LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Eby’Abaleevi 18
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okwegatta okutakkirizibwa (1-30)

        • Temukoppa Bakanani (3)

        • Okwegatta ne b’olinako oluganda (6-18)

        • Omukazi ng’ali mu nsonga (19)

        • Okulya ebisiyaga (22)

        • Okwegatta n’ensolo (23)

        • ‘Mubeere balongoofu, ensi ereme kubasesema’ (24-30)

Eby’Abaleevi 18:2

Marginal References

  • +Lub 17:7; Kuv 6:7

Eby’Abaleevi 18:3

Marginal References

  • +Kuv 23:24; Lev 20:23

Eby’Abaleevi 18:4

Marginal References

  • +Lev 20:22; Ma 4:1

Eby’Abaleevi 18:5

Marginal References

  • +Luk 10:27, 28; Bar 10:5; Bag 3:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2009, lup. 6

Eby’Abaleevi 18:6

Footnotes

  • *

    Obut., “okubikkula obwereere bwe.”

Marginal References

  • +Lev 20:17

Eby’Abaleevi 18:8

Footnotes

  • *

    Obut., “Obwo bwereere bwa kitaawo.”

Marginal References

  • +Lub 35:22; 49:4; Lev 20:11; Ma 27:20; 2Sa 16:21; 1Ko 5:1

Eby’Abaleevi 18:9

Marginal References

  • +Lev 20:17; Ma 27:22; 2Sa 13:10-12

Eby’Abaleevi 18:12

Marginal References

  • +Lev 20:19

Eby’Abaleevi 18:14

Footnotes

  • *

    Obut., “Tobikkulanga bwereere bwa muganda wa kitaawo.”

Marginal References

  • +Lev 20:20

Eby’Abaleevi 18:15

Marginal References

  • +Lev 20:12

Eby’Abaleevi 18:16

Footnotes

  • *

    Obut., “obwo bwereere bwa muganda wo.”

Marginal References

  • +Lev 20:21; Ma 25:5; Mak 6:17, 18

Eby’Abaleevi 18:17

Footnotes

  • *

    Oba, “kikolwa kya buswavu.”

Marginal References

  • +Lev 20:14; Ma 27:23

Eby’Abaleevi 18:18

Marginal References

  • +Lub 30:15

Eby’Abaleevi 18:19

Marginal References

  • +Lev 15:19, 24; 20:18

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1989, lup. 6-7

Eby’Abaleevi 18:20

Footnotes

  • *

    Oba, “muliraanwa wo.”

Marginal References

  • +Kuv 20:14; Lev 20:10; Ma 22:22; Nge 6:29; Mat 5:27, 28; 1Ko 6:9, 10; Beb 13:4

Eby’Abaleevi 18:21

Marginal References

  • +Lev 20:2; Ma 18:10; 1Sk 11:7; 2Sk 23:10
  • +Lev 20:3

Eby’Abaleevi 18:22

Marginal References

  • +Lub 19:5; Lev 20:13; Bal 19:22; Bar 1:26, 27; 1Ko 6:9, 10; Yud 7

Eby’Abaleevi 18:23

Marginal References

  • +Kuv 22:19; Lev 20:15, 16

Eby’Abaleevi 18:24

Marginal References

  • +Lev 20:23; Ma 18:12

Eby’Abaleevi 18:25

Marginal References

  • +Lub 15:16

Eby’Abaleevi 18:26

Marginal References

  • +Lev 20:22; Ma 4:1, 40
  • +Kuv 12:49

Eby’Abaleevi 18:27

Marginal References

  • +Ma 20:17, 18; 2Sk 16:2, 3; 21:1, 2

Eby’Abaleevi 18:30

Marginal References

  • +Lev 18:3; 20:23; Ma 18:9

General

Leev. 18:2Lub 17:7; Kuv 6:7
Leev. 18:3Kuv 23:24; Lev 20:23
Leev. 18:4Lev 20:22; Ma 4:1
Leev. 18:5Luk 10:27, 28; Bar 10:5; Bag 3:12
Leev. 18:6Lev 20:17
Leev. 18:8Lub 35:22; 49:4; Lev 20:11; Ma 27:20; 2Sa 16:21; 1Ko 5:1
Leev. 18:9Lev 20:17; Ma 27:22; 2Sa 13:10-12
Leev. 18:12Lev 20:19
Leev. 18:14Lev 20:20
Leev. 18:15Lev 20:12
Leev. 18:16Lev 20:21; Ma 25:5; Mak 6:17, 18
Leev. 18:17Lev 20:14; Ma 27:23
Leev. 18:18Lub 30:15
Leev. 18:19Lev 15:19, 24; 20:18
Leev. 18:20Kuv 20:14; Lev 20:10; Ma 22:22; Nge 6:29; Mat 5:27, 28; 1Ko 6:9, 10; Beb 13:4
Leev. 18:21Lev 20:2; Ma 18:10; 1Sk 11:7; 2Sk 23:10
Leev. 18:21Lev 20:3
Leev. 18:22Lub 19:5; Lev 20:13; Bal 19:22; Bar 1:26, 27; 1Ko 6:9, 10; Yud 7
Leev. 18:23Kuv 22:19; Lev 20:15, 16
Leev. 18:24Lev 20:23; Ma 18:12
Leev. 18:25Lub 15:16
Leev. 18:26Lev 20:22; Ma 4:1, 40
Leev. 18:26Kuv 12:49
Leev. 18:27Ma 20:17, 18; 2Sk 16:2, 3; 21:1, 2
Leev. 18:30Lev 18:3; 20:23; Ma 18:9
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Eby’Abaleevi 18:1-30

