Isaaya
7 Mu kiseera kya Akazi+ mutabani wa Yosamu mutabani wa Uzziya, kabaka wa Yuda, Kabaka Lezini owa Busuuli ne Peka+ kabaka wa Isirayiri mutabani wa Lemaliya, baagenda okulwanyisa Yerusaalemi, naye tebaasobola* kukiwamba.+ 2 Awo ab’ennyumba ya Dawudi ne bategeezebwa nti: “Busuuli yeegasse wamu ne Efulayimu.”
Awo omutima gwa Akazi n’emitima gy’abantu be ne gikankana ng’emiti gy’omu kibira egiyuuga olw’embuyaga.
3 Awo Yakuwa n’agamba Isaaya nti: “Genda ne mutabani wo Seyalu-yasubu*+ osisinkane Akazi mu kifo omukutu gw’amazzi ag’ekidiba eky’eky’engulu+ we gukoma, ku luguudo olunene olugenda mu kibanja ky’omwozi w’engoye. 4 Mugambe nti, ‘Sigala ng’oli mukkakkamu. Totya, era toggwaamu maanyi olw’ebisiki bino ebibiri ebinyooka era ebiggweeredde, olw’obusungu obungi obwa Lezini ne Busuuli ne mutabani wa Lemaliya.+ 5 Busuuli ne Efulayimu ne mutabani wa Lemaliya bakwekobaanidde nga bagamba nti: 6 “Ka tulumbe Yuda tugiyuzeeyuze tugiwangule,* era tuteekewo mutabani wa Tabeeri abe kabaka waayo.”+
7 “‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
“Tekijja kutuukirira,
Era tekijja kubaawo.
8 Kubanga omutwe gwa Busuuli ye Ddamasiko,
N’omutwe gwa Ddamasiko ye Lezini.
Mu myaka 65 gyokka
Efulayimu aliba amenyeddwamenyeddwa nga takyali ggwanga.+
Okuggyako nga mulina okukkiriza okw’amaanyi,
Temujja kunywera.”’”
10 Yakuwa yeeyongera okwogera ne Akazi n’amugamba nti: 11 “Saba Yakuwa Katonda wo akabonero;+ kayinza okuba wansi ennyo ng’emagombe* oba waggulu ennyo ng’eggulu.” 12 Naye Akazi n’agamba nti: “Sijja kukasaba era sijja kugezesa Yakuwa.”
13 Awo Isaaya n’agamba nti: “Wulira, Ai ggwe ennyumba ya Dawudi. Tekibamala okusunguwaza abantu? Kati musazeewo n’okusunguwaza Katonda?+ 14 N’olwekyo Yakuwa alibawa akabonero: Laba! Omuwala aliba olubuto n’azaala omwana ow’obulenzi,+ era alimutuuma Emmanweri.*+ 15 Omwana oyo w’alituukira okumanya okugaana ekibi n’okulondawo ekirungi aliba alya muzigo na mubisi gwa njuki. 16 Kubanga omwana oyo bw’aliba tannamanya kugaana kibi na kulondawo kirungi, ensi ya bakabaka abo ababiri b’otya ennyo eriba tekyalimu muntu n’omu.+ 17 Yakuwa alikuleetera ggwe n’abantu bo n’ennyumba ya kitaawo ekiseera ekitabangawo okuva ku lunaku Efulayimu lwe yeekutula ku Yuda,+ kubanga alireeta kabaka wa Bwasuli.+
18 “Ku lunaku olwo Yakuwa alifuuwa oluwa okuyita ensowera okuva mu myala egy’ewala egy’Omugga Kiyira ogw’e Misiri, era alikoowoola n’enjuki eziri mu nsi ya Bwasuli. 19 Zonna zirijja ne zibeera mu biwonvu ebiwanvu, ne mu mpompogoma z’omu njazi, ne mu bisaka byonna eby’amaggwa, ne mu malundiro gonna.
20 “Ku lunaku olwo Yakuwa alikozesa akamweso akapangise okuva mu kitundu ky’Omugga,* alikozesa kabaka wa Bwasuli,+ okumwa omutwe n’obwoya bw’oku magulu, era n’ekirevu kalikimalirako ddala.
21 “Mu kiseera ekyo omusajja alisigazaawo ente ento emu ey’omu ggana n’endiga bbiri. 22 Era olw’okuba amata galiba mangi, alirya omuzigo, kubanga buli muntu alisigala mu nsi alirya muzigo na mubisi gwa njuki.
23 “Ku lunaku olwo buli awaabeeranga emizabbibu 1,000, nga gibalirirwamu ebitundu bya ffeeza 1,000, walibaawo bisaka bya maggwa na muddo. 24 Abantu baligendayo nga balina mitego na busaale, kubanga ensi yonna eribaamu bisaka bya maggwa na muddo. 25 Era ensozi zonna okwalimwanga n’enkumbi, tolizisemberera olw’okutya ebisaka eby’amaggwa n’omuddo; zirifuuka ebifo ente mwe ziriira, era zirifuuka ebifo ebirinnyirirwa endiga.”