LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Bassekabaka 5
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Erisa awonya Naamani ebigenge (1-19)

      • Gekazi ow’omululu afuna ebigenge (20-27)

2 Bassekabaka 5:1

Footnotes

  • *

    Oba, “yalina endwadde y’olususu.”

2 Bassekabaka 5:3

Marginal References

  • +1Sk 19:16
  • +Mat 8:2; 11:5; Luk 4:27

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2008, lup. 9-10

    10/1/2005, lup. 20

2 Bassekabaka 5:4

Footnotes

  • *

    Kiyinzika okuba ng’ono yali Naamani.

2 Bassekabaka 5:5

Footnotes

  • *

    Ttalanta yali yenkana kilo 34.2. Laba Ebyong. B14.

2 Bassekabaka 5:7

Marginal References

  • +Ma 32:39

2 Bassekabaka 5:8

Marginal References

  • +1Sk 17:24; 19:16; 2Sk 3:11, 12; 8:4

2 Bassekabaka 5:10

Marginal References

  • +Lev 14:7; Kbl 19:4
  • +Yok 9:6, 7

2 Bassekabaka 5:12

Marginal References

  • +Is 7:8

2 Bassekabaka 5:14

Marginal References

  • +2Sk 5:10
  • +Yob 33:25
  • +Luk 4:27; 5:13

2 Bassekabaka 5:15

Footnotes

  • *

    Obut., “olusiisira lwe.”

  • *

    Obut., “omukisa.”

Marginal References

  • +Luk 17:15, 16
  • +Zb 96:4, 5; Is 43:10

2 Bassekabaka 5:16

Marginal References

  • +Mat 10:8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2005, lup. 19

2 Bassekabaka 5:18

Footnotes

  • *

    Oba, “yeekaalu.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2005, lup. 19

2 Bassekabaka 5:20

Marginal References

  • +2Sk 4:12; 8:4
  • +1Sk 17:24
  • +2Sk 5:1; Luk 4:27

2 Bassekabaka 5:22

Marginal References

  • +2Sk 5:5

2 Bassekabaka 5:23

Marginal References

  • +2Sk 5:16

2 Bassekabaka 5:24

Footnotes

  • *

    Kifo ekyali mu Samaliya; luyinza okuba nga lwali lusozi oba kigo.

2 Bassekabaka 5:25

Marginal References

  • +Bik 5:8, 9

2 Bassekabaka 5:26

Marginal References

  • +Mat 10:8; Luk 12:15; Bik 20:33; 1Ti 6:10

2 Bassekabaka 5:27

Marginal References

  • +2Sk 5:1
  • +Kuv 4:6; Kbl 12:10

General

2 Bassek. 5:31Sk 19:16
2 Bassek. 5:3Mat 8:2; 11:5; Luk 4:27
2 Bassek. 5:7Ma 32:39
2 Bassek. 5:81Sk 17:24; 19:16; 2Sk 3:11, 12; 8:4
2 Bassek. 5:10Lev 14:7; Kbl 19:4
2 Bassek. 5:10Yok 9:6, 7
2 Bassek. 5:12Is 7:8
2 Bassek. 5:142Sk 5:10
2 Bassek. 5:14Yob 33:25
2 Bassek. 5:14Luk 4:27; 5:13
2 Bassek. 5:15Luk 17:15, 16
2 Bassek. 5:15Zb 96:4, 5; Is 43:10
2 Bassek. 5:16Mat 10:8
2 Bassek. 5:202Sk 4:12; 8:4
2 Bassek. 5:201Sk 17:24
2 Bassek. 5:202Sk 5:1; Luk 4:27
2 Bassek. 5:222Sk 5:5
2 Bassek. 5:232Sk 5:16
2 Bassek. 5:25Bik 5:8, 9
2 Bassek. 5:26Mat 10:8; Luk 12:15; Bik 20:33; 1Ti 6:10
2 Bassek. 5:272Sk 5:1
2 Bassek. 5:27Kuv 4:6; Kbl 12:10
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Bassekabaka 5:1-27

2 Bassekabaka

5 Naamani omukulu w’eggye lya kabaka wa Busuuli yali muntu mukulu nnyo era nga wa kitiibwa mu maaso ga mukama we, olw’okuba okuyitira mu ye Yakuwa yali asobozesezza Abasuuli okuwangula abalabe baabwe. Naamani yali mulwanyi muzira wadde nga yali mugenge.* 2 Mu lumu ku ntabaalo zaabwe, Abasuuli baali baawamba omuwala omuto mu nsi ya Isirayiri, n’afuuka omuweereza wa muka Naamani. 3 Omuwala oyo yagamba muka Naamani nti: “Singa mukama wange agenda ewa nnabbi+ mu Samaliya, yandimuwonyezza ebigenge.”+ 4 Awo n’agenda* n’ategeeza mukama we ekyo omuwala eyaggibwa mu Isirayiri kye yali agambye.

5 Kabaka wa Busuuli n’agamba Naamani nti: “Genda! Nja kuweereza kabaka wa Isirayiri ebbaluwa.” Awo Naamani n’agenda ne ttalanta* kkumi eza ffeeza, n’ebitole bya zzaabu 6,000 era n’ebyambalo kkumi. 6 Yatwalira kabaka wa Isirayiri ebbaluwa eyali egamba nti: “Awamu n’ebbaluwa eno nkuweerezza Naamani omuweereza wange omuwonye ebigenge.” 7 Kabaka wa Isirayiri olwamala okugisoma, n’ayuza ebyambalo bye n’agamba nti: “Nze Katonda? Nnina obuyinza okutta oba okulamya,+ alyoke ampeereze omusajja ono mmuwonye ebigenge? Mulaba bw’ayagala okundeetera okuyomba naye.”

