Okuva
11 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Ŋŋenda kuleetera Falaawo ne Misiri ekibonyoobonyo ekirala kimu, era oluvannyuma ajja kubaleka muve wano mugende,+ era bw’anaabaleka okugenda ajja kubagoba bugobi.+ 2 Kaakano tegeeza abantu nti abasajja bonna n’abakazi basabe baliraanwa baabwe ebintu ebya ffeeza n’ebya zzaabu.”+ 3 Yakuwa n’aleetera abantu okwagalibwa Abamisiri. Ate era Musa yali assibwamu nnyo ekitiibwa abaweereza ba Falaawo n’abantu mu nsi ya Misiri.
4 Musa n’agamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Awo nga mu ttumbi ŋŋenda kuyita mu nsi ya Misiri,+ 5 era buli mubereberye mu nsi ya Misiri ajja kufa,+ okuva ku mubereberye wa Falaawo atudde ku ntebe y’obwakabaka okutuuka ku mubereberye w’omuzaana asa ku lubengo, era na buli kibereberye eky’ebisolo.+ 6 Era wajja kubaawo okukuba ebiwoobe okw’amaanyi mu nsi yonna eya Misiri okutabangawo era okutaliddamu kubaawo.+ 7 N’embwa tejja kuboggolera Bayisirayiri wadde ebisolo byabwe, mulyoke mumanye nti Yakuwa asobola okulaga enjawulo wakati w’Abamisiri n’Abayisirayiri.’+ 8 Era abaweereza bo bonna bajja kujja gye ndi banvunnamire nga bagamba nti, ‘Genda ggwe n’abantu bonna abakugoberera,’+ era oluvannyuma lw’ebyo nja kugenda.” Awo n’ava awaali Falaawo ng’asunguwadde nnyo.
9 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Falaawo tajja kubawuliriza,+ ndyoke nnyongere okukola ebyamagero mu nsi ya Misiri.”+ 10 Musa ne Alooni baakola ebyamagero ebyo byonna mu maaso ga Falaawo,+ naye Yakuwa n’aleka omutima gwa Falaawo ne guba mukakanyavu, n’ataleka Bayisirayiri kuva mu nsi ye.+