LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Zabbuli 40
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okwebaza Katonda atageraageranyizika

        • Emirimu gya Katonda mingi nnyo tegisobola kubalika (5)

        • Ssaddaaka si ze zisinga obukulu eri Katonda (6)

        • “Nsanyukira okukola by’oyagala” (8)

Zabbuli 40:1

Footnotes

  • *

    Oba, “yakutama okuwuliriza.”

Marginal References

  • +Zb 34:15

Zabbuli 40:3

Marginal References

  • +Zb 33:3; 98:1

Zabbuli 40:4

Footnotes

  • *

    Oba, “abalimba.”

Zabbuli 40:5

Marginal References

  • +Kub 15:3
  • +Kuv 15:11
  • +Zb 139:17, 18

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 47

Zabbuli 40:6

Footnotes

  • *

    Oba, “tewabisanyukira.”

Marginal References

  • +1Sa 15:22; Zb 51:16, 17; Kos 6:6
  • +Is 50:5
  • +Beb 10:5-9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/1996, lup. 16

Zabbuli 40:7

Footnotes

  • *

    Obut., “mu muzingo gw’ekitabo.”

Marginal References

  • +Luk 24:44

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/1996, lup. 16

Zabbuli 40:8

Footnotes

  • *

    Oba, “njagala nnyo.”

Marginal References

  • +Yok 4:34
  • +Zb 37:31; Bar 7:22

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2017, lup. 13

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/15/2012, lup. 6-7

    7/1/1996, lup. 16

    2/1/1989, lup. 15-16

Zabbuli 40:9

Marginal References

  • +Zb 22:22
  • +Beb 13:15

Zabbuli 40:10

Marginal References

  • +Beb 2:12

Zabbuli 40:11

Marginal References

  • +Zb 61:6, 7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2005, lup. 19, 21

Zabbuli 40:12

Marginal References

  • +Zb 71:20
  • +Zb 38:4

Zabbuli 40:13

Marginal References

  • +Zb 25:17
  • +Zb 38:22; 70:1-5

Zabbuli 40:16

Marginal References

  • +Ma 4:29
  • +Zb 13:5
  • +Zb 35:27

Zabbuli 40:17

Marginal References

  • +Zb 54:4; Is 50:7; Beb 13:6
  • +Zb 143:7

General

Zab. 40:1Zb 34:15
Zab. 40:3Zb 33:3; 98:1
Zab. 40:5Kub 15:3
Zab. 40:5Kuv 15:11
Zab. 40:5Zb 139:17, 18
Zab. 40:61Sa 15:22; Zb 51:16, 17; Kos 6:6
Zab. 40:6Is 50:5
Zab. 40:6Beb 10:5-9
Zab. 40:7Luk 24:44
Zab. 40:8Yok 4:34
Zab. 40:8Zb 37:31; Bar 7:22
Zab. 40:9Zb 22:22
Zab. 40:9Beb 13:15
Zab. 40:10Beb 2:12
Zab. 40:11Zb 61:6, 7
Zab. 40:12Zb 71:20
Zab. 40:12Zb 38:4
Zab. 40:13Zb 25:17
Zab. 40:13Zb 38:22; 70:1-5
Zab. 40:16Ma 4:29
Zab. 40:16Zb 13:5
Zab. 40:16Zb 35:27
Zab. 40:17Zb 54:4; Is 50:7; Beb 13:6
Zab. 40:17Zb 143:7
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Zabbuli 40:1-17

Zabbuli

Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.

40 Nnalindirira Yakuwa n’obugumiikiriza,

Era yatega okutu n’awulira* okuwanjaga kwange.+

 2 Yanzigya mu kinnya omwali amazzi agayira,

Yanzigya mu bitosi.

Ebigere byange yabiteeka ku lwazi;

Yantambuliza awagumu.

 3 Era yateeka oluyimba olupya mu kamwa kange,+

Oluyimba olw’okutendereza Katonda waffe.

Bangi baliraba ne bawuniikirira

Era baliteeka obwesige bwabwe mu Yakuwa.

 4 Alina essanyu omuntu eyeesiga Yakuwa

Era ateesiga abo abawaganyavu oba abatali ba mazima.*

 5 Ai Yakuwa Katonda wange,

Bye wakola nga bingi,

Ebikolwa byo eby’ekitalo n’ebyo bye watutegekera.+

Tewali alinga ggwe;+

Ne bwe nnandigezezzaako okubyogerako,

Bisusse obungi, tebimalikayo!+

 6 Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala,*+

Naye waggula amatu gange nsobole okuwulira.+

Tewasaba biweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ekibi.+

 7 Awo ne ŋŋamba nti: “Laba, nzize.

Kyampandiikibwako mu muzingo.*+

 8 Ai Katonda wange, nsanyukira* okukola by’oyagala,+

Era amateeka go gali munda mu nze.+

 9 Nnangirira amawulire amalungi ag’obutuukirivu mu kibiina ekinene.+

Nga bw’okimanyi Ai Yakuwa,+

Emimwa gyange sigikomako.

10 Obutuukirivu bwo sibubikkira mu mutima gwange.

Nnangirira obwesigwa bwo n’obulokozi bwo.

Sikweka kwagala kwo okutajjulukuka n’amazima go nga ndi mu kibiina ekinene.”+

11 Ai Yakuwa togaana kunsaasira.

Okwagala kwo okutajjulukuka n’amazima go ka binkuumenga buli kiseera.+

12 Ebizibu ebinneetoolodde biyitiridde obungi, n’okubalika tebibalika.+

Ensobi zange ennyingi zinsukkiriddeko, tezikyaŋŋanya kulaba gye ŋŋenda;+

Zisinga enviiri z’oku mutwe gwange obungi,

Era mpeddemu amaanyi.

13 Ai Yakuwa, ndokola.+

Ai Yakuwa, yanguwa onnyambe.+

14 Abo bonna abaagala okunzita

Ka bakwatibwe ensonyi era baswale.

Abo abasanyukira ennaku yange

Ka baddeyo emabega nga bafeebezeddwa.

15 Abo abagamba nti: “Otyo!”

Ka batye olw’okuswala.

16 Naye abo abakunoonya+

Ka basanyuke era bajagulize mu ggwe,+

Abo abaagala ebikolwa eby’obulokozi ka bulijjo bagambenga nti:

“Yakuwa agulumizibwe.”+

17 Naye nze ndi mwavu era seesobola;

Yakuwa andowoozeeko.

Ggwe annyamba era ggwe annunula;+

Ai Katonda wange, tolwawo.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share