LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ezeekyeri 31
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okugwa kwa Misiri, omuti gw’entolokyo omuwanvu (1-18)

Ezeekyeri 31:2

Marginal References

  • +Yer 46:2; Ezk 29:2

Ezeekyeri 31:8

Marginal References

  • +Lub 2:8; Ezk 28:12, 13

Ezeekyeri 31:11

Marginal References

  • +Ezk 30:10, 11; Kab 1:6

Ezeekyeri 31:12

Marginal References

  • +Ezk 32:5, 6

Ezeekyeri 31:13

Marginal References

  • +Ezk 29:5; 32:4

Ezeekyeri 31:14

Footnotes

  • *

    Oba, “mu ntaana.”

Ezeekyeri 31:15

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Ezeekyeri 31:16

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

  • *

    Oba, “mu ntaana.”

Marginal References

  • +Ezk 31:9

Ezeekyeri 31:17

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

  • *

    Obut., “awamu n’omukono gwe.”

Marginal References

  • +Ezk 32:18, 20
  • +Ezk 30:6; 32:31

Ezeekyeri 31:18

Marginal References

  • +Ezk 31:9; 32:19

General

Ezk. 31:2Yer 46:2; Ezk 29:2
Ezk. 31:8Lub 2:8; Ezk 28:12, 13
Ezk. 31:11Ezk 30:10, 11; Kab 1:6
Ezk. 31:12Ezk 32:5, 6
Ezk. 31:13Ezk 29:5; 32:4
Ezk. 31:16Ezk 31:9
Ezk. 31:17Ezk 32:18, 20
Ezk. 31:17Ezk 30:6; 32:31
Ezk. 31:18Ezk 31:9; 32:19
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ezeekyeri 31:1-18

Ezeekyeri

31 Ku lunaku olusooka olw’omwezi ogw’okusatu, mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, Yakuwa era yayogera nange n’aŋŋamba nti: 2 “Omwana w’omuntu, gamba Falaawo kabaka wa Misiri n’abantu be bonna nti,+

“‘Ani akwenkana ekitiibwa?

 3 Waaliwo Omwasuli, omuti gw’entolokyo mu Lebanooni,

Omuwanvu, ogw’amatabi agalabika obulungi agaaliko ebikoola ebingi;

Ng’amasanso gaagwo gatuuka ne mu bire.

 4 Amazzi gaagukuza ne gugejja, era ensulo z’amazzi ez’omu ttaka zaaguwanvuya.

Okumpi ne we gwasimbibwa waaliwo emigga;

Era emikutu gyagyo gyawanga emiti emirala gyonna egy’oku ttale amazzi.

 5 Kyegwava guwanvuwa okusinga emiti emirala gyonna egy’oku ttale.

“‘Gwassaako amatabi mangi ne gawanvuwa nnyo

Olw’amazzi amangi ag’omu migga gyagwo.

 6 Ebinyonyi byonna ebibuuka mu bbanga byazimba ebisu byabyo mu matabi gaagwo,

N’ensolo zonna ez’omu nsiko zaazaaliranga abaana baazo wansi w’amatabi gaagwo.

Amawanga gonna ag’abantu abangi geewogomanga mu kisiikirize kyagwo.

 7 Omuti ogwo gwalungiwa nnyo era amatabi gaagwo ne gawanvuwa nnyo,

Kubanga emirandira gyagwo gyali gituuka wansi awali amazzi amangi.

 8 Mu lusuku lwa Katonda,+ temwali muti mulala ogw’entolokyo ogwali ng’ogwo.

Tewali muti gwa muberosi ogwalina amatabi ng’ag’omuti ogwo.

Tewali muti gwa mwalamoni ogwali gugwenkanya amatabi.

Era tewali muti mu lusuku lwa Katonda ogwali gulabika obulungi nga gwo.

 9 Nnagulungiya n’ebikoola bingi era n’amatabi mangi;

Emiti emirala gyonna egy’omu Edeni, olusuku lwa Katonda ow’amazima, gyagukwatirwa obuggya.’

10 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Olw’okuba omuti ogwo gwawanvuwa nnyo, amasanso gaagwo ne gatuuka mu bire, era omutima gwagwo ne gufuna amalala olw’obuwanvu bwagwo, 11 nja kuguwaayo eri omufuzi w’amawanga ow’amaanyi+ era ajja kugubonereza; nja kugwesamba olw’ebintu ebibi bye gukola. 12 Abagwira, abasingayo obukambwe mu mawanga, bajja kugutema, era bajja kuguleka ku nsozi. Ebikoola byagwo bijja kugwa mu biwonvu byonna, n’amatabi gaagwo agamenyese gajja kugwa mu migga gyonna egy’ensi.+ Era n’abantu b’omu mawanga gonna ag’omu nsi bajja kuva mu kisiikirize kyagwo baguleke awo. 13 Ebinyonyi byonna ebibuuka mu bbanga bijja kubeeranga ku nduli y’omuti ogwo nga gugudde, era n’ensolo zonna ez’omu nsiko zijja kubeeranga ku matabi gaagwo.+ 14 Kijja kuba bwe kityo, emiti gyonna egiri okumpi n’amazzi gireme kuwanvuwa oba okutuusa amasanso gaagyo mu bire, era emiti gyonna egifukirirwa obulungi, gireme kuwanvuwa kutuuka ku bire. Gyonna gijja kufa gikke wansi mu ttaka, awamu n’abaana b’abantu abaserengeta mu kinnya.’*

15 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Ku lunaku lwe gunakkirako emagombe,* nja kuleetera abantu okukungubaga. Nja kuzibikira ensulo ez’omu ttaka nziyize emigga gyazo, amazzi galeme okukulukuta. Era olw’omuti ogwo, nja kuleeta ekizikiza mu Lebanooni era emiti gyonna egy’oku ttale gijja kuwotoka. 16 Omusinde gw’okugwa kwagwo bwe gunaawulirwa, nja kuleetera amawanga okukankana bwe nnaaguserengesa emagombe* awamu n’abo bonna abakka mu kinnya,* era emiti gyonna egy’omu Edeni,+ egisingayo obulungi mu Lebanooni, egyo gyonna egifukirirwa obulungi, gijja kusanyukira wansi mu ttaka. 17 Gigenze naye emagombe,* eri abo abattibwa n’ekitala,+ awamu n’abaamuyambanga* abaabeeranga wansi w’ekisiikirize kye mu mawanga.’+

18 “‘Muti ki mu miti egy’omu Edeni ogwali gukwenkana ekitiibwa n’amaanyi?+ Naye ojja kuserengesebwa wansi mu ttaka awamu n’emiti gy’omu Edeni. Ojja kugalamira wamu n’abatali bakomole, awamu n’abo abattibwa n’ekitala. Kino kye kijja okutuuka ku Falaawo n’abantu be bonna,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share