LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Abafiripi 2
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Obuwombeefu (1-4)

      • Obuwombeefu Kristo bwe yayoleka (5-11)

      • Mukolerere obulokozi bwammwe (12-18)

        • Okwaka ng’ettaala (15)

      • Atuma Timoseewo ne Epafulodito (19-30)

Abafiripi 2:1

Footnotes

  • *

    Obut., “okugabana omwoyo.”

Abafiripi 2:2

Marginal References

  • +1Ko 1:10; 2Ko 13:11; 1Pe 3:8

Abafiripi 2:3

Marginal References

  • +Baf 1:15, 17; Yak 3:14, 16
  • +Bag 5:26
  • +Mat 23:11; Bef 4:1, 2; 5:21

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    7/2021, lup. 16

    Zuukuka!,

    Na. 1 2021 lup. 6-7

    Na. 3 2020 lup. 8

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    5/2019, lup. 24-25

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2005, lup. 25

    1/1/2001, lup. 14

    8/1/1999, lup. 23

    1/1/1995, lup. 6-7

    5/1/1993, lup. 9

    12/1/1991, lup. 9

Abafiripi 2:4

Marginal References

  • +1Ko 13:4, 5
  • +1Ko 10:24, 32, 33

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 48

    Zuukuka!,

    Na. 3 2019 lup. 8-9

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/15/2014, lup. 30

    11/15/2008, lup. 24

    1/1/2005, lup. 18

    1/1/1995, lup. 6-7

    12/1/1991, lup. 8-13

    Essanyu mu Maka, lup. 30-31

Abafiripi 2:5

Marginal References

  • +Mat 11:29; Yok 13:14, 15

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/15/2014, lup. 31-32

Abafiripi 2:6

Marginal References

  • +Bak 1:15; Beb 1:3
  • +Yok 14:28

Abafiripi 2:7

Footnotes

  • *

    Obut., “n’abeera mu kifaananyi ky’abantu.”

Marginal References

  • +Is 53:2, 3
  • +Yok 1:14

Abafiripi 2:8

Footnotes

  • *

    Obut., “bwe yeesanga mu kifaananyi eky’abantu.”

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +Yok 10:17; Beb 2:9; 5:8
  • +Bag 3:13

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/15/2012, lup. 11-13

Abafiripi 2:9

Marginal References

  • +Is 52:13; Bik 2:32, 33
  • +Bik 4:12; Bef 1:20, 21

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 15

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2012, lup. 22

    4/1/2008, lup. 11

Abafiripi 2:10

Marginal References

  • +Yok 5:22, 23

Abafiripi 2:11

Marginal References

  • +Bar 10:9

Abafiripi 2:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/1989, lup. 5-6

    3/1/1988, lup. 15

Abafiripi 2:13

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 12

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    10/2019, lup. 21

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2008, lup. 28

    5/1/1989, lup. 5-6

Abafiripi 2:14

Marginal References

  • +1Ko 10:10; 1Pe 4:9
  • +1Ti 2:8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2006, lup. 8-9

    12/1/2002, lup. 13-16

Abafiripi 2:15

Marginal References

  • +Bef 5:1
  • +Ma 32:5
  • +Mat 5:14; Bef 5:8, 9; 1Pe 2:9, 12

Abafiripi 2:16

Marginal References

  • +Yok 6:68; Beb 4:12

Abafiripi 2:17

Footnotes

  • *

    Oba, “obuweereza obw’omu lujjudde.”

Marginal References

  • +Kbl 28:6, 7; 2Ko 12:15; 2Ti 4:6
  • +Beb 13:15; 1Pe 2:5

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2018

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2000, lup. 10

Abafiripi 2:19

Marginal References

  • +1Ko 4:17; 16:10

Abafiripi 2:20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    4/2018, lup. 13

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/2015, lup. 15

Abafiripi 2:21

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    4/2018, lup. 13

Abafiripi 2:22

Marginal References

  • +2Ti 1:2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    4/2018, lup. 14

Abafiripi 2:24

Marginal References

  • +Fir 22

Abafiripi 2:25

Marginal References

  • +Baf 4:18

Abafiripi 2:26

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/15/2010, lup. 12-13

Abafiripi 2:29

Marginal References

  • +1Ko 16:18; 1Se 5:12, 13

Abafiripi 2:30

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “ku lw’omulimu gwa Mukama waffe.”

Marginal References

  • +Fir 10, 13

General

Baf. 2:21Ko 1:10; 2Ko 13:11; 1Pe 3:8
Baf. 2:3Baf 1:15, 17; Yak 3:14, 16
Baf. 2:3Bag 5:26
Baf. 2:3Mat 23:11; Bef 4:1, 2; 5:21
Baf. 2:41Ko 13:4, 5
Baf. 2:41Ko 10:24, 32, 33
Baf. 2:5Mat 11:29; Yok 13:14, 15
Baf. 2:6Bak 1:15; Beb 1:3
Baf. 2:6Yok 14:28
Baf. 2:7Is 53:2, 3
Baf. 2:7Yok 1:14
Baf. 2:8Yok 10:17; Beb 2:9; 5:8
Baf. 2:8Bag 3:13
Baf. 2:9Is 52:13; Bik 2:32, 33
Baf. 2:9Bik 4:12; Bef 1:20, 21
Baf. 2:10Yok 5:22, 23
Baf. 2:11Bar 10:9
Baf. 2:141Ko 10:10; 1Pe 4:9
Baf. 2:141Ti 2:8
Baf. 2:15Bef 5:1
Baf. 2:15Ma 32:5
Baf. 2:15Mat 5:14; Bef 5:8, 9; 1Pe 2:9, 12
Baf. 2:16Yok 6:68; Beb 4:12
Baf. 2:17Kbl 28:6, 7; 2Ko 12:15; 2Ti 4:6
Baf. 2:17Beb 13:15; 1Pe 2:5
Baf. 2:191Ko 4:17; 16:10
Baf. 2:222Ti 1:2
Baf. 2:24Fir 22
Baf. 2:25Baf 4:18
Baf. 2:291Ko 16:18; 1Se 5:12, 13
Baf. 2:30Fir 10, 13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Abafiripi 2:1-30

