LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • Ezeekyeri 3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Ezeekyeri agambibwa okulya omuzingo Katonda gwe yamuwa (1-15)

      • Ezeekyeri wa kuweereza ng’omukuumi (16-27)

        • Obulagajjavu buvaamu okuvunaanibwa omusaayi (18-21)

Ezeekyeri 3:1

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “lya ky’osanga.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kub 10:9, 10

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana,

    6/2017, lup. 5

Ezeekyeri 3:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 119:103; Yer 15:16; Kub 10:9, 10

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana,

    6/2017, lup. 5

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2008, lup. 8-9

    7/1/2007, lup. 12

    6/1/1995, lup. 13

    4/1/1991, lup. 21-22

    12/1/1988, lup. 4

Ezeekyeri 3:6

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yon 3:4, 5; Mat 11:21

Ezeekyeri 3:7

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Luk 10:16
  • +Kuv 34:9; Yer 3:3; 5:3

Ezeekyeri 3:8

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 1:18, 19; 15:20; Mi 3:8

Ezeekyeri 3:9

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Is 50:7
  • +Yer 17:18

Ezeekyeri 3:11

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “eri abaana b’abantu bo.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2Sk 24:12, 14
  • +Ezk 2:5

Ezeekyeri 3:12

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ezk 8:3

Ezeekyeri 3:13

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ezk 1:24
  • +Ezk 10:16

Ezeekyeri 3:14

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 4-5

Ezeekyeri 3:15

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ezk 1:3
  • +Yer 23:9

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2007, lup. 13

    12/1/1988, lup. 4-5

Ezeekyeri 3:17

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Is 21:8; 62:6; Yer 6:17
  • +Is 58:1; Ezk 33:7

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 3, 4-5

Ezeekyeri 3:18

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 2:40; 1Ti 4:16
  • +Ezk 33:4
  • +Ezk 33:8

Ezeekyeri 3:19

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ezk 33:9; Bik 18:6; 20:26

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/1991, lup. 21

Ezeekyeri 3:20

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “ebitali bya bwenkanya.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ezk 18:24, 26; 33:12, 18
  • +Lev 19:17; Ezk 33:6; Beb 13:17

Ezeekyeri 3:21

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Nge 17:10; Ezk 33:14, 15; Yak 5:19, 20

Ezeekyeri 3:23

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ezk 1:27, 28
  • +Ezk 1:1

Ezeekyeri 3:24

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ezk 2:2; Dan 10:19

Ezeekyeri 3:25

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1988, lup. 5

Ezeekyeri 3:26

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Okusinza Okulongoofu, lup. 66

Ezeekyeri 3:27

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ezk 24:27; 33:22
  • +Mat 11:15
  • +Is 30:9

Ebirala

Ezk. 3:1Kub 10:9, 10
Ezk. 3:3Zb 119:103; Yer 15:16; Kub 10:9, 10
Ezk. 3:6Yon 3:4, 5; Mat 11:21
Ezk. 3:7Luk 10:16
Ezk. 3:7Kuv 34:9; Yer 3:3; 5:3
Ezk. 3:8Yer 1:18, 19; 15:20; Mi 3:8
Ezk. 3:9Is 50:7
Ezk. 3:9Yer 17:18
Ezk. 3:112Sk 24:12, 14
Ezk. 3:11Ezk 2:5
Ezk. 3:12Ezk 8:3
Ezk. 3:13Ezk 1:24
Ezk. 3:13Ezk 10:16
Ezk. 3:15Ezk 1:3
Ezk. 3:15Yer 23:9
Ezk. 3:17Is 21:8; 62:6; Yer 6:17
Ezk. 3:17Is 58:1; Ezk 33:7
Ezk. 3:18Bik 2:40; 1Ti 4:16
Ezk. 3:18Ezk 33:4
Ezk. 3:18Ezk 33:8
Ezk. 3:19Ezk 33:9; Bik 18:6; 20:26
Ezk. 3:20Ezk 18:24, 26; 33:12, 18
Ezk. 3:20Lev 19:17; Ezk 33:6; Beb 13:17
Ezk. 3:21Nge 17:10; Ezk 33:14, 15; Yak 5:19, 20
Ezk. 3:23Ezk 1:27, 28
Ezk. 3:23Ezk 1:1
Ezk. 3:24Ezk 2:2; Dan 10:19
Ezk. 3:27Ezk 24:27; 33:22
Ezk. 3:27Mat 11:15
Ezk. 3:27Is 30:9
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ezeekyeri 3:1-27

Ezeekyeri

3 Awo n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, lya ekyo ekiri mu maaso go.* Lya omuzingo guno, ogende oyogere n’ab’ennyumba ya Isirayiri.”+

2 Awo ne njasamya akamwa kange, n’ampa omuzingo ngulye. 3 N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, lya omuzingo guno gwe nkuwa ogujjuze mu lubuto lwo.” Ne ngulya, era gwali guwoomerera ng’omubisi gw’enjuki mu kamwa kange.+

