Yobu
37 “Awo omutima gwange ne gukuba
Era ne guntundugga.
2 Wuliriza n’obwegendereza okuwuuma kw’eddoboozi lye
N’okubwatuka okuva mu kamwa ke.
3 Okubwatuka akusindika wansi w’eggulu lyonna
Era asindika okumyansa+ kwe ku nkomerero y’ensi.
4 Oluvannyuma eddoboozi liwuluguma;
Abwatuka n’eddoboozi ery’amaanyi,+
Era okumyansa takuziyiza eddoboozi lye bwe liwulirwa.
5 Okubwatuka kw’eddoboozi lya Katonda+ kwa kitalo;
Akola ebintu eby’ekitalo ebisukkulumye okutegeera kwaffe.+
6 Agamba omuzira nti, ‘Gwa ku nsi,’+
Era n’enkuba nti, ‘Tonnya n’amaanyi.’+
8 Ensolo ez’omu nsiko zigenda gye zisula
Era zisigala mu bisulo byazo.
11 Ebire abijjuza amazzi;
Okumyansa+ kwe akubunyisa mu bire;
12 Ebire byetooloola ne bigenda gy’aba abiragidde;
Kyonna ky’abiragira+ okukola ku nsi bikikola.
15 Omanyi engeri Katonda gy’afugamu* ebire
N’engeri gy’aleetera ebimyanso okumyansa okuva mu kire kye?
16 Omanyi ebire bwe biseeyeeya?+
Egyo gye mirimu egy’ekitalo egy’Oyo eyatuukirira mu kumanya.+
17 Lwaki ebyambalo byo bibuguma
Ng’ensi esirise olw’embuyaga ey’ebukiikaddyo?+
18 Oyinza okubamba eggulu awamu naye+
Ne liba ggumu ng’endabirwamu ey’ekyuma?
19 Tubuulire kye tuba tumugamba;
Tetusobola kuddamu kubanga tuli mu kizikiza.
20 Bamutegeeze nti njagala kwogera?
Oba waliwo omuntu yenna ayogedde ekintu ekigwanira okumutegeezebwa?+
21 Tebasobola na kulaba kitangaala*
Wadde nga kyakaayakana ku ggulu,
Okutuusa empewo lw’ejja n’etwala ebire.
22 Mu bukiikakkono evaayo okwakaayakana okulinga zzaabu;
Ekitiibwa kya Katonda+ kiwuniikiriza.
23 Omuyinza w’Ebintu Byonna tetuyinza kumutegeera,+
Alina amaanyi mangi,+
Byonna by’akola bulijjo biba bya bwenkanya+ era bya butuukirivu.+
24 N’olwekyo, abantu bagwanidde okumutya.+
Kubanga teyeekubiira ku ludda lw’abo abalowooza nti ba magezi.”+