LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 20
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Pasukuli akuba Yeremiya (1-6)

      • Yeremiya tasobola kulekera awo kubuulira (7-13)

        • Ekigambo kya Katonda kiringa omuliro ogubuubuuka (9)

        • Yakuwa alinga omulwanyi ow’entiisa (11)

      • Yeremiya yeemulugunya (14-18)

Yeremiya 20:2

Marginal References

  • +2By 16:10

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2034-2035

Yeremiya 20:3

Marginal References

  • +Yer 6:25

Yeremiya 20:4

Marginal References

  • +Ma 28:32
  • +Yer 25:9; 39:9

Yeremiya 20:5

Marginal References

  • +2Sk 20:17; 24:11, 13; 25:13-15; Kuk 1:10
  • +2By 36:10; Yer 15:13

Yeremiya 20:6

Marginal References

  • +Yer 14:14; 28:15; 29:21

Yeremiya 20:7

Marginal References

  • +Ezk 3:14; Mi 3:8
  • +Zb 22:7; Yer 15:10, 15

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 9

Yeremiya 20:8

Marginal References

  • +2By 36:16; Yer 6:10

Yeremiya 20:9

Marginal References

  • +1Sk 19:2, 4; Yon 1:3
  • +Yer 6:11; Am 3:8; Bik 4:19, 20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2010, lup. 9

    2/15/2010, lup. 7

    7/1/2000, lup. 20

    3/1/2000, lup. 27

Yeremiya 20:10

Marginal References

  • +Zb 31:13
  • +Zb 38:16

Yeremiya 20:11

Marginal References

  • +Yer 1:8; Bar 8:31
  • +Zb 27:2; Yer 15:15, 20; 17:18
  • +Zb 6:10

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2011, lup. 30

Yeremiya 20:12

Footnotes

  • *

    Oba, “enneewulira ez’omunda ennyo.” Obut., “ensigo.”

Marginal References

  • +Yer 17:10
  • +Zb 59:10; Yer 17:18
  • +Yer 11:20; 1Pe 2:23

Yeremiya 20:14

Marginal References

  • +Yob 3:3; Yer 15:10

Yeremiya 20:17

Marginal References

  • +Yob 10:18

Yeremiya 20:18

Marginal References

  • +Yob 3:20

General

Yer. 20:22By 16:10
Yer. 20:3Yer 6:25
Yer. 20:4Ma 28:32
Yer. 20:4Yer 25:9; 39:9
Yer. 20:52Sk 20:17; 24:11, 13; 25:13-15; Kuk 1:10
Yer. 20:52By 36:10; Yer 15:13
Yer. 20:6Yer 14:14; 28:15; 29:21
Yer. 20:7Ezk 3:14; Mi 3:8
Yer. 20:7Zb 22:7; Yer 15:10, 15
Yer. 20:82By 36:16; Yer 6:10
Yer. 20:91Sk 19:2, 4; Yon 1:3
Yer. 20:9Yer 6:11; Am 3:8; Bik 4:19, 20
Yer. 20:10Zb 31:13
Yer. 20:10Zb 38:16
Yer. 20:11Yer 1:8; Bar 8:31
Yer. 20:11Zb 27:2; Yer 15:15, 20; 17:18
Yer. 20:11Zb 6:10
Yer. 20:12Yer 17:10
Yer. 20:12Zb 59:10; Yer 17:18
Yer. 20:12Yer 11:20; 1Pe 2:23
Yer. 20:14Yob 3:3; Yer 15:10
Yer. 20:17Yob 10:18
Yer. 20:18Yob 3:20
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 20:1-18

Yeremiya

20 Pasukuli mutabani wa Immeri, eyali kabona era eyali omukungu omukulu mu nnyumba ya Yakuwa, yali awuliriza nga Yeremiya ayogera ebintu ebyo. 2 Awo Pasukuli n’akuba nnabbi Yeremiya n’amuteeka mu nvuba+ eyali ku Mulyango ogw’eky’Engulu ogwa Benyamini, ogwali mu nnyumba ya Yakuwa. 3 Naye ku lunaku olwaddirira Pasukuli bwe yaggya Yeremiya mu nvuba, Yeremiya n’amugamba nti:

“Erinnya Yakuwa ly’akuyise si Pasukuli, wabula akuyise Entiisa Eri Buli Wamu.+ 4 Kubanga bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Ggwe ne mikwano gyo nja kubaleetera okutya, era bajja kuttibwa n’ekitala ky’abalabe baabwe ng’olaba;+ Yuda yonna nja kugiwaayo mu mukono gwa kabaka wa Babulooni, era ajja kubatwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni abatte n’ekitala.+ 5 Obugagga bwonna obw’ekibuga kino, n’ebintu byonna ebikirimu, n’eby’omuwendo byonna ebikirimu, n’eby’obugagga bya bakabaka ba Yuda byonna nja kubiwaayo mu mikono gy’abalabe baabwe.+ Bajja kubinyaga babitwale e Babulooni.+ 6 Naawe Pasukuli n’abo bonna ababeera mu nnyumba yo, mujja kuwambibwa. Ojja kugenda e Babulooni ofiire eyo, era ojja kuziikibwa eyo ne mikwano gyo gyonna, kubanga wabalagula eby’obulimba.’”+

 7 Ai Yakuwa, onnimbye ne nnimbibwa.

Wansinza amaanyi n’owangula.+

Nfuuse ekisekererwa olunaku lwonna;

Buli omu ankudaalira.+

 8 Buli lwe njogera nkuba ebiwoobe ne nnangirira nti,

“Ebikolwa eby’obukambwe n’okuzikiriza!”

Olunaku lwonna nvumibwa era nsekererwa olw’ekigambo kya Yakuwa.+

 9 Kyennava ŋŋamba nti: “Sigenda kumwogerako,

Era sijja kuddamu kwogera mu linnya lye.”+

Naye mu mutima gwange ekigambo kye kyali ng’omuliro ogubuubuuka munda mu magumba gange,

Nnawulira nga nkooye okusirika;

Nnali sikyasobola kugumira mbeera eyo.+

10 Kubanga nnawulira ebintu ebibi bingi ebyali byogerwa;

Nnali nneetooloddwa entiisa.+

“Mumuvumirire; ka tumuvumirire!”

Nga buli anjagaliza emirembe alindirira okulaba nga ngwa:+

“Oboolyawo ayinza okubaako ekintu ekitali kya magezi ky’akola,

Ne tumuwangula ne tumwesasuza.”

11 Naye Yakuwa yalinga wamu nange ng’omulwanyi ow’entiisa.+

Abanjigganya kyebanaava beesittala, era tebajja kuwangula.+

Bajja kuswala nnyo olw’okuba tebajja kutuuka ku buwanguzi.

Obuswavu bwabwe obw’emirembe gyonna tebulyerabirwa.+

12 Naye ggwe, Ai Yakuwa ow’eggye, okebera omutuukirivu

Olaba ebirowoozo eby’omunda ennyo,* n’omutima.+

Ka ndabe ng’owoolera eggwanga ku bo,+

Kubanga ggwe gwe nkwasizza ensonga zange.+

13 Muyimbire Yakuwa! Mutendereze Yakuwa!

Kubanga anunudde omwavu mu mukono gw’abakozi b’ebibi.

14 Olunaku lwe nnazaalibwa lukolimirwe!

Olunaku mmange lwe yanzaala ka luleme kuba lwa mukisa!+

15 Akolimirwe omusajja eyaleetera kitange amawulire amalungi ng’agamba nti:

“Bakuzaalidde omwana ow’obulenzi!”

Ekyamusanyusa ennyo.

16 Omusajja oyo k’abeere ng’ebibuga Yakuwa bye yazikiriza n’atejjusa.

K’awulire okukaaba ku makya n’enduulu mu ttuntu.

17 Lwaki teyanzitira mu lubuto,

Mmange n’abeera entaana yange

N’abeeranga wa lubuto ennaku zonna?+

18 Lwaki nnava mu lubuto

Okulaba emitawaana n’ennaku,

N’okumalako ennaku zange mu buswavu?+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share