Isaaya
12 Ku lunaku olwo oligamba nti:
“Nkwebaza Ai Yakuwa,
Kubanga wadde nga wali onsunguwalidde,
Obusungu bwo bwakkakkana mpolampola n’ombudaabuda.+
2 Laba! Katonda bwe bulokozi bwange.+
Nnaamwesiganga ne sitya;+
Kubanga Ya* Yakuwa ge maanyi gange era bwe bukuumi bwange,
Era afuuse obulokozi bwange.”+
4 Era ku lunaku olwo muligamba nti:
“Mwebaze Yakuwa, mukoowoole erinnya lye,
Mumanyise ebikolwa bye mu mawanga!+
Mulangirire nti erinnya lye ligulumiziddwa.+
5 Muyimbe ennyimba ezitendereza Yakuwa,+ kubanga akoze ebintu eby’ekitalo.+
Kino ka kimanyisibwe mu nsi yonna.
6 Yogerera waggulu era leekaana olw’essanyu ggwe abeera* mu Sayuuni,
Kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”