LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Zabbuli 33
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okutendereza Omutonzi

        • “Mumuyimbire oluyimba oluggya” (3)

        • Ebintu byatondebwa olw’ekigambo kya Yakuwa n’olw’omwoyo gwe (6)

        • Eggwanga lya Yakuwa ssanyufu (12)

        • “Eriiso lya Yakuwa liri ku abo abamutya” (18)

Zabbuli 33:1

Marginal References

  • +Baf 4:4

Zabbuli 33:3

Marginal References

  • +Zb 40:3; 98:1; 149:1; Is 42:10; Kub 5:9

Zabbuli 33:4

Marginal References

  • +Zb 12:6

Zabbuli 33:5

Marginal References

  • +Yob 37:23; Zb 11:7; 45:7
  • +Zb 145:16; Bik 14:17

Zabbuli 33:6

Footnotes

  • *

    Obut., “eggye lyabyo lyonna lyakolebwa.”

Marginal References

  • +Beb 11:3

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 7

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2006, lup. 31

Zabbuli 33:7

Marginal References

  • +Lub 1:9; Yob 38:8-11; Nge 8:29; Yer 5:22

Zabbuli 33:8

Marginal References

  • +Kub 14:7

Zabbuli 33:9

Marginal References

  • +Zb 148:4, 5
  • +Zb 119:90

Zabbuli 33:10

Footnotes

  • *

    Oba, “okuteesa kw’amawanga.”

  • *

    Oba, “ebirowoozo by’abantu.”

Marginal References

  • +Is 8:10; 19:3
  • +Zb 21:8, 11

Zabbuli 33:11

Marginal References

  • +Nge 19:21; Is 46:10

Zabbuli 33:12

Marginal References

  • +Ma 33:29
  • +Zb 65:4; 135:4; 1Pe 2:9

Zabbuli 33:13

Marginal References

  • +Zb 11:4; 14:2; Nge 15:3; Beb 4:13

Zabbuli 33:15

Marginal References

  • +1By 28:9; Yob 34:21; Nge 24:12

Zabbuli 33:16

Marginal References

  • +Yos 11:6
  • +2By 32:21; Zb 44:4, 5

Zabbuli 33:17

Footnotes

  • *

    Oba, “okukuwa obuwanguzi.”

Marginal References

  • +2Sk 7:6, 7; Zb 20:7; Nge 21:31; Is 31:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2006, lup. 32

    6/1/1992, lup. 9

Zabbuli 33:18

Marginal References

  • +Yob 36:7; Zb 34:15

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2006, lup. 32

Zabbuli 33:19

Marginal References

  • +Is 33:15, 16

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2006, lup. 32

Zabbuli 33:20

Marginal References

  • +Ma 33:29

Zabbuli 33:21

Marginal References

  • +Zb 28:7; Nge 18:10

Zabbuli 33:22

Marginal References

  • +Zb 32:10
  • +Mi 7:7

General

Zab. 33:1Baf 4:4
Zab. 33:3Zb 40:3; 98:1; 149:1; Is 42:10; Kub 5:9
Zab. 33:4Zb 12:6
Zab. 33:5Yob 37:23; Zb 11:7; 45:7
Zab. 33:5Zb 145:16; Bik 14:17
Zab. 33:6Beb 11:3
Zab. 33:7Lub 1:9; Yob 38:8-11; Nge 8:29; Yer 5:22
Zab. 33:8Kub 14:7
Zab. 33:9Zb 148:4, 5
Zab. 33:9Zb 119:90
Zab. 33:10Is 8:10; 19:3
Zab. 33:10Zb 21:8, 11
Zab. 33:11Nge 19:21; Is 46:10
Zab. 33:12Ma 33:29
Zab. 33:12Zb 65:4; 135:4; 1Pe 2:9
Zab. 33:13Zb 11:4; 14:2; Nge 15:3; Beb 4:13
Zab. 33:151By 28:9; Yob 34:21; Nge 24:12
Zab. 33:16Yos 11:6
Zab. 33:162By 32:21; Zb 44:4, 5
Zab. 33:172Sk 7:6, 7; Zb 20:7; Nge 21:31; Is 31:1
Zab. 33:18Yob 36:7; Zb 34:15
Zab. 33:19Is 33:15, 16
Zab. 33:20Ma 33:29
Zab. 33:21Zb 28:7; Nge 18:10
Zab. 33:22Zb 32:10
Zab. 33:22Mi 7:7
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Zabbuli 33:1-22

Zabbuli

33 Mmwe abatuukirivu mwogerere waggulu n’essanyu olw’ebyo Yakuwa by’akoze.+

Abagolokofu bagwanidde okumutendereza.

 2 Mwebaze Yakuwa nga mumusunira entongooli;

Mumuyimbire ennyimba ezitendereza nga bwe musuna ekivuga eky’enkoba ekkumi.

 3 Mumuyimbire oluyimba olupya;+

Musune bulungi ebivuga eby’enkoba nga bwe mwogerera waggulu n’essanyu.

 4 Kubanga ekigambo kya Yakuwa kya mazima,+

Era buli ky’akola kyesigika.

 5 Ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.+

Ensi ejjudde okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka.+

 6 Olw’ekigambo kya Yakuwa eggulu lyakolebwa,+

N’olw’omukka gw’omu kamwa ke byonna ebiririmu byakolebwa.*

 7 Akuŋŋaanya amazzi g’ennyanja ne gaba ng’ebbibiro;+

Ateeka mu materekero amazzi aganjaala.

 8 Ensi yonna k’etye Yakuwa.+

Abantu ababeera mu nsi ka bamuwe ekitiibwa.

 9 Kubanga yayogera, ne bibaawo;+

Yalagira, byonna ne binywera.+

10 Yakuwa alemesezza entegeka z’amawanga;*+

Agootaanyizza enteekateeka z’abantu.*+

11 Naye ebyo Yakuwa by’ateekateeka bijja kubeerawo emirembe gyonna;+

Ebirowoozo by’omu mutima gwe bibeerawo emirembe n’emirembe.

12 Lirina essanyu eggwanga eririna Yakuwa nga Katonda waalyo,+

Abantu b’alonze okuba ababe.+

13 Yakuwa ayima mu ggulu n’atunula wansi;

N’alaba abaana b’abantu bonna.+

14 Ayima mu kifo gy’abeera

N’atunuulira ababeera ku nsi.

15 Y’akola emitima gyabwe bonna;

Akebera byonna bye bakola.+

16 Tewali kabaka awonawo olw’okuba alina eggye ddene;+

Omusajja ow’amaanyi tawonawo olw’okuba alina amaanyi mangi.+

17 Okussa obwesige mu mbalaasi ng’osuubira nti esobola okukulokola* kuba kwerimba;+

Amaanyi gaayo amangi tegasobola kukulokola.

18 Laba! Eriiso lya Yakuwa liri ku abo abamutya,+

Abo abalindirira okwagala kwe okutajjulukuka,

19 Okubanunula mu kufa,

N’okubakuuma nga balamu mu kiseera eky’enjala.+

20 Tulindirira Yakuwa.

Y’atuyamba era ye ngabo yaffe.+

21 Emitima gyaffe gisanyukira mu ye,

Olw’okuba obwesige bwaffe tubutadde mu linnya lye ettukuvu.+

22 Okwagala kwo okutajjulukuka ka kutubeereko, Ai Yakuwa,+

Nga bwe tukulindirira.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share