4 N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, genda mu b’ennyumba ya Isirayiri obabuulire ebigambo byange. 5 Kubanga totumiddwa eri abantu aboogera olulimi oluzibu okutegeera oba olutamanyiddwa, wabula eri ennyumba ya Isirayiri. 6 Totumiddwa eri amawanga amangi agoogera olulimi oluzibu okutegeera oba olutamanyiddwa, olulimu ebigambo by’otayinza kutegeera. Singa nkutumye eri abantu ng’abo, bandikuwulirizza.+ 7 Naye ab’ennyumba ya Isirayiri bajja kugaana okukuwuliriza, kubanga tebaagala kumpuliriza;+ ab’ennyumba ya Isirayiri bonna ba mputtu era ba mitima mikakanyavu.+ 8 Obwenyi bwo mbufudde bugumu ng’obwenyi bwabwe, n’ekyenyi kyo nkikalubizza ng’ebyenyi byabwe.+ 9 Ekyenyi kyo nkifudde ng’ejjinja erisingayo obugumu, era nkifudde kigumu okusinga ejjinja ery’embaalebaale.+ Tobatya era totiisibwatiisibwa bwenyi bwabwe,+ kubanga ba mu nnyumba njeemu.”

10 Era n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, ssaayo omwoyo era wuliriza byonna bye nkugamba. 11 Genda eri abantu bo abali mu buwaŋŋanguse,*+ oyogere nabo, obagambe nti ebigambo by’oyogera biva eri Yakuwa, Mukama Afuga Byonna, ka babe nga banaawuliriza oba tebaawulirize.”+

12 Awo omwoyo ne gunsitula,+ ne mpulira emabega wange eddoboozi eddene ennyo nga ligamba nti: “Ekitiibwa kya Yakuwa kitenderezebwe mu kifo kye.” 13 Waaliwo eddoboozi ly’ebiwaawaatiro by’ebiramu ebina nga bikoonagana,+ n’eddoboozi lya nnamuziga ezaali zibiriraanye,+ n’eddoboozi eddene ennyo. 14 Omwoyo ne gunsitula ne guntwala, ne ŋŋenda nga nnyiikadde era nga nsunguwadde, era omukono gwa Yakuwa ne gumbaako. 15 Ne ŋŋenda e Teru-abibu eri abantu abaali mu buwaŋŋanguse, abaali babeera okumpi n’Omugga Kebali,+ ne mbeera eyo gye baali babeera; nnabeera nabo okumala ennaku musanvu, nga nsobeddwa.+

16 Ennaku omusanvu bwe zaggwaako, Yakuwa n’aŋŋamba nti:

17 “Omwana w’omuntu, nkulonze okuba omukuumi eri ennyumba ya Isirayiri;+ bw’owuliranga ekigambo ekiva mu kamwa kange, obawanga okulabula okuva gye ndi.+ 18 Bwe ŋŋamba omuntu omubi nti, ‘Ojja kufa,’ naye ggwe n’otomulabula, n’otoyogera naye kumulabula ave mu kkubo lye ebbi, asobole okusigala nga mulamu,+ ajja kufa olw’ensobi ze olw’okuba mubi,+ naye omusaayi gwe nja kuguvunaana ggwe.+ 19 Kyokka bw’olabula omubi, naye n’atakyuka kuleka bikolwa bye ebibi, wadde okuva mu kkubo lye ebbi, ajja kufa olw’ensobi ze, naye ggwe ojja kuwonya obulamu bwo.+ 20 Ate omuntu omutuukirivu bw’alekera awo okukola eby’obutuukirivu, n’akola ebibi,* nja kuteeka enkonge mu maaso ge era ajja kufa.+ Bw’oba tewamulabula, ajja kufa olw’ebibi bye era ebikolwa bye eby’obutuukirivu tebirijjukirwa, naye omusaayi gwe nja kuguvunaana ggwe.+ 21 Naye bw’olabula omuntu omutuukirivu aleme kwonoona, era n’atayonoona, mazima ajja kusigala nga mulamu olw’okuba yalabulwa,+ era ggwe ojja kuba owonyezza obulamu bwo.”

22 Awo amaanyi ga Yakuwa ne ganzijako nga ndi eyo, n’aŋŋamba nti: “Situka ogende mu lusenyi, eyo gye nnaayogerera naawe.” 23 Ne nsituka, ne ŋŋenda mu lusenyi, era laba! ekitiibwa kya Yakuwa kyali eyo,+ nga kiringa ekitiibwa kye nnalaba ku lubalama lw’Omugga Kebali,+ era ne nvunnama ku ttaka. 24 Awo omwoyo ne gunnyingiramu era ne gunnyimiriza,+ n’ayogera nange era n’aŋŋamba nti:

“Genda weggalire mu nnyumba yo. 25 Era ggwe omwana w’omuntu, bajja kukussaako emiguwa bakusibe, oleme kugenda mu bo. 26 N’olulimi lwo nja kululeetera okukwatira ku kibuno, obe nga tosobola kwogera era obe nga tosobola kubanenya, kubanga ba mu nnyumba njeemu. 27 Naye bwe nnaayogera naawe, nja kwasamya akamwa ko, era ojja kubagamba nti+ ebigambo by’oyogera biva eri Yakuwa, Mukama Afuga Byonna. Oyo anaawuliriza awulirize,+ n’oyo anaagaana okuwuliriza agaane, kubanga ba mu nnyumba njeemu.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza