LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 47
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okugwa kwa Babulooni (1-15)

        • Abalaguzisa emmunyeenye baanikibwa (13-15)

Isaaya 47:1

Marginal References

  • +Zb 137:8; Yer 50:41, 42
  • +Dan 5:30

Isaaya 47:3

Marginal References

  • +Ma 32:35, 41; Zb 94:1

Isaaya 47:4

Marginal References

  • +Is 41:14; 43:3; 44:6

Isaaya 47:5

Marginal References

  • +Is 47:1
  • +Is 13:19; 14:4; Kub 17:5

Isaaya 47:6

Marginal References

  • +2By 36:15, 16; Is 42:24, 25; Zek 1:15
  • +Ma 28:63; Ezk 24:21
  • +Yer 52:14
  • +2Sk 25:18-21; Zb 137:8
  • +Ma 28:49, 50

Isaaya 47:7

Marginal References

  • +Dan 4:30; Kub 18:7

Isaaya 47:8

Marginal References

  • +Kub 18:3
  • +Dan 5:22, 23
  • +Kub 18:7

Isaaya 47:9

Marginal References

  • +Kub 18:10
  • +Yer 51:29
  • +Ezk 21:21; Dan 5:7; Kub 18:23

Isaaya 47:11

Marginal References

  • +Kub 18:10

Isaaya 47:12

Marginal References

  • +Dan 2:2

Isaaya 47:13

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “Abo abagabanyaamu eggulu; Abalaguzisa emmunyeenye.”

Marginal References

  • +Dan 5:7

Isaaya 47:15

Footnotes

  • *

    Obut., “aligenda mu kitundu kye.”

Marginal References

  • +Yer 51:6

General

Is. 47:1Zb 137:8; Yer 50:41, 42
Is. 47:1Dan 5:30
Is. 47:3Ma 32:35, 41; Zb 94:1
Is. 47:4Is 41:14; 43:3; 44:6
Is. 47:5Is 47:1
Is. 47:5Is 13:19; 14:4; Kub 17:5
Is. 47:62By 36:15, 16; Is 42:24, 25; Zek 1:15
Is. 47:6Ma 28:63; Ezk 24:21
Is. 47:6Yer 52:14
Is. 47:62Sk 25:18-21; Zb 137:8
Is. 47:6Ma 28:49, 50
Is. 47:7Dan 4:30; Kub 18:7
Is. 47:8Kub 18:3
Is. 47:8Dan 5:22, 23
Is. 47:8Kub 18:7
Is. 47:9Kub 18:10
Is. 47:9Yer 51:29
Is. 47:9Ezk 21:21; Dan 5:7; Kub 18:23
Is. 47:11Kub 18:10
Is. 47:12Dan 2:2
Is. 47:13Dan 5:7
Is. 47:15Yer 51:6
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 47:1-15

Isaaya

47 Kka wansi otuule mu nfuufu,

Ggwe muwala wa Babulooni embeerera.+

Tuula wansi ku ttaka awatali ntebe ya bwakabaka,+

Ggwe muwala w’Abakaludaaya,

Kubanga abantu tebaliddamu kukuyita mwenaanyi era eyakuzibwa ekyejo.

 2 Kwata olubengo ose ensaano.

Ggyako ekitambaala eky’oku mutwe.

Weeyambule olugoye, bikkula amagulu go.

Somoka emigga.

 3 Obwereere bwo bulibikkulwa.

Obuswavu bwo bulirabibwa.

Ndiwoolera eggwanga,+ era tewaliba muntu n’omu anziyiza.

 4 “Omununuzi waffe

—Yakuwa ow’eggye lye linnya lye—

Ye Mutukuvu wa Isirayiri.”+

 5 Tuula awo ng’osirise era genda mu kizikiza,

Ggwe muwala w’Abakaludaaya;+

Tebaliddamu kukuyita Nnaabakyala w’Obwakabaka obungi.+

 6 Nnasunguwalira abantu bange.+

Nnayonoona obusika bwange,+

Ne mbawaayo mu mukono gwo.+

Naye tewabasaasira.+

N’omukadde wamussaako ekikoligo ekizito ennyo.+

 7 Wagamba nti: “Nja kubeera Nnaabakyala emirembe n’emirembe.”+

Ebintu bino tewabissaako mwoyo;

Tewalowooza ku byandivuddemu.

 8 Kaakano wulira kino ggwe ayagala eby’amasanyu,+

Ggwe atudde entende, era agamba mu mutima gwe nti:

“Nze ndiwo, teri mulala wabula nze.+

Sirifuuka nnamwandu.

Sirifiirwa baana.”+

 9 Naye ebintu bino byombi birikutuukako mbagirawo, ku lunaku lumu:+

Okufiirwa abaana n’okufuuka nnamwandu.

Birikutuukako ku kigero ekijjuvu+

Olw’eby’obufumu byo ebingi, n’olw’eby’obulogo byo byonna eby’amaanyi.+

10 Weesiga ebintu ebibi by’okola.

Wagamba nti: “Tewali andaba.”

Amagezi go n’okumanya kwo bye byakuwabya,

Era ogamba mu mutima gwo nti: “Nze ndiwo, teri mulala wabula nze.”

11 Naye akabi kalikutuukako,

Era obulogo bwo tebulikaziyiza.

Ebizibu birikujjira; tolisobola kubiziyiza.

Okuzikirira okw’amangu kw’otomanyi kulikutuukako.+

12 Kale genda mu maaso n’eby’obulogo byo era n’eby’obufumu byo ebingi,+

By’oteganye nabyo okuva mu buvubuka bwo.

Oboolyawo onooganyulwa;

Oboolyawo onooleetera abantu okutya.

13 Abawi b’amagezi b’olina abangi bakukooyezza.

Kaakano ka bayimirire bakulokole,

Abo abasinza eggulu,* abatunuulira emmunyeenye,+

Abo abakubuulira ng’omwezi gubonese

Ebintu ebirikutuukako.

14 Laba! Balinga ebisubi.

Omuliro gulibookya.

Tebasobola kwerokola okuva mu maanyi g’omuliro.

Gano si manda ga kwota,

Era guno si muliro gwa kwota.

15 Bwe batyo abalogo bo bwe baliba gy’oli,

Abo b’oteganye nabo okuva mu buvubuka bwo.

Balisaasaana, buli omu alikwata lirye.*

Tewalibaawo n’omu akulokola.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share