Isaaya
9 Naye ekizikiza tekiriba nga bwe kyali ng’ensi eri mu buyinike, nga bwe kyali mu kiseera eky’edda ng’ensi ya Zebbulooni n’eya Nafutaali zinyoomebwa.+ Kyokka mu kiseera eky’oluvannyuma aligireetera okuweebwa ekitiibwa—ekkubo eriyita ku nnyanja, mu kitundu kya Yoludaani, Ggaliraaya eky’amawanga.
2 Abantu abaali batambulira mu kizikiza
Balabye ekitangaala eky’amaanyi.
Abo abaali babeera mu nsi ekutte ekizikiza eky’amaanyi,
Ekitangaala kibaakidde.+
3 Oyazizza eggwanga;
Olireetedde essanyu lingi nnyo.
Basanyukira mu maaso go
Ng’abantu bwe basanyuka mu kiseera eky’amakungula,
Ng’abo abasanyuka nga bagabana omunyago.
4 Omenyeemenye ekikoligo ky’omugugu gwabwe,
Omuggo gw’oku bibegaabega byabwe, oluga lw’oyo abakozesa emirimu,
Nga ku lunaku lwa Midiyaani.+
5 Buli ngatto etambulira ku ttaka n’erikankanya
Na buli kyambalo ekitotobadde omusaayi
Birifuuka nku.
Aliyitibwa Omuwi w’Amagezi ow’Ekitalo,+ Katonda ow’Amaanyi,+ Kitaffe ow’Emirembe n’Emirembe, Omukulu ow’Emirembe.
N’emirembe tebirikoma kweyongerayongera,+
Ku ntebe ya Dawudi+ ne ku bwakabaka bwe
Okusobola okubunyweza+ n’okububeesaawo
Okuyitira mu bwenkanya+ ne mu butuukirivu,+
Okuva leero n’okutuusa emirembe n’emirembe.
Obunyiikivu bwa Yakuwa ow’eggye bulikituukiriza.
8 Yakuwa yaweereza ekigambo okulabula Yakobo,
Era kyatuuka ku Isirayiri.+
9 Abantu bonna balikimanya
—Efulayimu n’abantu b’omu Samaliya—
Aboogera mu malala gaabwe ne mu kwekulumbaza kw’emitima gyabwe nti:
10 “Amatoffaali gagudde,
Naye tujja kuzimbisa amayinja amateme.+
Emiti gy’emisukamooli gitemeddwa,
Naye mu kifo kyagyo tujja kuzzaawo egy’entolokyo.”
11 Yakuwa alireetera abalabe ba Lezini okumulumba
Alisaanuula abalabe be,
12 Busuuli aliva ebuvanjuba, n’Abafirisuuti baliva ebugwanjuba,*+
Balyasamya akamwa kaabwe ne balya Isirayiri.+
Olw’ensonga eyo, akyali musunguwavu,
Era akyagolodde omukono gwe okubonereza.+
13 Abantu tebakyuse kudda eri Oyo ababonereza;
Tebanoonyezza Yakuwa ow’eggye.+
14 Mu lunaku lumu Yakuwa alisala ku Isirayiri
Omutwe n’omukira, ettutu n’ebisubi ebiwanvu.+
15 Omukadde era assibwamu ekitiibwa gwe mutwe,
Ate nnabbi ayigiriza eby’obulimba gwe mukira.+
16 Abo abakulembera abantu bano babawabya,
N’abo abakulemberwa babuzaabuziddwa.
17 Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa talisanyukira bavubuka baabwe,
Era talisaasira baana baabwe abatalina bakitaabwe* ne bannamwandu baabwe
Kubanga bonna beewaggudde era bakozi ba bibi+
Era buli kamwa koogera bya busirusiru.
Olw’ensonga eyo, akyali musunguwavu,
Era akyagolodde omukono gwe okubonereza.+
18 Kubanga ebikolwa ebibi byokya ng’omuliro,
Bisaanyaawo obuti bw’amaggwa n’omuddo.
Birikoleeza ebisaka eby’omu kibira,
Birigenda waggulu mu mukka ogukutte.
19 Mu busungu bwa Yakuwa ow’eggye
Ensi ekoleezeddwako omuliro,
Era abantu balifuuka nku.
Tewali n’omu alitaliza wadde muganda we.
20 Omuntu alisala ku ddyo
Naye alisigala akyalumwa enjala;
Era omuntu alirya ku kkono
Naye talikkuta.
Buli muntu alirya ennyama y’oku mukono gwe,
21 Manase alirya Efulayimu,
Ne Efulayimu alirya Manase.
Bombi balirumba Yuda.+
Olw’ensonga eyo, akyali musunguwavu,
Era akyagolodde omukono gwe okubonereza.+