Ekyabalamuzi
8 Abasajja ba Efulayimu ne bamugamba nti: “Kiki kino ky’otukoze? Lwaki tewatuyise ng’ogenda okulwanyisa Midiyaani?”+ Ne bamuyombesa nnyo.+ 2 Naye n’abagamba nti: “Kiki kye nkoze ekiyinza okugeraageranyizibwa ku kye mukoze? Ezzabbibu Efulayimu+ ly’alonderera terisinga eryo Abi-yezeri ly’akungula?+ 3 Katonda awaddeyo Olebu ne Zeebu,+ abaami ba Midiyaani, mu mukono gwammwe; kale nze kiki kye nkoze ekiyinza okugeraageranyizibwa ku kye mukoze?” Bwe yayogera bw’atyo* ne bakkakkana.
4 Awo Gidiyoni n’atuuka ku Yoludaani n’asomoka. Ye n’abasajja ebisatu abaali naye, baali bakooye naye nga bakyawondera abalabe baabwe. 5 N’agamba abasajja b’omu Sukkosi nti: “Mbeegayiridde, abantu abangoberera mubawe ku migaati kubanga bakooye, ate nga ngoba Zeba ne Zalumunna, bakabaka ba Midiyaani.” 6 Naye abaami b’omu Sukkosi ne bagamba nti: “Omaze okukwata Zeba ne Zalumunna tulyoke tuwe eggye lyo emigaati?” 7 Gidiyoni n’agamba nti: “Yakuwa bw’anaawaayo Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange, nja kubakubisa amaggwa n’emiyonza eby’omu ddungu.”+ 8 N’avaayo eyo n’agenda e Penuweri era n’ayogera n’abaayo mu ngeri y’emu, naye abasajja b’omu Penuweri ne bamuddamu ng’abasajja b’omu Sukkosi bwe baali bamuzzeemu. 9 Bw’atyo n’agamba abasajja b’omu Penuweri nti: “Bwe nnaakomawo mirembe nja kumenyaamenya omunaala guno.”+
10 Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli n’amagye gaabwe, abantu nga 15,000. Bano bokka be baali basigaddewo ku ggye lyonna ery’abantu b’ebuvanjuba,+ kubanga abasajja 120,000, abaakwatanga ekitala baali bamaze okufa. 11 Gidiyoni ne yeeyongera okwambuka ng’ayita mu kkubo ly’abo ababeera mu weema ebuvanjuba wa Noba ne Yogubeka,+ n’alumba eggye, era yaligwako nga terimwetegekedde. 12 Zeba ne Zalumunna bwe badduka, n’abawondera era n’akwata bakabaka ba Midiyaani abo ababiri, Zeba ne Zalumunna; eggye lyonna n’alisuulamu entiisa.
13 Awo Gidiyoni mutabani wa Yowaasi n’akomawo okuva mu lutalo ng’ayita mu kkubo erigenda e Keresi. 14 Bwe yali akomawo n’awamba omuvubuka w’omu Sukkosi, n’abaako by’amubuuza. Omuvubuka n’amuwandiikira amannya g’abaami b’omu Sukkosi n’ag’abakadde baamu, abasajja 77. 15 Awo Gidiyoni n’agenda eri abasajja b’omu Sukkosi n’abagamba nti: “Zeba ne Zalumunna baabano kwe mwasinziira okunduulira nga mugamba nti, ‘Omaze okukwata Zeba ne Zalumunna tulyoke tuwe abasajja bo abakooye emigaati?’”+ 16 Awo n’atwala abakadde b’omu kibuga, n’addira amaggwa n’emiyonza eby’omu ddungu n’abikozesa okuyigiriza abasajja b’omu Sukkosi essomo.+ 17 Era n’amenyaamenya omunaala gw’e Penuweri,+ n’atta n’abasajja b’omu kibuga ekyo.
18 N’abuuza Zeba ne Zalumunna nti: “Abasajja be mwatta e Taboli baali bafaanana batya?” Ne bamuddamu nti: “Baali nga ggwe; buli omu ku bo yali afaanana ng’omwana wa kabaka.” 19 N’agamba nti: “Baali baganda bange, abaana ba mmange. Nga Yakuwa bw’ali omulamu, singa temwabatta, nange sandibasse.” 20 N’agamba Yeseri mutabani we omubereberye nti: “Situka obatte.” Naye omuvubuka teyasowolayo kitala kye olw’okutya, kubanga yali akyali muto. 21 Awo Zeba ne Zalumunna ne bagamba nti: “Ggwe kennyini situka otutte, kubanga omusajja bamulabira ku maanyi ge.”* Awo Gidiyoni n’asituka n’atta Zeba ne Zalumunna,+ era n’atwala obujolobero obulinga omwezi ogwakaboneka obwali mu nsingo z’eŋŋamira zaabwe.
22 Oluvannyuma abasajja ba Isirayiri ne bagamba Gidiyoni nti: “Tufuge, ggwe ne mutabani wo ne muzzukulu wo, kubanga otulokodde mu mukono gwa Midiyaani.”+ 23 Naye Gidiyoni n’abagamba nti: “Nze sijja kubafuga, ne mutabani wange tajja kubafuga. Yakuwa y’ajja okubafuga.”+ 24 Gidiyoni era n’abagamba nti: “Ka mbeeko kye mbasaba: buli omu ku mmwe aggye ku munyago gwe empeta ey’omu nnyindo agimpe.” (Abo be baali bawangudde baalina empeta ez’omu nnyindo eza zzaabu olw’okuba baali Bayisimayiri.)+ 25 Ne bamuddamu nti: “Tujja kuzikuwa.” Awo ne banjuluza olugoye, buli omu n’asuulako empeta ey’omu nnyindo gye yali aggye ku munyago gwe. 26 Obuzito bw’empeta ez’omu nnyindo eza zzaabu ze yasaba bwali sekeri* za zzaabu 1,700, nga totaddeeko bujolobero obulinga omwezi ogwakaboneka, n’emikuufu, n’ebyambalo ebya wuzi eza kakobe bakabaka ba Midiyaani bye baayambalanga, era n’emikuufu egyali ku ŋŋamira.+
27 Gidiyoni n’addira zzaabu oyo n’amukolamu efodi+ n’agiteeka mu kibuga kye, mu Ofula;+ Isirayiri yonna n’etandika okugisinziza* eyo,+ bw’etyo n’ebeera ekyambika eri Gidiyoni n’ab’omu nnyumba ye.+
28 Bwe batyo Abamidiyaani+ ne bawangulwa mu maaso g’Abayisirayiri, era tebaddamu kubalumba*; ensi n’ebaamu emirembe okumala emyaka 40 mu kiseera kya Gidiyoni.+
29 Yerubbaali+ mutabani wa Yowaasi n’addayo ewuwe n’abeera eyo.
30 Gidiyoni yalina abaana ab’obulenzi 70, kubanga yawasa abakazi bangi. 31 N’omuzaana we eyali mu Sekemu yamuzaalira omwana ow’obulenzi, Gidiyoni n’amutuuma Abimereki.+ 32 Oluvannyuma Gidiyoni mutabani wa Yowaasi n’afa ng’akaddiye bulungi, n’aziikibwa gye baaziika Yowaasi kitaawe mu Ofula eky’Ababi-yezeri.+
33 Gidiyoni olwali okufa, Abayisirayiri ne baddamu okwenda mu by’omwoyo ku Babbaali,+ era ne bafuula Bbaali-berisi katonda waabwe.+ 34 Abayisirayiri tebajjukira Yakuwa Katonda waabwe+ eyabanunula mu mukono gw’abalabe baabwe bonna abaali babeetoolodde;+ 35 era tebaalaga kisa ekitajjulukuka eri ab’ennyumba ya Yerubbaali, ng’ono ye Gidiyoni, olw’ebirungi byonna bye yakolera Isirayiri.+