LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okubikkulirwa 4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Alaba Yakuwa mu kwolesebwa (1-11)

        • Yakuwa ng’atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka (2)

        • Abakadde 24 nga bali ku ntebe z’obwakabaka (4)

        • Ebiramu ebina (6)

Okubikkulirwa 4:2

Marginal References

  • +1Sk 22:19; Is 6:1; Ezk 1:26, 27; Dan 7:9; Bik 7:55

Okubikkulirwa 4:3

Footnotes

  • *

    Oba, “ejjinja ery’omuwendo erimyufu.”

Marginal References

  • +Kub 21:10, 11
  • +1Yo 1:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 6 2016 lup. 4

Okubikkulirwa 4:4

Marginal References

  • +Kub 4:10; 5:8; 11:16; 19:4

Okubikkulirwa 4:5

Marginal References

  • +Ezk 1:13
  • +Kuv 19:16
  • +Kub 1:4; 5:6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/15/2009, lup. 30

Okubikkulirwa 4:6

Marginal References

  • +Kuv 30:18; 1Sk 7:23
  • +Ezk 1:5-10

Okubikkulirwa 4:7

Marginal References

  • +Nge 28:1; Is 31:4
  • +Yob 39:9-11; Kub 6:3
  • +Kub 6:5
  • +Kub 6:7
  • +Yob 39:27, 29; Ezk 1:10

Okubikkulirwa 4:8

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Marginal References

  • +Ezk 10:9, 12
  • +Is 6:2, 3
  • +Kub 1:4

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 4

Okubikkulirwa 4:9

Marginal References

  • +Zb 90:2; Dan 12:7

Okubikkulirwa 4:10

Marginal References

  • +Kub 5:8

Okubikkulirwa 4:11

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Marginal References

  • +Kub 5:13; 7:12; 11:17; 12:10
  • +Mat 5:16; Kub 14:7
  • +Kub 19:10
  • +Kub 10:6

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 4

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2009, lup. 27

    12/1/1999, lup. 22

General

Kub. 4:21Sk 22:19; Is 6:1; Ezk 1:26, 27; Dan 7:9; Bik 7:55
Kub. 4:3Kub 21:10, 11
Kub. 4:31Yo 1:5
Kub. 4:4Kub 4:10; 5:8; 11:16; 19:4
Kub. 4:5Ezk 1:13
Kub. 4:5Kuv 19:16
Kub. 4:5Kub 1:4; 5:6
Kub. 4:6Kuv 30:18; 1Sk 7:23
Kub. 4:6Ezk 1:5-10
Kub. 4:7Nge 28:1; Is 31:4
Kub. 4:7Yob 39:9-11; Kub 6:3
Kub. 4:7Kub 6:5
Kub. 4:7Kub 6:7
Kub. 4:7Yob 39:27, 29; Ezk 1:10
Kub. 4:8Ezk 10:9, 12
Kub. 4:8Is 6:2, 3
Kub. 4:8Kub 1:4
Kub. 4:9Zb 90:2; Dan 12:7
Kub. 4:10Kub 5:8
Kub. 4:11Kub 5:13; 7:12; 11:17; 12:10
Kub. 4:11Mat 5:16; Kub 14:7
Kub. 4:11Kub 19:10
Kub. 4:11Kub 10:6
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Okubikkulirwa 4:1-11

Okubikkulirwa

4 Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba era laba! oluggi olugguddwawo mu ggulu, era eddoboozi lye nnasooka okuwulira lyali livuga ng’ekkondeere, ne liŋŋamba nti: “Jjangu wano, era nja kukulaga ebintu ebiteekwa okubaawo.” 2 Amangu ago omwoyo gwa Katonda ne gumbeerako: era laba! entebe y’obwakabaka yali mu kifo kyayo mu ggulu, era waliwo eyali agituddeko.+ 3 Eyali agituddeko yali afaanana ng’ejjinja lya yasepi n’ejjinja lya sadiyo,*+ era entebe ye yali yeetooloddwa musoke afaanana ng’ejjinja eriyitibwa zumaliidi.+

4 Era okwetooloola entebe y’obwakabaka eyo waaliwo entebe z’obwakabaka 24; ku ntebe ezo kwali kutuddeko abakadde 24+ nga bambadde ebyambalo ebyeru era nga ku mitwe gyabwe kuliko engule eza zzaabu. 5 Mu ntebe ey’obwakabaka mwali muvaamu okumyansa+ n’amaloboozi n’okubwatuka;+ era waaliwo ettaala musanvu ez’omuliro nga zaakira mu maaso g’entebe, era ettaala ezo zitegeeza emyoyo gya Katonda omusanvu.+ 6 Mu maaso g’entebe waaliwo ennyanja eringa endabirwamu+ era eringa ejjinja erimasamasa.

Era wakati w’entebe y’obwakabaka n’okugyetooloola waaliwo ebiramu bina+ nga bijjudde amaaso mu maaso n’emabega. 7 Ekiramu ekisooka kyali kifaanana ng’empologoma,+ eky’okubiri nga kifaanana ng’ente ento ennume,+ eky’okusatu+ kyalina obwenyi obulinga obw’omuntu, eky’okuna+ kyalinga empungu ebuuka.+ 8 Buli kimu ku biramu ebyo ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga; byali bijjudde amaaso ku njuyi zonna ne munda.+ Era emisana n’ekiro awatali kuwummula nga bigamba nti: “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Yakuwa*+ Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, eyaliwo, aliwo, era agenda okujja.”+

9 Buli ebiramu ebyo lwe byawanga ekitiibwa n’ettendo Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka abeerawo emirembe n’emirembe+ era ne bimwebaza, 10 ng’abakadde 24+ bavunnama mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka era nga basinza Oyo abeerawo emirembe n’emirembe, ate era nga basuula engule zaabwe mu maaso g’entebe, nga bagamba nti: 11 “Yakuwa,* Katonda waffe ow’amaanyi,+ ogwanidde okuweebwanga ekitiibwa+ n’ettendo,+ kubanga watonda ebintu byonna,+ era olw’okusiima kwo byabaawo era byatondebwa.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share