LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 63
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yakuwa awoolera eggwanga ku mawanga (1-6)

      • Okwagala okutajjulukuka Yakuwa kwe yalaga mu biseera eby’edda (7-14)

      • Essaala ey’okwenenya (15-19)

Isaaya 63:1

Marginal References

  • +Zb 137:7; Is 34:5, 6
  • +Am 1:12

Isaaya 63:2

Marginal References

  • +Yow. 3:13; Kub 14:19, 20; 19:15

Isaaya 63:3

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, eryato erisogolerwamu omwenge.

Marginal References

  • +Is 34:2

Isaaya 63:4

Marginal References

  • +Is 34:8; 35:4; 61:1, 2

Isaaya 63:5

Footnotes

  • *

    Oba, “gwe gwandeetera obuwanguzi.”

Marginal References

  • +Is 51:9; 52:10; 59:16

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 7

Isaaya 63:6

Marginal References

  • +Yer 25:15, 16

Isaaya 63:7

Marginal References

  • +Zb 78:12; 105:5

Isaaya 63:8

Marginal References

  • +Kuv 24:7
  • +Kuv 14:30

Isaaya 63:9

Footnotes

  • *

    Oba, “malayika eyava mu maaso ge.”

Marginal References

  • +Kuv 3:7
  • +Kuv 14:19; 23:20
  • +Ma 7:8
  • +Kuv 19:4; Ma 1:31

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 3 2018 lup. 8

Isaaya 63:10

Marginal References

  • +Ma 9:7
  • +Bik 7:51; Bef 4:30
  • +Lev 26:14, 17; Ma 28:63
  • +Yer 21:5

Isaaya 63:11

Marginal References

  • +Kuv 14:30; Is 51:10
  • +Zb 77:20
  • +Kbl 11:16, 17

Isaaya 63:12

Marginal References

  • +Kuv 6:1, 6; 15:16
  • +Kuv 14:21, 22
  • +Kuv 9:15, 16; 14:17; Bar 9:17

Isaaya 63:13

Footnotes

  • *

    Oba, “mu ddungu?”

Isaaya 63:14

Footnotes

  • *

    Oba, “eddungi.”

Marginal References

  • +Yos 22:4
  • +2Sa 7:23; Nek 9:10

Isaaya 63:15

Footnotes

  • *

    Oba, “ekirabika obulungi.”

Marginal References

  • +Yer 31:20
  • +Ma 4:31; Nek 9:17

Isaaya 63:16

Marginal References

  • +Kuv 4:22
  • +Is 41:14

Isaaya 63:17

Marginal References

  • +Is 6:10
  • +Zb 74:2; 80:14, 15

Isaaya 63:18

Marginal References

  • +2By 36:19; Is 64:11; Kuk 1:10

General

Is. 63:1Zb 137:7; Is 34:5, 6
Is. 63:1Am 1:12
Is. 63:2Yow. 3:13; Kub 14:19, 20; 19:15
Is. 63:3Is 34:2
Is. 63:4Is 34:8; 35:4; 61:1, 2
Is. 63:5Is 51:9; 52:10; 59:16
Is. 63:6Yer 25:15, 16
Is. 63:7Zb 78:12; 105:5
Is. 63:8Kuv 24:7
Is. 63:8Kuv 14:30
Is. 63:9Kuv 3:7
Is. 63:9Kuv 14:19; 23:20
Is. 63:9Ma 7:8
Is. 63:9Kuv 19:4; Ma 1:31
Is. 63:10Ma 9:7
Is. 63:10Bik 7:51; Bef 4:30
Is. 63:10Lev 26:14, 17; Ma 28:63
Is. 63:10Yer 21:5
Is. 63:11Kuv 14:30; Is 51:10
Is. 63:11Zb 77:20
Is. 63:11Kbl 11:16, 17
Is. 63:12Kuv 6:1, 6; 15:16
Is. 63:12Kuv 14:21, 22
Is. 63:12Kuv 9:15, 16; 14:17; Bar 9:17
Is. 63:14Yos 22:4
Is. 63:142Sa 7:23; Nek 9:10
Is. 63:15Yer 31:20
Is. 63:15Ma 4:31; Nek 9:17
Is. 63:16Kuv 4:22
Is. 63:16Is 41:14
Is. 63:17Is 6:10
Is. 63:17Zb 74:2; 80:14, 15
Is. 63:182By 36:19; Is 64:11; Kuk 1:10
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 63:1-19

Isaaya

63 Ani oyo ava mu Edomu,+

Ava mu Bozula+ ng’ayambadde ebyambalo ebya langi enkyamufu,

Ayambadde engoye ez’ekitiibwa,

Atambuza amaanyi amangi?