8 Naye Erisa omusajja wa Katonda ow’amazima bwe yawulira nti kabaka wa Isirayiri ayuzizza ebyambalo bye, n’amuweereza obubaka obugamba nti: “Lwaki oyuzizza ebyambalo byo? K’ajje gye ndi, amanye nti mu Isirayiri mulimu nnabbi.”+ 9 Awo Naamani n’agenda n’embalaasi ze awamu n’amagaali ge ag’olutalo n’ayimirira ku mulyango gw’ennyumba ya Erisa. 10 Naye Erisa n’amutumira omubaka amugambe nti: “Genda onaabe emirundi musanvu+ mu Mugga Yoludaani,+ omubiri gwo gujja kuddawo era ojja kuba mulongoofu.” 11 Awo Naamani n’asunguwala nnyo n’atandika okutambula agende ng’agamba nti: “Nnabadde ndowooza nti, ‘Ajja kufuluma ajje ayimirire wano, akoowoole erinnya lya Yakuwa Katonda we nga bw’ayisaayisa engalo ze awali ebigenge, amponye.’ 12 Emigga Abbana ne Falupali egy’e Ddamasiko+ tegisinga amazzi ga Isirayiri gonna? Siyinza kunaaba omwo ne mba mulongoofu?” Awo n’akyuka n’agenda nga musunguwavu nnyo.

13 Awo abaweereza be ne bamutuukirira ne bamugamba nti: “Kitaffe, singa nnabbi akugambye okukola ekintu ekitali kya bulijjo, tewandikikoze? Kati okukugamba obugambi nti ‘naaba obe mulongoofu’ kiyinza okukulema?” 14 Awo n’aserengeta ne yennyika mu Yoludaani emirundi musanvu ng’omusajja wa Katonda ow’amazima+ bwe yali amugambye. Omubiri gwe ne guddawo ne guba ng’ogw’omwana omuto,+ era n’aba mulongoofu.+

15 Oluvannyuma n’addayo ew’omusajja wa Katonda ow’amazima+ n’abantu bonna be yali nabo,* n’ayimirira mu maaso ge n’agamba nti: “Kaakano ntegedde nti teri Katonda walala mu nsi yonna, okuggyako mu Isirayiri.+ Kale nkusaba okkirize ekirabo* okuva eri omuweereza wo.” 16 Naye Erisa n’agamba nti: “Nga Yakuwa gwe mpeereza bw’ali omulamu, sijja kukitwala.”+ Naamani n’amwegayirira nnyo akitwale, naye Erisa n’agaana. 17 Awo Naamani n’agamba nti: “Bw’oba ogaanye, nkwegayiridde nze omuweereza wo ka mpeebwe ettaka nditikke ku nnyumbu bbiri, kubanga omuweereza wo takyaddayo kuwaayo biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka eri bakatonda balala, okuggyako eri Yakuwa. 18 Naye Yakuwa asonyiwenga omuweereza wo mu kino: Mukama wange bw’anaagendanga mu nnyumba* ya Limmoni n’avunnama nga yeewaniridde ku mukono gwange, nange ne nvunnamira wamu naye mu nnyumba ya Limmoni, Yakuwa asonyiwenga omuweereza we ekintu ekyo.” 19 Awo Erisa n’amugamba nti: “Genda mirembe.” Bwe yava awaali Erisa, ng’atambuddeko akabanga, 20 Gekazi+ omuweereza wa Erisa omusajja wa Katonda ow’amazima+ n’agamba mu mutima gwe nti: ‘Mukama wange alese Naamani ono Omusuuli+ okugenda nga tamuggyeeko by’aleese. Nga Yakuwa bw’ali omulamu, nja kudduka mmugoberere mbeeko kye mmuggyako.’ 21 Gekazi n’adduka n’agoberera Naamani. Naamani bwe yalaba omuntu amugoberera, n’ava mu ggaali lye okumusisinkana n’amubuuza nti: “Waliwo omutawaana gwonna?” 22 N’amuddamu nti: “Tewali mutawaana. Mukama wange antumye nkugambe nti, ‘Abavubuka babiri ku baana ba bannabbi bazze gye ndi nga bava mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi. Nkusaba obawe ttalanta emu eya ffeeza n’ebyambalo bibiri.’”+ 23 Naamani n’agamba nti: “Twala ttalanta bbiri.” N’amwegayirira nnyo,+ era n’azinga ttalanta bbiri eza ffeeza mu nsawo bbiri, awamu n’ebyambalo bibiri, n’abikwasa abaweereza be babiri ne babisitula nga bakulembeddemu Gekazi.

24 Bwe yatuuka ku Oferi,* n’abibaggyako n’abiteeka mu nnyumba, n’asiibula abasajja. Bwe baamala okugenda, 25 Gekazi n’ayingira n’ayimirira kumpi ne mukama we. Erisa n’amubuuza nti: “Ova wa Gekazi?” Gekazi n’amuddamu nti: “Omuweereza wo tannabaako w’alaga.”+ 26 Awo Erisa n’amugamba nti: “Omutima gwange tegubadde naawe, omusajja bw’avudde mu ggaali lye okukusisinkana? Kino kye kiseera okukkiriza okuweebwa ffeeza, oba ebyambalo, oba ennimiro z’emizeyituuni, oba ennimiro z’emizabbibu, oba endiga, oba ente, oba abaweereza abasajja oba abakazi?+ 27 Kale nno ebigenge bya Naamani+ bijja kukukwata, era bijja kubeeranga ne ku bazzukulu bo emirembe gyonna.” Amangu ago Gekazi n’afuluma n’ava mu maaso ga Erisa nga mugenge, era ng’atukula ng’omuzira.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share