1 Abakkolinso
4 Omuntu asaanidde okututwala ng’abaweereza ba Kristo era abawanika b’ebyama bya Katonda ebitukuvu.+ 2 Era ekyetaagibwa mu bawanika kwe kubeera abeesigwa. 3 Sikitwala ng’ekikulu, mmwe oba ekkooti y’abantu okunsalira omusango. Era nange kennyini seesalira musango. 4 Kubanga simanyiiyo kintu kyonna kinvunaanibwa. Kyokka ekyo tekitegeeza nti ndi mutuukirivu; ansalira omusango ye Yakuwa.*+ 5 N’olwekyo, temusala musango+ mu kintu kyonna ng’ekiseera tekinnatuuka, okutuusa Mukama waffe lw’alijja. Ebintu eby’ekizikiza ebiri mu kyama alibiteeka mu kitangaala, era alyoleka ebigendererwa by’emitima, olwo buli muntu alyoke afune ettendo okuva eri Katonda.+
6 Kaakano ab’oluganda, njogedde ebintu bino nga nkozesa ekyokulabirako kyange n’ekya Apolo+ ku lw’obulungi bwammwe, musobole okuyiga omusingi guno: “Tosukkanga bintu ebyawandiikibwa,” muleme kwegulumiza,+ ng’omuntu omu mumutwala okuba ng’asinga omulala. 7 Ani akufuula ow’enjawulo ku mulala? Mazima ddala kiki ky’olina ky’otaaweebwa?+ Kaakano bw’oba nga waweebwa buweebwa, lwaki weewaana nga gy’obeera nti tewaweebwa buweebwa?
8 Mumaze okufuna byonna bye mwetaaga? Mumaze okugaggawala? Mutandise okufuga nga bakabaka+ mmwekka awatali ffe? Ddala nnandyagadde mmwe okufuga nga bakabaka naffe tusobole okufugira wamu nammwe nga bakabaka.+ 9 Kindabikira nti ffe abatume Katonda b’asembezzaayo okuteeka ku mwoleso ng’abantu abasaliddwa ogw’okufa,+ kubanga tufuuse ekyerolerwa eri ensi,+ eri bamalayika, n’eri abantu. 10 Tuli basiru+ ku lwa Kristo, naye mmwe muli bagezi mu Kristo; tuli banafu naye mmwe muli ba maanyi; muli ba kitiibwa naye ffe tunyoomebwa. 11 N’okutuusa kaakano tukyeyongera okulumwa enjala,+ okulumwa ennyonta,+ obutaba na bya kwambala,*+ okukubibwa, obutaba na wa kusula, 12 era n’okutegana nga tukola n’emikono gyaffe.+ Bwe batuvuma, ffe tubaagaliza mikisa;+ bwe tuyigganyizibwa, tugumiikiriza;+ 13 bwe twogerwako obubi, ffe twogera na kisa;+ n’okutuusa kaakano, tufuuse ng’ebisasiro eby’ensi n’obucaafu bwayo.
14 Ebintu bino sibibawandiikira kubaswaza, wabula okubabuulirira ng’abaana bange abaagalwa. 15 Kubanga, wadde nga muyinza okuba n’abayigiriza 10,000 mu Kristo, temulina bakitammwe bangi; kubanga okuyitira mu mawulire amalungi, nfuuse kitammwe mu Kristo Yesu.+ 16 N’olwekyo, mbakubiriza okunkoppa.+ 17 Eno ye nsonga lwaki mbatumira Timoseewo omwana wange omwagalwa era omwesigwa mu Mukama waffe. Ajja kubajjukiza engeri gye nkolamu ebintu nga mpeereza Kristo Yesu,+ nga bwe njigiriza buli wamu mu buli kibiina.
18 Abamu beegulumiza nga gy’obeera nti sijje gye muli. 19 Naye Yakuwa* bw’anaaba ayagadde, nja kujja gye muli mu kaseera katono, era nja kumanya amaanyi* g’abo abeegulumiza, so si bigambo byabwe. 20 Kubanga Obwakabaka bwa Katonda tebweyoleka mu bigambo bugambo, wabula mu maanyi. 21 Mwagala ki? Nzije gye muli n’omuggo,+ oba n’okwagala era n’omwoyo omukkakkamu?