LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Danyeri 1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yerusaalemi kizingizibwa Abababulooni (1, 2)

      • Abavubuka abaawambibwa batendekebwa mu ngeri ey’enjawulo (3-5)

      • Obwesigwa bw’Abebbulaniya abana bugezesebwa (6-21)

Danyeri 1:1

Marginal References

  • +2By 36:4; Yer 22:18, 19; 36:30
  • +Ma 28:49, 50; 2Sk 24:1; 2By 36:5, 6

Indexes

  • Research Guide

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 18-19, 31-32

Danyeri 1:2

Footnotes

  • *

    Oba, “yeekaalu.”

  • *

    Kwe kugamba, Babulooniya.

  • *

    Oba, “yeekaalu.”

Marginal References

  • +Is 42:24
  • +Lub 10:9, 10
  • +2By 36:7; Ezr 1:7

Indexes

  • Research Guide

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 32-33

Danyeri 1:3

Footnotes

  • *

    Obut., “abaana ba Isirayiri.”

Marginal References

  • +2Sk 20:16, 18

Indexes

  • Research Guide

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 33

Danyeri 1:4

Footnotes

  • *

    Obut., “abaana.”

  • *

    Obut., “empandiika.”

Marginal References

  • +Dan 1:17, 20; 5:11, 12

Indexes

  • Research Guide

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 7, 33-34

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/1993, lup. 16-17

Danyeri 1:5

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “okuliisibwa obulungi.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2005, lup. 14

    7/1/1993, lup. 16-17

    4/1/1989, lup. 9

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 34-35

Danyeri 1:6

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Katonda ye Mulamuzi Wange.”

  • *

    Litegeeza, “Yakuwa Alaze Ekisa.”

  • *

    Liyinza okuba litegeeza, “Ani Alinga Katonda?”

  • *

    Litegeeza, “Yakuwa Ayambye.”

Marginal References

  • +Dan 2:48; 5:13, 29
  • +Dan 2:17, 18

Indexes

  • Research Guide

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 33-34

Danyeri 1:7

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, amannya g’Ekibabulooni.

Marginal References

  • +Dan 4:8; 5:12
  • +Dan 2:49; 3:12, 28

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    10/2016, lup. 14

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 34-36

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/1989, lup. 8-9

Danyeri 1:8

Indexes

  • Research Guide

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 36-39

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/1989, lup. 9-10

Danyeri 1:9

Marginal References

  • +1Sk 8:49, 50; Zb 106:44, 46

Indexes

  • Research Guide

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 39

Danyeri 1:10

Footnotes

  • *

    Obut., “ng’abaana.”

  • *

    Obut., “kuleetera omutwe gwange.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2007, lup. 11

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 39

Danyeri 1:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2007, lup. 11

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 39-40

Danyeri 1:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2007, lup. 10

    8/1/2005, lup. 14-15

    4/1/1989, lup. 9

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 40

Danyeri 1:13

Footnotes

  • *

    Obut., “n’ey’abaana.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/1989, lup. 9

Danyeri 1:15

Footnotes

  • *

    Obut., “abaana.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2007, lup. 10

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 40-41

Danyeri 1:16

Indexes

  • Research Guide

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 41

Danyeri 1:17

Footnotes

  • *

    Obut., “abaana.”

Marginal References

  • +Dan 1:20; 4:9; 5:11, 12

Indexes

  • Research Guide

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 41-42

Danyeri 1:18

Marginal References

  • +Dan 1:5

Indexes

  • Research Guide

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 42

Danyeri 1:19

Marginal References

  • +Dan 1:3, 6

Indexes

  • Research Guide

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 43

Danyeri 1:20

Marginal References

  • +Dan 2:2; 4:7; 5:8

Indexes

  • Research Guide

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 43-44

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/1989, lup. 4

Danyeri 1:21

Marginal References

  • +Dan 6:28; 10:1

Indexes

  • Research Guide

    Obunnabbi bwa Danyeri, lup. 44-45

General

Dan. 1:12By 36:4; Yer 22:18, 19; 36:30
Dan. 1:1Ma 28:49, 50; 2Sk 24:1; 2By 36:5, 6
Dan. 1:2Is 42:24
Dan. 1:2Lub 10:9, 10
Dan. 1:22By 36:7; Ezr 1:7
Dan. 1:32Sk 20:16, 18
Dan. 1:4Dan 1:17, 20; 5:11, 12
Dan. 1:6Dan 2:48; 5:13, 29
Dan. 1:6Dan 2:17, 18
Dan. 1:7Dan 2:49; 3:12, 28
Dan. 1:7Dan 4:8; 5:12
Dan. 1:91Sk 8:49, 50; Zb 106:44, 46
Dan. 1:17Dan 1:20; 4:9; 5:11, 12
Dan. 1:18Dan 1:5
Dan. 1:19Dan 1:3, 6
Dan. 1:20Dan 2:2; 4:7; 5:8
Dan. 1:21Dan 6:28; 10:1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Danyeri 1:1-21

Danyeri

1 Mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu+ kabaka wa Yuda, Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni yagenda e Yerusaalemi n’akizingiza.+ 2 Yakuwa n’awaayo Yekoyakimu kabaka wa Yuda mu mukono gwe,+ awamu n’ebimu ku bintu by’omu nnyumba* ya Katonda ow’amazima, n’abireeta mu nsi ya Sinaali*+ mu nnyumba* ya katonda we, n’abiteeka mu ggwanika lya katonda we.+

3 Awo kabaka n’alagira Asupenaazi omukulu w’abaami b’omu lubiri okuleeta abamu ku Bayisirayiri,* nga mw’otwalidde n’ab’olulyo olulangira n’abaana b’abakungu.+ 4 Baalina okuba abavubuka* abataliiko kamogo konna, abalabika obulungi, abagezi, abamanyi ebintu ebingi, abategeevu,+ era abasobola okuweereza mu lubiri lwa kabaka. Yalina okubayigiriza amagezi* g’Abakaludaaya n’olulimi lwabwe. 5 Ate era kabaka yalagira nti buli lunaku baweebwenga emmere n’omwenge okuva ku mmere ya kabaka ne ku mwenge gwe. Baalina okutendekebwa* okumala emyaka esatu, era ku nkomerero y’emyaka egyo baali ba kutandika okuweereza mu lubiri lwa kabaka.

6 Mu bo mwalimu abamu ku b’omu kika kya Yuda bano: Danyeri,*+ Kananiya,* Misayeri,* ne Azaliya.*+ 7 Awo omukulu w’abaami b’omu lubiri n’abawa amannya;* Danyeri n’amutuuma Berutesazza,+ Kananiya n’amutuuma Saddulaaki, Misayeri n’amutuuma Mesaki, ate Azaliya n’amutuuma Abeduneego.+

8 Naye Danyeri yamalirira mu mutima gwe obuteeyonoona na mmere ya kabaka oba n’omwenge gwe yanywanga. Bw’atyo n’asaba omukulu w’abaami b’omu lubiri amukkirize aleme kweyonoona mu ngeri eyo. 9 Katonda ow’amazima n’aleetera omukulu w’abaami b’omu lubiri okulaga Danyeri ekisa n’obusaasizi.+ 10 Omukulu w’abaami b’omu lubiri n’agamba Danyeri nti: “Ntya mukama wange kabaka eyalagira bye mulina okulya ne bye mulina okunywa. Watya singa anaabalaba nga temulabika bulungi ng’abavubuka* abalala ab’emyaka gyammwe? Mujja kundeetera* okubaako omusango mu maaso ga kabaka.” 11 Naye Danyeri n’agamba omusigire, omukulu w’abaami b’omu lubiri gwe yali akwasizza Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri, ne Azaliya nti: 12 “Nkwegayiridde, gezesa abaweereza bo okumala ennaku kkumi, tuweebwenga mmere eva mu birime na mazzi, 13 oluvannyuma ogeraageranye endabika yaffe n’ey’abavubuka* abalya ku mmere ya kabaka, olyoke osalewo eky’okukolera abaweereza bo ng’osinziira ku ekyo ky’onooba olaba.”

14 Awo n’akkiriza kye baasaba, n’abagezesa okumala ennaku kkumi. 15 Ennaku ekkumi we zaggweerako baali balabika bulungi era nga bagevvu okusinga abavubuka* abalala bonna abaali balya ku mmere ya kabaka. 16 Awo omusigire n’abawanga emmere eva mu birime mu kifo ky’emmere ya kabaka n’omwenge gwe. 17 Katonda ow’amazima yasobozesa abavubuka* abo abana okumanya n’okutegeera ebiwandiiko byonna era n’abawa amagezi; era Danyeri yaweebwa n’obusobozi bw’okutegeera okwolesebwa okwa buli ngeri n’ebirooto ebya buli ngeri.+

18 Ekiseera kabaka kye yali alagidde batwalibwe bwe kyatuuka,+ omukulu w’abaami b’omu lubiri n’abatwala mu maaso ga Nebukadduneeza. 19 Kabaka bwe yayogera nabo, tewaali n’omu mu kibinja kyonna eyalinga Danyeri, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya;+ era beeyongera okuweereza mu maaso ga kabaka. 20 Mu buli nsonga yonna eyali yeetaagisa amagezi n’okutegeera kabaka gye yababuuzanga, yakiraba nti baali basinga emirundi kkumi bakabona bonna abaakolanga eby’obufumu, n’abalaguzi bonna+ abaali mu bwakabaka bwe bwonna. 21 Danyeri yasigala eyo okutuusa mu mwaka ogusooka ogw’obufuzi bwa Kabaka Kuulo.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share