LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Eby’Abaleevi 24
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Amafuta g’ettaala z’omu weema entukuvu (1-4)

      • Emigaati egy’okulaga (5-9)

      • Eyavvoola erinnya lya Katonda akubwa amayinja (10-23)

Eby’Abaleevi 24:2

Marginal References

  • +Kuv 27:20, 21; Kbl 8:2

Eby’Abaleevi 24:4

Marginal References

  • +Kuv 25:31; 39:33, 37; Beb 9:2

Eby’Abaleevi 24:5

Footnotes

  • *

    Obugaati buno bwabangamu ekituli.

  • *

    Bibiri bya kkumi ebya efa byali bigyaamu lita 4.4. Laba Ebyong. B14.

Eby’Abaleevi 24:6

Marginal References

  • +Kuv 25:23, 24; 1Sk 7:48
  • +Kuv 40:22, 23; 1Sa 21:4; Mak 2:25, 26

Eby’Abaleevi 24:7

Marginal References

  • +Lev 2:2; 6:15

Eby’Abaleevi 24:8

Marginal References

  • +Kbl 4:7; 1By 9:32; 2By 2:4

Eby’Abaleevi 24:9

Marginal References

  • +Lev 21:22; 22:10; 1Sa 21:4, 6; Mat 12:3, 4; Luk 6:3, 4
  • +Lev 6:14, 16

Eby’Abaleevi 24:10

Marginal References

  • +Kuv 12:38; Kbl 11:4

Eby’Abaleevi 24:11

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, erinnya Yakuwa, nga bwe kiragibwa mu lunyiriri 15 ne 16.

Marginal References

  • +Kuv 20:7; 22:28; Lev 19:12
  • +Kuv 18:22

Eby’Abaleevi 24:12

Marginal References

  • +Kuv 18:15, 16; Kbl 15:32, 34

Eby’Abaleevi 24:14

Marginal References

  • +Kbl 15:32, 35; Ma 17:7

Eby’Abaleevi 24:16

Marginal References

  • +Ma 5:11

Eby’Abaleevi 24:17

Marginal References

  • +Lub 9:6; Kuv 21:12; Kbl 35:31; Ma 19:11-13

Eby’Abaleevi 24:19

Marginal References

  • +Kuv 21:23, 24

Eby’Abaleevi 24:20

Marginal References

  • +Ma 19:21; Mat 5:38

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2009, lup. 18

Eby’Abaleevi 24:21

Marginal References

  • +Kuv 22:1
  • +Lub 9:6; Kuv 21:12

Eby’Abaleevi 24:22

Marginal References

  • +Kuv 12:49; Lev 17:10; 19:34; Kbl 9:14; 15:16

Eby’Abaleevi 24:23

Marginal References

  • +Kbl 15:33, 36; Ma 17:7

General

Leev. 24:2Kuv 27:20, 21; Kbl 8:2
Leev. 24:4Kuv 25:31; 39:33, 37; Beb 9:2
Leev. 24:6Kuv 25:23, 24; 1Sk 7:48
Leev. 24:6Kuv 40:22, 23; 1Sa 21:4; Mak 2:25, 26
Leev. 24:7Lev 2:2; 6:15
Leev. 24:8Kbl 4:7; 1By 9:32; 2By 2:4
Leev. 24:9Lev 21:22; 22:10; 1Sa 21:4, 6; Mat 12:3, 4; Luk 6:3, 4
Leev. 24:9Lev 6:14, 16
Leev. 24:10Kuv 12:38; Kbl 11:4
Leev. 24:11Kuv 20:7; 22:28; Lev 19:12
Leev. 24:11Kuv 18:22
Leev. 24:12Kuv 18:15, 16; Kbl 15:32, 34
Leev. 24:14Kbl 15:32, 35; Ma 17:7
Leev. 24:16Ma 5:11
Leev. 24:17Lub 9:6; Kuv 21:12; Kbl 35:31; Ma 19:11-13
Leev. 24:19Kuv 21:23, 24
Leev. 24:20Ma 19:21; Mat 5:38
Leev. 24:21Kuv 22:1
Leev. 24:21Lub 9:6; Kuv 21:12
Leev. 24:22Kuv 12:49; Lev 17:10; 19:34; Kbl 9:14; 15:16
Leev. 24:23Kbl 15:33, 36; Ma 17:7
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Eby’Abaleevi 24:1-23