Eby’Abaleevi

18 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 2 “Yogera n’Abayisirayiri obagambe nti, ‘Nze Yakuwa Katonda wammwe.+ 3 Temweyisanga ng’abantu bwe beeyisa mu nsi ya Misiri gye mwabeerangamu, era temukolanga ebyo ebikolebwa mu nsi ya Kanani gye mbatwalamu;+ era temutambuliranga mu mateeka gaabwe. 4 Mugobererenga ebiragiro byange era mukwatenga amateeka gange era mugatambulirengamu.+ Nze Yakuwa Katonda wammwe. 5 Mukwatenga amateeka gange n’ebiragiro byange; omuntu yenna anaabikwatanga anaabanga mulamu olw’ebyo.+ Nze Yakuwa.

6 “‘Tewabanga n’omu ku mmwe asemberera oyo gw’alinako oluganda olw’okumpi okwegatta naye.*+ Nze Yakuwa. 7 Teweegattanga na kitaawo era teweegattanga na nnyoko. Oyo maama wo; teweegattanga naye.

8 “‘Teweegattanga na muka kitaawo.+ Ekyo kiweebuula kitaawo.*

9 “‘Teweegattanga na mwannyoko, k’abe muwala wa kitaawo oba muwala wa nnyoko, k’abe nga yazaalibwa mu maka ge gamu naawe oba nedda.+

10 “‘Teweegattanga na muwala wa mutabani wo oba na muwala wa muwala wo, kubanga ekyo kikuweebuula.

11 “‘Teweegattanga na muwala wa muka kitaawo, kitaawo gw’azaala, kubanga oyo mwannyoko.

12 “‘Teweegattanga na ssenga wo. Alina oluganda olw’omusaayi ku kitaawo.+

13 “‘Teweegattanga na muganda wa maama wo, kubanga alina oluganda olw’omusaayi ku maama wo.

14 “‘Toweebuulanga muganda wa kitaawo* nga weegatta ne mukazi we. Oyo maama wo omuto.+

15 “‘Teweegattanga na muka mwana wo.+ Oyo muka mutabani wo, era teweegattanga naye.

16 “‘Teweegattanga na muka muganda wo,+ kubanga ekyo kiweebuula muganda wo.*

17 “‘Teweegattanga na mukazi era ne muwala we.+ Totwalanga muwala wa mutabani we ne muwala wa muwala we ne weegatta nabo. Omukazi oyo abalinako oluganda olw’okumpi; ekyo kikolwa kya bugwenyufu.*

18 “‘Towasanga muganda wa mukazi wo kumufuula muggya we,+ ne weegatta naye nga muganda we akyali mulamu.

19 “‘Tosembereranga omukazi okwegatta naye ng’ali mu nsonga kubanga taba mulongoofu.+

20 “‘Teweegattanga na muka munno* n’ofuuka atali mulongoofu.+

21 “‘Towangayo mwana wo yenna eri Moleki.+ Tovvoolanga linnya lya Katonda wo mu ngeri eyo.+ Nze Yakuwa.

22 “‘Teweegattanga na musajja munno nga bwe weegatta n’omukazi.+ Ekyo kikolwa kya muzizo.

23 “‘Omusajja teyeegattanga na nsolo n’afuuka atali mulongoofu olw’ekikolwa ekyo. Era n’omukazi teyeegattanga na nsolo.+ Ekyo si kya buzaaliranwa.

24 “‘Temufuukanga batali balongoofu olw’okukola ekimu ku bintu ebyo, kubanga amawanga ge ngoba mu maaso gammwe gafuuse agatali malongoofu olw’okukola ebintu ebyo byonna.+ 25 N’olwekyo, ensi efuuse etali nnongoofu, era nja kugibonereza olw’ensobi zaayo, era ejja kusesema abo abagibeeramu.+ 26 Naye mmwe mukwatenga amateeka gange n’ebiragiro byange,+ era temukolanga kintu na kimu ku by’omuzizo ebyo byonna, k’abe Omuyisirayiri oba omugwira abeera mu mmwe.+ 27 Abantu abaabasooka okubeera mu nsi eyo baakolanga ebintu ebyo byonna eby’omuzizo,+ era kaakano ensi si nnongoofu. 28 Naye bwe munaakwata amateeka gange n’ebiragiro byange, ensi tejja kubasesema olw’okugyonoona nga bw’egenda okusesema amawanga agaabasooka okugibeeramu. 29 Omuntu yenna anaakolanga ekimu ku by’omuzizo ebyo, abantu abo bonna ababikola banattibwanga. 30 Mukwatenga ebiragiro byange muleme okukola ekintu kyonna eky’omuzizo ekyakolebwanga abo abaabasooka,+ muleme kufuuka abatali balongoofu olw’ebintu ebyo. Nze Yakuwa Katonda wammwe.’”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share