Yobu
35 Eriku ne yeeyongera okwogera n’agamba nti:
2 “Oli mukakafu ddala nti oli mutuufu n’otuuka n’okugamba nti,
‘Ndi mutuukirivu okusinga Katonda’?+
3 Ogamba nti, ‘Kikugasa kitya?*
Ndi bulungi okusinga bwe nnandibadde nga nnyonoonye?’+
4 Nja kukuddamu ggwe
Ne mikwano gyo+ b’oli nabo.
5 Tunula waggulu olabe,
Weetegereze ebire+ ebiri waggulu.
6 Bw’oyonoona, omulumya otya?+
Ebibi byo bwe byeyongera obungi, omukolako ki?+
8 Ebikolwa byo ebibi birumya muntu nga ggwe,
N’obutuukirivu bwo buyamba mwana wa muntu.
10 Naye tewali n’omu agamba nti, ‘Katonda ali ludda wa, Omutonzi wange ow’Ekitalo,+
Oyo aviirako ennyimba okuyimbibwa ekiro?’+
11 Atuyigiriza+ bingi okusinga ensolo ez’oku nsi,+
Atufuula ba magezi okusinga ebinyonyi eby’omu bbanga.
14 Kati olwo kiba kitya bwe weemulugunya nti tomulaba!+
Ensonga zo ziri mu maaso ge, n’olwekyo mulindirire.+
15 Kubanga takubonerezza na busungu;
Era tafuddeeyo wadde nga tobadde mwegendereza.+
16 Yobu ayasamiza bwereere akamwa ke;
Ayogera ebigambo bingi mu butamanya.”+