LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Olubereberye 35
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yakobo yeggyako bakatonda abalala (1-4)

      • Yakobo akomawo e Beseri (5-15)

      • Benyamini azaalibwa; Laakeeri afa (16-20)

      • Batabani ba Isirayiri 12 (21-26)

      • Isaaka afa (27-29)

Olubereberye 35:1

Marginal References

  • +Lub 28:19; 31:13
  • +Lub 27:42-44

Olubereberye 35:2

Marginal References

  • +Lub 31:19; Ma 5:7; Yos 23:7; 1Ko 10:14

Olubereberye 35:3

Footnotes

  • *

    Oba, “mu kkubo.”

Marginal References

  • +Lub 28:13, 15; 31:42

Olubereberye 35:4

Footnotes

  • *

    Oba, “n’abikweka.”

Olubereberye 35:6

Marginal References

  • +Lub 28:19

Olubereberye 35:7

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Katonda w’e Beseri.”

Marginal References

  • +Lub 28:20-22

Olubereberye 35:8

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Omuyovu ogw’Okukaaba.”

Marginal References

  • +Lub 24:59

Olubereberye 35:10

Marginal References

  • +Lub 25:26; 27:36
  • +Lub 32:28

Olubereberye 35:11

Footnotes

  • *

    Obut., “baliva mu kiwato kyo.”

Marginal References

  • +Lub 17:1; Kuv 6:3; Kub 15:3
  • +Lub 48:3, 4
  • +Lub 17:5, 6; Yok 12:13

Olubereberye 35:12

Marginal References

  • +Lub 15:18; Ma 34:4

Olubereberye 35:14

Marginal References

  • +Lub 28:18

Olubereberye 35:15

Marginal References

  • +Lub 28:19

Olubereberye 35:17

Marginal References

  • +Lub 30:22-24

Olubereberye 35:18

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Omwana ow’Okukungubaga Kwange.”

  • *

    Litegeeza, “Omwana ow’Omukono ogwa Ddyo.”

Marginal References

  • +Lub 46:21; 49:27; Ma 33:12

Indexes

  • Research Guide

    4/1/1999, lup. 26

    Ekitutuukako Bwe Tufa, lup. 22-23

Olubereberye 35:19

Marginal References

  • +Lub 48:7; Mi 5:2; Mat 2:6

Olubereberye 35:22

Marginal References

  • +Lub 49:3, 4; 1By 5:1

Olubereberye 35:23

Marginal References

  • +Lub 49:3

Olubereberye 35:27

Marginal References

  • +Lub 31:17, 18
  • +Lub 15:13; Beb 11:9

Olubereberye 35:28

Marginal References

  • +Lub 25:20, 26

Olubereberye 35:29

Footnotes

  • *

    Kino kisoko ekitegeeza okufa.

  • *

    Obut., “ng’akaddiye era ng’ennaku zimujjudde.”

Marginal References

  • +Lub 49:30, 31

General

Lub. 35:1Lub 28:19; 31:13
Lub. 35:1Lub 27:42-44
Lub. 35:2Lub 31:19; Ma 5:7; Yos 23:7; 1Ko 10:14
Lub. 35:3Lub 28:13, 15; 31:42
Lub. 35:6Lub 28:19
Lub. 35:7Lub 28:20-22
Lub. 35:8Lub 24:59
Lub. 35:10Lub 25:26; 27:36
Lub. 35:10Lub 32:28
Lub. 35:11Lub 17:1; Kuv 6:3; Kub 15:3
Lub. 35:11Lub 48:3, 4
Lub. 35:11Lub 17:5, 6; Yok 12:13
Lub. 35:12Lub 15:18; Ma 34:4
Lub. 35:14Lub 28:18
Lub. 35:15Lub 28:19
Lub. 35:17Lub 30:22-24
Lub. 35:18Lub 46:21; 49:27; Ma 33:12
Lub. 35:19Lub 48:7; Mi 5:2; Mat 2:6
Lub. 35:22Lub 49:3, 4; 1By 5:1
Lub. 35:23Lub 49:3
Lub. 35:27Lub 31:17, 18
Lub. 35:27Lub 15:13; Beb 11:9
Lub. 35:28Lub 25:20, 26
Lub. 35:29Lub 49:30, 31
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Olubereberye 35:1-29

Olubereberye

35 Oluvannyuma lw’ebyo, Katonda n’agamba Yakobo nti: “Situka oyambuke e Beseri+ obeere eyo, era ozimbire eyo Katonda ow’amazima ekyoto, eyakulabikira bwe wali ng’odduka muganda wo Esawu.”+

2 Awo Yakobo n’agamba ab’ennyumba ye ne bonna abaali naye nti: “Muggyeewo bakatonda abalala abali mu mmwe,+ mwetukuze era mukyuse ebyambalo byammwe, 3 tusituke twambuke e Beseri. Era nja kuzimbira eyo Katonda ow’amazima ekyoto, eyawuliriza okwegayirira kwange ku lunaku olw’obuyinike bwange, era abadde nange buli yonna* gye mbadde ŋŋenda.”+ 4 Awo ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna be baalina n’eby’oku matu ebyali ku matu gaabwe, Yakobo n’abiziika* wansi w’omuti omunene ogwali okumpi ne Sekemu.

5 Bwe baagenda, entiisa okuva eri Katonda n’ejjira ab’omu bibuga ebyali bibeetoolodde, ne batawondera batabani ba Yakobo. 6 Oluvannyuma Yakobo n’abantu bonna abaali naye ne batuuka e Luuzi,+ kwe kugamba, e Beseri, ekiri mu nsi ya Kanani. 7 N’azimba eyo ekyoto era ekifo ekyo n’akituuma Eru-beseri,* kubanga eyo Katonda ow’amazima gye yeeyolekera gy’ali bwe yadduka muganda we.+ 8 Oluvannyuma Debola+ omulezi wa Lebbeeka n’afa era n’aziikibwa okumpi ne Beseri wansi w’omuyovu. Omuti ogwo kyeyava agutuuma Alonibakusi.*

9 Katonda n’addamu okulabikira Yakobo ng’avudde e Padanalaamu era n’amuwa omukisa. 10 Katonda n’amugamba nti: “Erinnya lyo gwe Yakobo.+ Naye okuva leero tokyayitibwa Yakobo; Isirayiri lye linaabanga erinnya lyo.” Awo n’atandika okumuyita Isirayiri.+ 11 Katonda era n’amugamba nti: “Nze Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.+ Yala era weeyongere obungi. Amawanga n’ekibiina ky’abantu biriva mu ggwe,+ era bakabaka baliva mu ggwe.*+ 12 Ensi gye nnawa Ibulayimu ne Isaaka nja kugikuwa ggwe era ndigiwa n’ezzadde lyo eririddawo.”+ 13 Awo Katonda n’ava awaali Yakobo, mu kifo we yali ayogeredde naye.

14 Yakobo n’asimba empagi ey’amayinja mu kifo we yayogerera naye, n’agifukako ekiweebwayo eky’eby’okunywa era n’amafuta.+ 15 Yakobo ne yeeyongera okuyita ekifo Katonda we yayogerera naye erinnya Beseri.+

16 Ne bava e Beseri. Bwe baali bakyabuzaayo olugendo luwanvuko okutuuka mu Efulaasi, ekiseera kya Laakeeri eky’okuzaala ne kituuka, era n’akaluubirirwa nnyo mu kuzaala. 17 Bwe yali ng’atawaana nnyo okusindika omwana, omuzaalisa n’amugamba nti: “Totya kubanga ogenda kufuna omwana ow’obulenzi omulala.”+ 18 Awo obulamu bwe bwali bumuggwaamu (kubanga yali afa), omwana n’amutuuma Benoni,* naye kitaawe n’amutuuma Benyamini.*+ 19 Bw’atyo Laakeeri n’afa era n’aziikibwa ku kkubo erigenda mu Efulaasi, kwe kugamba, e Besirekemu.+ 20 Yakobo n’asimba empagi ku malaalo ge; eno ye mpagi eramba amalaalo ga Laakeeri n’okutuusa leero.

21 Oluvannyuma Isirayiri n’avaayo n’asimba weema ze ng’oyisizza omunaala gw’e Ederi. 22 Lwali olwo, Isirayiri bwe yali abeera mu nsi eyo, Lewubeeni n’agenda ne yeebaka ne Biruka omuzaana wa kitaawe era Isirayiri n’akiwulirako.+

Batabani ba Yakobo baali 12. 23 Batabani be abaazaalibwa Leeya be bano: Lewubeeni+ omwana wa Yakobo omubereberye, Simiyoni, Leevi, Yuda, Isakaali, ne Zebbulooni. 24 Batabani be abaazaalibwa Laakeeri be bano: Yusufu ne Benyamini. 25 Batabani be abaazaalibwa Biruka omuweereza wa Laakeeri be bano: Ddaani ne Nafutaali. 26 Ate batabani be abaazaalibwa Zirupa omuweereza wa Leeya be bano: Gaadi ne Aseri. Abo be batabani ba Yakobo abaamuzaalirwa ng’ali e Padanalaamu.

27 Kyaddaaki Yakobo yatuuka e Mamule,+ mu kitundu ky’e Kiriyasu-aluba, kwe kugamba, e Kebbulooni, Isaaka kitaawe gye yali, era Ibulayimu ne Isaaka gye baabeeranga ng’abagwira.+ 28 Isaaka yawangaala emyaka 180.+ 29 Isaaka n’assa ogw’enkomerero n’afa n’agoberera abantu be,* ng’awangadde era nga n’obulamu bwe bubadde bulungi;* Esawu ne Yakobo batabani be ne bamuziika.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share