“Ye nze, ayogera eby’obutuukirivu,

Alina amaanyi amangi okulokola.”

 2 Lwaki engoye zo mmyufu,

Era lwaki ebyambalo byo biringa eby’omuntu asambirira ezzabbibu mu ssogolero?+

 3 “Nnasambirira ezzabbibu mu ssogolero* nga ndi bw’omu.

Tewali muntu yenna yali nange.

Nnabasambirira mu busungu bwange,

Era nnabalinnyirira mu kiruyi kyange.+

Omusaayi gwabwe gwasammuka ku byambalo byange,

Era engoye zange zonna zijjudde amabala.

 4 Kubanga olunaku olw’okuwoolerako eggwanga luli mu mutima gwange,+

N’omwaka gwe banaanunulibwamu gutuuse.

 5 Nnatunula, naye tewaali annyamba;

Nneewuunya nti tewali n’omu yannyamba.

Omukono gwange gwe gwandokola,*+

Era obusungu bwange bwe bwannyamba.

 6 Nnasambirira amawanga mu busungu bwange,

Nnabatamiiza n’ekiruyi kyange+

Ne ngiwa omusaayi gwabwe ku ttaka.”

 7 Nja kwogera ku bikolwa bya Yakuwa eby’okwagala okutajjulukuka,

Ebikolwa bya Yakuwa eby’ettendo,

Olw’ebyo byonna Yakuwa by’atukoledde,+

Ebintu ebirungi ebingi by’akoledde ennyumba ya Isirayiri,

Olw’okusaasira kwe n’olw’okwagala kwe okungi okutajjulukuka.

 8 Kubanga yagamba nti: “Mazima ddala bantu bange, baana abatalirema kubeera beesigwa.”+

Kyeyava abeera Omulokozi waabwe.+

 9 Mu kubonaabona kwabwe kwonna yalumwanga.+

Era omubaka we* yabalokola.+

Mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe, yabanunula,+

N’abayimusa era n’abasitula mu nnaku zonna ez’edda.+

10 Naye baajeema+ ne banakuwaza omwoyo gwe omutukuvu.+

Kyeyava afuuka omulabe waabwe,+

N’abalwanyisa.+

11 Awo ne bajjukira ennaku ez’edda,

Ennaku za Musa omuweereza we, ne bagamba nti:

“Ali ludda wa Oyo eyabayisa mu nnyanja+ nga muli wamu n’abasumba b’ekisibo kye?+

Ali ludda wa Oyo eyamussaamu omwoyo gwe omutukuvu,+

12 Oyo eyatambuliza omukono gwe ogw’ekitiibwa awamu n’omukono gwa Musa ogwa ddyo,+

Oyo eyayawulamu amazzi mu maaso gaabwe+

Asobole okwekolera erinnya ery’olubeerera,+

13 Oyo eyabayisa mu mazzi agaali geetuumye,

Ne batambula nga tebeesittadde,

Ng’embalaasi bw’etambulira ku ttale?*

14 Ng’ebisibo bwe biba nga bigenze mu lusenyi,

Omwoyo gwa Yakuwa gwabawummuza.”+

Bw’otyo bwe wakulembera abantu bo,

Osobole okwekolera erinnya ery’ekitiibwa.*+

15 Tunula wansi ng’oyima mu ggulu olabe

Ng’oyima mu kifo kyo ky’obeeramu ekitukuvu era eky’ekitiibwa.*

Lwaki tokyafaayo? Lwaki tokyakozesa maanyi go?

Ekisa kyo ekyefukuta+ era n’okusaasira kwo biri ludda wa?+

Tebindagiddwa.

16 Ggwe Kitaffe;+

Wadde nga Ibulayimu ayinza obutatumanya

Era nga ne Isirayiri ayinza obutatutegeera,

Ggwe, Ai Yakuwa, ggwe Kitaffe.

Omununuzi waffe ow’edda lye linnya lyo.+

17 Ai Yakuwa, lwaki otuleka ne tuva mu makubo go?

Lwaki oleka emitima gyaffe okuguba, ne tuba nga tetukutya?+

Komawo ku lw’abaweereza bo,

Ebika by’obusika bwo.+

18 Abantu bo abatukuvu baabeera mu nsi okumala ekiseera kitono.

Abalabe baffe balinnyiridde ekifo kyo ekitukuvu.+

19 Okumala ekiseera kiwanvu tubadde ng’abo b’otofugangako,

Tubadde ng’abo abatayitibwangako linnya lyo.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share