+

Era okuggyako nga Yakuwa y’abawaddeyo.

31 Kubanga olwazi lwabwe teruli ng’Olwazi lwaffe,+

N’abalabe baffe kino bakitegedde.+

32 Omuzabbibu gwabwe guva ku muzabbibu gw’e Sodomu

Guva mu nnimiro z’e Ggomola.+

Ezzabbibu lyabwe zzabbibu lya butwa,

Ebirimba byalyo bikaawa.+

33 Omwenge gwabwe busagwa bwa misota,

Busagwa obw’enswera obw’amaanyi.

34 Kino sikiterese?

Tekiteekeddwako envumbo mu tterekero lyange?+

35 Okuwoolera eggwanga kwange awamu n’okusasula,+

Mu kiseera ekigereke ekigere kyabwe lwe kiriseerera,+

Kubanga olunaku olw’okubonaabona kwabwe luli kumpi,

Era ekibalindiridde kijja kujja mu bwangu.’

36 Yakuwa aliramula abantu be,+

Naye alisaasira* abaweereza be,+

Bw’aliraba ng’amaanyi gaabwe gakendedde,

Era ng’abateesobola era abatalina maanyi bokka be basigaddewo.

37 Aligamba nti, ‘Bakatonda baabwe baluwa,+

Olwazi mwe baddukiranga,

38 Abaalyanga amasavu ga ssaddaaka zaabwe,*

Abaanywanga omwenge gw’ebiweebwayo byabwe eby’eby’okunywa?+

Bajje babayambe mmwe.

Ka babeere ekifo kyammwe eky’okuddukiramu.

39 Mulabe kaakano nti nze wuuyo,+

Tewali bakatonda balala okuggyako nze.+

Nzita era mpa obulamu.+

Nnumya+ era nja kuwonya,+

Tewali ayinza kununula kiri mu mukono gwange.+

40 Mpanika omukono gwange eri eggulu,

Era ndayira nti: “Nga bwe ndi omulamu emirembe n’emirembe,”+

41 Bwe ndiwagala ekitala kyange ekitemagana,

Ne nneetegeka okusala omusango,+

Ndiwoolera eggwanga ku balabe bange+

Era ndisasula abo abatanjagala.

42 Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi,

Omusaayi gw’abattiddwa era n’abawambe,

Ekitala kyange kirirya ennyama,

Okuva ku mitwe gy’abakulembeze b’omulabe.’

43 Musanyuke mmwe amawanga awamu n’abantu be,+

Kubanga aliwoolera eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza be,+

Era aliwoolera eggwanga ku balabe be+

Alitangirira* ensi y’abantu be.”

44 Bw’atyo Musa n’ajja n’ayogera ebigambo byonna eby’oluyimba luno ng’abantu bawulira,+ era yali ne Koseya*+ mutabani wa Nuuni. 45 Musa bwe yamala okwogera ebigambo ebyo byonna eri Isirayiri yonna, 46 n’abagamba nti: “Musseeyo omwoyo ku bigambo byonna bye njogera nga mbalabula leero,+ musobole okuyigiriza abaana bammwe okukolera ku bigambo byonna eby’Amateeka gano.+ 47 Kubanga kino si kigambo ekitaliimu nsa, wabula bwe bulamu bwammwe,+ era bwe munaakolera ku kigambo kino mujja kuwangaala mu nsi gye mugenda okutwala nga musomose Yoludaani.”

48 Era Yakuwa n’ayogera ne Musa ku lunaku olwo lwe lumu, n’amugamba nti: 49 “Yambuka ku lusozi luno olw’e Abalimu,+ Olusozi Nebo,+ oluli mu nsi ya Mowaabu, olutunudde e Yeriko, olabe ensi ya Kanani gye ŋŋenda okuwa Abayisirayiri ebeere yaabwe.+ 50 Oluvannyuma ojja kufiira ku lusozi olwo lw’ogendako ogoberere abantu bo,* nga Alooni muganda wo bwe yafiira ku Lusozi Kooli+ n’agoberera abantu be, 51 olw’okuba mmwembi temwalaga bwesigwa gye ndi mu Bayisirayiri ku mazzi g’e Meriba+ ekiri mu Kadesi, mu ddungu lya Zini, n’olw’okuba temwantukuza mu maaso g’abantu ba Isirayiri.+ 52 Ensi ojja kugirengera bulengezi, naye tojja kugenda mu nsi eyo gye mpa abantu ba Isirayiri.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share