LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • 2 Abakkolinso 13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Okulabula n’okubuulirira okusembayo (1-14)

        • “Mwekeberenga mulabe obanga muli mu kukkiriza” (5)

        • Mutereezebwe; mulowooze bumu (11)

2 Abakkolinso 13:1

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “akamwa ka.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 19:15; Mat 18:16

2 Abakkolinso 13:4

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 6:4; 1Pe 3:18
  • +2Ti 2:11, 12
  • +1Ko 6:14

2 Abakkolinso 13:5

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 11:28; Bag 6:4

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2018, lup. 13

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2014, lup. 11

    3/15/2014, lup. 13

    7/15/2008, lup. 28

    8/1/2005, lup. 8-12

    3/1/2005, lup. 13

    10/1/2002, lup. 16

2 Abakkolinso 13:10

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 4:21

2 Abakkolinso 13:11

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2Ko 1:3, 4
  • +Baf 2:2
  • +1Se 5:13; Yak 3:17; 1Pe 3:11; 2Pe 3:14
  • +1Ko 14:33

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2020, lup. 18-23

    3/1/1991, lup. 9-10

Ebirala

2 Kol. 13:1Ma 19:15; Mat 18:16
2 Kol. 13:4Bar 6:4; 1Pe 3:18
2 Kol. 13:42Ti 2:11, 12
2 Kol. 13:41Ko 6:14
2 Kol. 13:51Ko 11:28; Bag 6:4
2 Kol. 13:101Ko 4:21
2 Kol. 13:112Ko 1:3, 4
2 Kol. 13:11Baf 2:2
2 Kol. 13:111Se 5:13; Yak 3:17; 1Pe 3:11; 2Pe 3:14
2 Kol. 13:111Ko 14:33
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Abakkolinso 13:1-14

2 Abakkolinso

13 Guno gwe mulundi ogw’okusatu gwe nzija gye muli. “Ensonga eneekakasibwanga nga waliwo obujulizi bwa* bantu babiri oba basatu.”+ 2 Wadde nga siri nammwe kati, nninga ali eyo omulundi ogw’okubiri, era ndabula abo abaayonoona era n’abalala bonna, nti bwe ndijja eyo nate tewali n’omu alisimattuka kukangavvulwa, 3 okuva bwe munoonya obukakafu obulaga nti Kristo, atali munafu gye muli naye ow’amaanyi mu mmwe, y’ayogera okuyitira mu nze. 4 Mazima ddala yakomererwa olw’obunafu, naye mulamu olw’amaanyi ga Katonda.+ Kyo kituufu nti naffe tuli banafu nga naye bwe yali omunafu, naye tujja kuba balamu naye+ olw’amaanyi ga Katonda agali mu mmwe.+

5 Mwekeberenga mulabe obanga muli mu kukkiriza; mwegezese mumanyire ddala ekyo kye muli.+ Oba temumanyi nti Yesu Kristo ali bumu nammwe? Okuggyako nga temusiimibwa. 6 Mazima ddala nsuubira mujja kukitegeera nti ffe tusiimibwa.

7 Tusaba Katonda nti muleme kukola kikyamu kyonna, si lwa kuba nti twagala okulabika ng’abasiimibwa naye lwa kuba twagala mukole ekirungi, wadde nga ffe tuyinza okulabika ng’abatasiimibwa. 8 Kubanga tetuyinza kukola kintu kyonna kiziyiza mazima wabula ekigawagira. 9 Mazima ddala tusanyuka buli lwe tubeera abanafu naye nga mmwe muli ba maanyi. Era tusaba nti muddemu okutereezebwa. 10 Eno ye nsonga lwaki mbawandiikira ebintu bino nga siri nammwe, bwe ndijja nneme kuba mukambwe, kubanga Mukama waffe teyampa buyinza bwa kubazikiriza wabula okubazimba.+

11 Kale ab’oluganda, mweyongere okusanyuka, okutereezebwa, okubudaabudibwa,+ okulowooza obumu,+ n’okuba mu mirembe;+ era Katonda ow’okwagala n’emirembe+ ajja kubeera nammwe. 12 Mulamusagane n’okunywegera okutukuvu. 13 Abatukuvu bonna babalamusizza.

14 Ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu Kristo, n’okwagala kwa Katonda, n’omwoyo omutukuvu ffenna wamu gwe tulina bibeere nammwe mmwenna.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza