Danyeri
5 Kabaka Berusazza+ yagabula abakungu be lukumi ekijjulo ekinene era n’anywera omwenge mu maaso gaabwe.+ 2 Omwenge bwe gwamulinnya ku mutwe, n’alagira baleete ebintu ebya zzaabu n’ebya ffeeza kitaawe Nebukadduneeza bye yali aggye mu yeekaalu e Yerusaalemi,+ kabaka n’abakungu be, ne bakazi be, n’abazaana be, babinyweremu. 3 Awo ne baleeta ebintu ebya zzaabu ebyali biggiddwa mu yeekaalu, mu nnyumba ya Katonda, e Yerusaalemi, era kabaka, n’abakungu be, ne bakazi be, n’abazaana be, ne babinyweramu. 4 Baanywa omwenge ne batendereza bakatonda aba zzaabu ne ffeeza, ab’ekikomo, ab’ekyuma, ab’emiti, n’ab’amayinja.
5 Mu kiseera ekyo engalo z’omukono gw’omuntu zaalabika ne zitandika okuwandiika ku kisenge eky’omu lubiri lwa kabaka okumpi n’ekikondo ky’ettaala, era kabaka n’alaba omukono nga guwandiika. 6 Awo kabaka n’apeeruuka* era ne bye yalowooza ne bimutiisa nnyo, amagulu ge ne gaggwaamu amaanyi+ era amaviivi ge ne gatandika okukubagana.
7 Kabaka n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka, n’alagira bayite abalaguzi, Abakaludaaya,* n’abalaguzisa emmunyeenye.+ Kabaka n’agamba abasajja abagezigezi ab’omu Babulooni nti: “Omuntu yenna anaasoma ebigambo ebyo ebiwandiikiddwa era n’ambuulira amakulu gaabyo, ajja kwambazibwa olugoye olwa kakobe, omukuufu ogwa zzaabu gujja kuteekebwa mu bulago bwe,+ era ajja kuweebwa ekifo eky’okusatu mu bwakabaka.”+
8 Awo abasajja ba kabaka abagezigezi bonna ne bajja, naye tebaasobola kusoma bigambo ebyo ebyali biwandiikiddwa wadde okutegeeza kabaka amakulu gaabyo.+ 9 Kabaka Berusazza n’atya nnyo nnyini era n’apeeruuka mu maaso, abakungu be ne basoberwa.+
10 Nnaabakyala bwe yawulira ebigambo bya kabaka n’eby’abakungu be, n’ayingira mu kisenge mwe baali baliira ekijjulo. Nnaabakyala n’agamba nti: “Ai kabaka, wangaala emirembe n’emirembe. Leka kutya, era topeeruuka mu maaso. 11 Waliwo omusajja* mu bwakabaka bwo aliko omwoyo gwa bakatonda abatukuvu. Mu kiseera kya kitaawo, okumanya, okutegeera, n’amagezi agalinga aga bakatonda byalabika mu ye.+ Kabaka Nebukadduneeza, kitaawo, yamulonda okuba omukulu wa bakabona abakola eby’obufumu, n’abalaguzi, n’Abakaludaaya,* n’abalaguzisa emmunyeenye;+ kitaawo bw’atyo bwe yakola, Ai kabaka. 12 Danyeri, kabaka gwe yatuuma Berutesazza,+ yalina omwoyo ogw’enjawulo, n’okumanya, n’okutegeera, n’aba ng’asobola okunnyonnyola amakulu g’ebirooto, n’ebikokyo, n’ebintu ebizibu ennyo.*+ Kaakano ka bayite Danyeri, ajja kukunnyonnyola amakulu g’ebigambo ebyo ebiwandiikiddwa.”
13 Awo Danyeri n’aleetebwa mu maaso ga kabaka. Kabaka n’abuuza Danyeri nti: “Ye ggwe Danyeri omu ku bawambe abaava mu Yuda,+ kitange kabaka be yaggya mu Yuda?+ 14 Mpulidde bye bakwogerako, nti olina omwoyo gwa bakatonda,+ era nti olina okumanya, okutegeera, n’amagezi agatali ga bulijjo.+ 15 Abasajja abagezigezi n’abalaguzi baleeteddwa mu maaso gange okusoma ebigambo bino ebiwandiikiddwa n’okumbuulira amakulu gaabyo, naye tebasobodde kumbuulira makulu gaabyo.+ 16 Naye mpulidde nga bakwogerako nti osobola okunnyonnyola amakulu g’ebikisiddwa+ n’ebintu ebizibu ennyo.* Kaakano bw’oba ng’osobola okusoma ebigambo bino n’okumbuulira amakulu gaabyo, bajja kukwambaza olugoye olwa kakobe, omukuufu ogwa zzaabu gujja kuteekebwa mu bulago bwo, era ojja kuweebwa ekifo eky’okusatu mu bwakabaka.”+
17 Danyeri n’agamba kabaka nti: “Ebirabo byo byesigalize era empeera yo giwe abalala. Naye nja kusomera kabaka ebigambo ebyo era mmubuulire n’amakulu gaabyo. 18 Ai kabaka, Katonda Asingayo Okuba Waggulu yawa kitaawo Nebukadduneeza obwakabaka, n’obukulu, n’ekitiibwa.+ 19 Olw’obukulu bwe yamuwa, abantu ab’amawanga gonna n’ennimi zonna baakankaniranga mu maaso ge olw’okutya.+ Yattanga gwe yayagalanga okutta, n’ataliza gwe yayagalanga okutaliza; era yagulumizanga gwe yayagalanga okugulumiza, n’atoowaza gwe yayagalanga okutoowaza.+ 20 Naye omutima gwe bwe gwafuuka ogw’amalala, era bwe yakakanyala, kyamuviirako okwekulumbaza,+ n’aggibwa ku ntebe y’obwakabaka bwe, era n’ekitiibwa kye ne kimuggibwako. 21 Yagobwa mu bantu era omutima gwe gwafuulibwa ng’ogw’ensolo, era yali abeera wamu n’endogoyi ez’omu nsiko. Yalyanga muddo ng’ente, era omusulo ogw’oku ggulu gwatobyanga omubiri gwe, okutuusa lwe yamanya nti Oyo Asingayo Okuba Waggulu y’Afuga mu bwakabaka bw’abantu, era nti abuwa oyo yenna gw’ayagala.+
22 “Naye ggwe mutabani we Berusazza totoowazza mutima gwo wadde ng’ebyo byonna wabimanya. 23 Wabula weegulumirizza ku Mukama w’eggulu,+ n’olagira bakuleetere ebintu by’omu nnyumba ye.+ Era ggwe n’abakungu bo, ne bakazi bo, n’abazaana bo, mubinywereddemu omwenge ne mutendereza bakatonda aba ffeeza ne zzaabu, ab’ekikomo, ab’ekyuma, ab’emiti, n’ab’amayinja, bakatonda abatasobola kulaba wadde okuwulira ekintu kyonna, era abatalina kye bamanyi.+ Kyokka Katonda alina obuyinza ku bulamu bwo+ ne ku makubo go gonna tomugulumizza. 24 Omukono kyeguvudde guva gy’ali, ebigambo ebyo ne biwandiikibwa.+ 25 Ebiwandiikiddwa bye bino: MENE, MENE, TEKEL, ne PARSIN.
26 “Gano ge makulu g’ebigambo ebyo: MENE, Katonda abaze ennaku z’obwakabaka bwo era abukomezza.+
27 “TEKEL, opimiddwa ku minzaani n’osangibwa ng’obulako.
28 “PERES, obwakabaka bwo bwawuziddwamu ne buweebwa Abameedi n’Abaperusi.”+
29 Awo Berusazza n’alagira ne bambaza Danyeri olugoye olwa kakobe, ne bateeka omukuufu ogwa zzaabu mu bulago bwe, era ne balangirira nti agenda kuweebwa ekifo eky’okusatu eky’obufuzi mu bwakabaka.+
30 Mu kiro ekyo kyennyini, Berusazza, kabaka Omukaludaaya, yattibwa,+ 31 era Daliyo+ Omumeedi n’aweebwa obwakabaka; yalina emyaka nga 62.