Abafiripi

2 Kale bwe wabaawo okuzzibwamu amaanyi kwonna mu Kristo, okubudaabudibwa mu kwagala, okufaayo ku balala,* okwagala, n’obusaasizi, 2 essanyu lyange mulifuule lijjuvu nga mubeera n’endowooza emu, okwagala kumu, nga muli bumu, era nga mulowooza bumu.+ 3 Temukola kintu kyonna mu kuyomba,+ oba mu kwetwala ng’ab’ekitalo,+ wabula mu bwetoowaze mukitwale+ nti abalala babasinga, 4 era nga temufaayo ku byammwe byokka+ naye nga mufaayo ne ku by’abalala.+

5 Mubeerenga n’endowooza eno Kristo Yesu gye yalina,+ 6 wadde yali mu kifaananyi kya Katonda,+ teyagezaako na kulowooza ku kya kwenkanankana ne Katonda.+ 7 Wabula yeggyako buli kye yalina n’aba ng’omuddu,+ era n’afuuka omuntu.*+ 8 N’ekisinga ku ekyo, bwe yajja ng’omuntu,* yeetoowaza n’abeera muwulize okutuuka n’okufa,+ yee, okufiira ku muti ogw’okubonaabona.*+ 9 Olw’ensonga eyo, Katonda yamugulumiza n’amuteeka mu kifo ekya waggulu ennyo,+ era mu kisa kye n’amuwa erinnya erisinga amalala gonna,+ 10 buli vviivi ly’abo abali mu ggulu ne ku nsi ne wansi mu ttaka lifukamire olw’erinnya lya Yesu,+ 11 era buli lulimi lwatule mu lujjudde nti Yesu Kristo ye Mukama waffe,+ Katonda Kitaffe alyoke aweebwe ekitiibwa.

12 N’olwekyo abaagalwa, nga bulijjo bwe mubadde abawulize, si olwo lwokka nga ndi nammwe, naye kaakano n’okusingawo nga siri nammwe, mweyongere okukolerera obulokozi bwammwe nga mutya era nga mukankana. 13 Kubanga Katonda y’abawa amaanyi okukola ebimusanyusa, abaagazise okukola era mukole. 14 Mukolenga ebintu byonna awatali kwemulugunya+ wadde okuyomba,+ 15 mulyoke mube nga temuliiko kya kunenyezebwa oba omusango, nga muli baana ba Katonda+ abataliiko kamogo mu mulembe guno ogwakyama,+ gwe mwakiramu ng’ettaala mu nsi,+ 16 nga munywerera ku kigambo eky’obulamu,+ nsobole okuba ne kye nneenyumiririzaamu mu lunaku lwa Kristo, nti saddukira bwereere era saafubira bwereere. 17 Wadde nga nfukibwa ng’ekiweebwayo eky’eby’okunywa+ ekifukibwa ku ssaddaaka+ ne ku buweereza obutukuvu* okukkiriza kwammwe bye kubakubirizza okukola, ndi musanyufu era njaganyiza wamu nammwe. 18 Kale nammwe musanyuke era mujaganyize wamu nange.

19 Nsuubira mu Mukama waffe Yesu okubatumira amangu Timoseewo,+ ndyoke nziremu amaanyi olw’okumanya ebibafaako. 20 Kubanga sirina mulala alina ndowooza ng’eyiye ajja okubafaako mu bwesimbu. 21 Abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe so si bya Yesu Kristo. 22 Naye mumanyi engeri gye yalagamu nti agwanidde; okufaananako omwana+ ne kitaawe, yakolera wamu nange okubunyisa amawulire amalungi. 23 N’olwekyo, oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga mmaze okumanya bwe nnaabeera. 24 Ndi mukakafu mu Mukama waffe nti nange nja kujja mangu ddala.+

25 Kyokka, nkiraba nga kyetaagisa okubatumira Epafulodito muganda wange, mukozi munnange, era mulwanyi munnange, ate nga mutume wammwe era omuweereza wange mu bye nneetaaga.+ 26 Ayagala nnyo okubalaba mmwenna era mwennyamivu olw’okuba mwawulira nti yalwala. 27 Mazima ddala yalwala n’abulako katono okufa; naye Katonda yamusaasira, mu butuufu, teyasaasira ye yekka naye era nange, ku nnaku gye nnina nneme kwongerako ndala. 28 N’olwekyo, mmutuma mu bwangu gye muli, mulyoke musanyuke nate nga mumulabye era nneme kweraliikirira nnyo. 29 Kale mumwanirize n’essanyu nga bwe mwaniriza bulijjo abagoberezi ba Mukama waffe, era abantu abalinga abo mubatwale nga ba muwendo nnyo,+ 30 kubanga ku lw’omulimu gwa Kristo,* yabulako katono okufa ng’ateeka obulamu bwe mu kabi, asobole okubakiikirira ng’ampeereza.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share