Eby’Abaleevi

24 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 2 “Lagira Abayisirayiri bakuleetere amafuta amalongoofu ag’ezzeyituuni ag’okussa mu ttaala, kizisobozese okwakanga buli kiseera.+ 3 Buli kawungeezi, Alooni anaakoleezanga ettaala era n’akakasa nti zisigala zaakira mu maaso ga Yakuwa okutuusa ku makya, mu weema ey’okusisinkaniramu, mu maaso g’olutimbe oluli okumpi n’essanduuko y’endagaano. Eryo tteeka lya lubeerera mu mirembe gyammwe gyonna. 4 Bulijjo ajja kuteekanga ettaala ku kikondo ky’ettaala+ ekya zzaabu omulongoofu, mu maaso ga Yakuwa.

5 “Onoddiranga obuwunga obutaliimu mpulunguse n’obukolamu obugaati 12 obwetooloovu.* Buli kamu kajja kukolebwanga mu bitundu bibiri bya kkumi ebya efa* y’obuwunga. 6 Ojja kubuteeka ku mmeeza eya zzaabu omulongoofu mu maaso ga Yakuwa.+ Ojja kubuteeka mu mbu bbiri, buli lubu obugaati mukaaga.+ 7 Ojja kuteeka obubaani obweru obulongoofu ku buli lubu, era bujja kuba ng’ekiweebwayo ekikiikirira obugaati,+ ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro. 8 Ku buli Ssabbiiti anaateekanga obugaati obwo mu maaso ga Yakuwa.+ Eno ndagaano ya lubeerera wakati wange n’Abayisirayiri. 9 Bunaabanga bwa Alooni ne batabani be+ era banaabuliiranga mu kifo ekitukuvu,+ kubanga kintu kitukuvu nnyo eri kabona okuva ku biweebwayo bya Yakuwa ebyokebwa n’omuliro. Lino tteeka lya lubeerera.”

10 Mu Bayisirayiri mwalimu mutabani w’omukazi Omuyisirayiri nga kitaawe Mumisiri.+ Mutabani w’omukazi oyo yalwana n’omusajja Omuyisirayiri mu lusiisira. 11 Awo mutabani w’omukazi Omuyisirayiri n’avvoola erinnya lya Katonda* era n’alikolimira,+ ne bamutwala eri Musa.+ Nnyina yali ayitibwa Seromisi, muwala wa Dibuli ow’omu kika kya Ddaani. 12 Baabaako we bamukuumira okutuusa lwe banditegeeredde ddala ekyo Yakuwa ky’asazeewo.+

13 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 14 “Oyo eyakolima mumufulumye ebweru w’olusiisira, era abo bonna abaamuwulira bajja kussa emikono gyabwe ku mutwe gwe, era ekibiina kyonna kijja kumukuba amayinja.+ 15 Era gamba Abayisirayiri nti, ‘Omuntu yenna anaakolimiranga Katonda we, anaabonerezebwanga olw’ekibi kye. 16 Oyo anavvoolanga erinnya lya Yakuwa, anattibwanga.+ Ekibiina kyonna kinaamukubanga amayinja. Omugwira n’Omuyisirayiri banattibwanga olw’okuvvoola erinnya lya Katonda.

17 “‘Oyo anattanga omuntu naye anattibwanga.+ 18 Oyo anattanga ensolo ey’awaka etali yiye anaagiriwanga; obulamu bunaawebwangayo olw’obulamu. 19 Omuntu bw’anaatuusanga ku munne ebisago, naye anaatuusibwangako ebisago bye bimu.+ 20 Amenya munne eggumba n’erirye linaamenyebwanga. Eriiso linaaweebwangayo olw’eriiso, n’erinnyo olw’erinnyo; ebisago omuntu by’anaatuusanga ku mulala, naye bye binaamutuusibwangako.+ 21 Oyo anattanga ensolo etali yiye anaagiriwanga,+ naye oyo anattanga omuntu anattibwanga.+

22 “‘Etteeka linaabanga lye limu eri omugwira n’eri Omuyisirayiri,+ kubanga nze Yakuwa Katonda wammwe.’”

23 Awo Musa n’ayogera n’Abayisirayiri, oyo eyakolima ne bamufulumya ebweru w’olusiisira ne bamukuba amayinja.+ Bwe batyo Abayisirayiri ne bakolera ddala nga Yakuwa bwe yali alagidde Musa.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share