LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Omubuulizi 6
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Omuntu okuba n’ebintu n’atabyeyagaliramu (1-6)

      • Sanyukira ekyo ky’olina kati (7-12)

Omubuulizi 6:3

Marginal References

  • +Mub 4:2, 3

Omubuulizi 6:5

Footnotes

  • *

    Obut., “awummula okusinga omusajja oli.”

Marginal References

  • +Yob 3:11, 13; 14:1

Omubuulizi 6:6

Marginal References

  • +Yob 30:23; Mub 3:20; Bar 5:12

Omubuulizi 6:7

Marginal References

  • +Lub 3:19; Nge 16:26

Omubuulizi 6:8

Marginal References

  • +Zb 49:10; Mub 2:15, 16

Omubuulizi 6:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    8/2021, lup. 21

    Zuukuka!,

    2/2014,

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2006, lup. 31

Omubuulizi 6:10

Footnotes

  • *

    Oba, “kuwoza.”

Omubuulizi 6:11

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ebintu.”

Omubuulizi 6:12

Marginal References

  • +1By 29:15; Yob 8:9; 14:1, 2; Zb 102:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/1997, lup. 11

General

Mub. 6:3Mub 4:2, 3
Mub. 6:5Yob 3:11, 13; 14:1
Mub. 6:6Yob 30:23; Mub 3:20; Bar 5:12
Mub. 6:7Lub 3:19; Nge 16:26
Mub. 6:8Zb 49:10; Mub 2:15, 16
Mub. 6:121By 29:15; Yob 8:9; 14:1, 2; Zb 102:11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Omubuulizi 6:1-12

Omubuulizi

6 Waliwo ekintu ekirala eky’ennaku kye ndabye wansi w’enjuba era nga kitera okubaawo mu bantu: 2 Katonda ow’amazima awa omuntu eby’obugagga n’ekitiibwa, omuntu oyo n’atabaako ky’ajula; kyokka Katonda ow’amazima n’atamusobozesa kubyeyagaliramu, wadde ng’omuntu omulala ayinza okubyeyagaliramu. Ekyo nakyo butaliimu era kya nnaku nnyo. 3 Omusajja ne bw’azaala abaana ekikumi n’awangaala emyaka mingi era n’akaddiwa, kyokka n’agenda mu ntaana nga teyeeyagaliddeeko mu bintu bye, nze ŋŋamba nti omwana eyazaalibwa ng’afudde amusinga.+ 4 Kubanga omwana oyo baba baamuzaalira bwereere era yagendera mu kizikiza, era nga n’erinnya lye lyetooloddwa ekizikiza. 5 Wadde nga teyalaba ku njuba era nga teyamanya kintu kyonna, asinga omusajja oli.*+ 6 Kigasa ki omuntu okuwangaala emyaka enkumi bbiri naye nga si musanyufu? Bonna tebagenda mu kifo kimu?+

7 Omuntu ateganira kujjuza lubuto lwe,+ naye tamatira. 8 Kiki ow’amagezi ky’asinga omusirusiru,+ era omuntu omwavu okuba nti amanyi engeri y’okweyimirizaawo kimugasa ki? 9 Okusanyusibwa ebintu amaaso bye galabako kisinga okwegomba ebintu by’otayinza kufuna. Ekyo nakyo butaliimu era kugoba mpewo.

10 Buli ekyali kibaddewo kyatuumibwa dda erinnya, n’omuntu ky’ali kimanyiddwa; tasobola kuwakana* n’oyo amusinga amaanyi. 11 Ebigambo* gye bikoma okuba ebingi, gye bikoma okuba ebitaliimu; kati olwo bigasa ki omuntu? 12 Ani amanyi omuntu ky’agwanidde okukola mu nnaku entono ez’obulamu bwe obutaliimu obuyita obuyisi ng’ekisiikirize,+ era ani ayinza okumubuulira ebiribaawo wansi w’enjuba ng’amaze okufa?

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share