Zekkaliya
10 “Musabe Yakuwa atonnyese enkuba mu kiseera eky’enkuba eya ttoggo.
2 Ebifaananyi bya baterafi* byogedde eby’obulimba,
Abalaguzi bafunye okwolesebwa okw’obulimba.
Boogera ebirooto ebitalina mugaso;
Era bateganira bwereere okubudaabuda.
Eyo ye nsonga lwaki balibungeeta ng’endiga;
Balibonaabona olw’obutaba na musumba.
3 Nsunguwalidde abasumba,
Era nja kuvunaana abakulembeze abanyigiriza abalala.*
Yakuwa ow’eggye ajjukidde ekisibo kye,+ ajjukidde ennyumba ya Yuda,
Era abafudde ng’embalaasi ye ey’ekitiibwa mu lutalo.
4 Mu ye mwe muva omukulembeze,*
Mu ye mwe muva omufuzi awanirira,
Mu ye mwe muva omutego ogw’olutalo;
Era mu ye mwe muva buli mulabirizi;* bonna bava mu ye.
5 Baliba ng’abalwanyi
Abalinnyirira ebitoomi by’omu nguudo mu lutalo.
6 Ennyumba ya Yuda ndigifuula ya maanyi,
N’ennyumba ya Yusufu ndigirokola.+
Ndibazzaawo
Kubanga ndibasaasira;+
Baliba nga be sigobangako;+
Kubanga nze Yakuwa Katonda waabwe era ndibaanukula.
7 Aba Efulayimu baliba ng’omulwanyi ow’amaanyi,
Era omutima gwabwe gulisanyuka ng’ogw’omuntu anywedde omwenge.+
Abaana baabwe kino balikiraba ne basanyuka;
Emitima gyabwe girisanyuka olw’ebyo Yakuwa by’aliba abakoledde.+
9 Wadde nga mbasaasaanya mu mawanga ng’ensigo,
Balinzijukira nga bali mu bitundu eby’ewala;
Bo n’abaana baabwe baliddamu amaanyi ne bakomawo.
10 Ndibakomyawo okuva mu nsi ya Misiri,
Era ndibakuŋŋaanya wamu okuva mu Bwasuli;+
Ndibatwala mu nsi ya Gireyaadi+ ne Lebanooni,
Era ekifo tekiribamala.+
11 Aliyita mu nnyanja n’agitabangula;
Era alikuba amayengo g’ennyanja;+
N’obuziba bwonna obwa Kiyira bulikalira.
Amalala ga Bwasuli galikkakkanyizibwa,
Ne ddamula ya Misiri erivaawo.+