Engero
10 Engero za Sulemaani.+
Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe,+
Naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.
2 Eby’obugagga ebifunibwa mu makubo amakyamu tebigasa,
Naye obutuukirivu buwonya omuntu okufa.+
3 Yakuwa taalekenga mutuukirivu kulumwa njala,+
Naye ababi ajja kubamma bye beegomba.
5 Omwana akola ebintu mu ngeri ey’amagezi akungula ebirime mu kiseera eky’omusana,
Naye omwana akola ebiswaza yeebakira mu kiseera eky’amakungula.+
6 Omutwe gw’omutuukirivu gubaako emikisa,+
Naye akamwa k’omubi kasirikira ebikolwa eby’obukambwe by’ayagala okukola.
8 Omuntu ow’omutima ogw’amagezi akkiriza obulagirizi,*+
Naye oyo ayogera eby’obusirusiru ajja kulinnyirirwa.+
10 Oyo atta ku liiso n’ekigendererwa ekibi aleeta ennaku,+
N’oyo ayogera ebitali bya magezi wa kuzikirira.+
11 Akamwa k’omutuukirivu nsulo ya bulamu,+
Naye akamwa k’omubi kasirikira ebiruubirirwa eby’obukambwe.+
12 Obukyayi bwe buvaako ennyombo,
Naye okwagala kubikka ku bisobyo byonna.+
14 Abantu ab’amagezi batereka okumanya ng’ekintu eky’omuwendo,+
Naye akamwa k’omusirusiru kaleeta okuzikirira.+
15 Ebintu by’omugagga* kye kibuga kye ekiriko bbugwe.
Obwavu bwe buviirako omwavu okuzikirira.+
16 Ebikolwa by’omutuukirivu bimuviiramu obulamu;
Naye ebintu omubi by’afuna bimuleetera okwonoona.+
17 Oyo akkiriza okubuulirirwa alaga abalala ekkubo ery’obulamu,*
Naye oyo atayagala kunenyezebwa awabya abalala.
18 Oyo akweka obukyayi ayogera eby’obulimba,+
N’oyo agenda ng’ayogera ebitali bituufu ku balala* aba musirusiru.
20 Olulimi lw’omutuukirivu lulinga ffeeza asingayo obulungi,+
Naye omutima gw’omubi gugasa kitono.
24 Omubi ky’atya kijja kumutuukako;
Naye abatuukirivu bajja kuweebwa ebyo bye baagala.+
26 Ng’omwenge omukaatuufu bwe gunyenyeeza amannyo era ng’omukka bwe gubalagala mu maaso,
N’omugayaavu bw’atyo bw’aba eri oyo amutuma.*
29 Ekkubo lya Yakuwa kigo eri abo abataliiko kya kunenyezebwa,+
Naye litegeeza kuzikirira eri abo abakola ebibi.+
31 Akamwa k’omutuukirivu kavaamu* eby’amagezi,
Naye olulimi olwogera ebitasaana lujja kusirisibwa emirembe gyonna.
32 Emimwa gy’omutuukirivu gimanyi ebisanyusa,
Naye akamwa k’ababi koogera ebitasaana.