LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yosiya ateekateeka okukwata Okuyitako (1-19)

      • Yosiya attibwa Falaawo Neko (20-27)

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:1

Marginal References

  • +Kuv 12:3-11; 2Sk 23:21
  • +Kuv 12:21
  • +Lev 23:5; Ma 16:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:2

Marginal References

  • +2By 23:18; 31:2

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:3

Marginal References

  • +Ma 33:10; 2By 17:8, 9; Nek 8:7, 8
  • +1Sk 6:38; 2By 5:7
  • +Kbl 4:15; 1By 23:25, 26

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2006, lup. 15

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:4

Marginal References

  • +1By 23:6
  • +2By 8:14

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:6

Marginal References

  • +Kuv 12:21; 2By 30:1, 15

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:7

Marginal References

  • +2By 30:24

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:8

Marginal References

  • +2Sk 23:4; 2By 34:14

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:10

Marginal References

  • +1By 23:6

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:11

Marginal References

  • +Kuv 12:3, 6
  • +2By 30:16
  • +2By 29:34

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:13

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ne bookya.”

Marginal References

  • +Kuv 12:8; Ma 16:6, 7

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:15

Marginal References

  • +1By 16:37
  • +1By 23:5
  • +1By 25:1, 2
  • +1By 16:41, 42; 25:3
  • +1By 26:12, 13

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:16

Marginal References

  • +Lev 23:5
  • +2Sk 23:21

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:17

Marginal References

  • +Kuv 12:15; Lev 23:6; Ma 16:3; 2By 30:1, 21

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:18

Marginal References

  • +2Sk 23:22, 23; 2By 30:5, 26

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:20

Footnotes

  • *

    Obut., “ennyumba.”

Marginal References

  • +Yer 46:2
  • +2Sk 23:29

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    3/2017, lup. 27

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:22

Marginal References

  • +1Sk 22:30
  • +Bal 1:27; 5:19; Zek 12:11; Kub 16:16

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    3/2017, lup. 27

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:24

Marginal References

  • +2Sk 23:30; 2By 34:28

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:25

Marginal References

  • +Yer 1:1
  • +Yer 9:17, 20

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:27

Marginal References

  • +2Sk 23:28

General

2 Byom. 35:1Kuv 12:3-11; 2Sk 23:21
2 Byom. 35:1Kuv 12:21
2 Byom. 35:1Lev 23:5; Ma 16:1
2 Byom. 35:22By 23:18; 31:2
2 Byom. 35:3Ma 33:10; 2By 17:8, 9; Nek 8:7, 8
2 Byom. 35:31Sk 6:38; 2By 5:7
2 Byom. 35:3Kbl 4:15; 1By 23:25, 26
2 Byom. 35:41By 23:6
2 Byom. 35:42By 8:14
2 Byom. 35:6Kuv 12:21; 2By 30:1, 15
2 Byom. 35:72By 30:24
2 Byom. 35:82Sk 23:4; 2By 34:14
2 Byom. 35:101By 23:6
2 Byom. 35:11Kuv 12:3, 6
2 Byom. 35:112By 30:16
2 Byom. 35:112By 29:34
2 Byom. 35:13Kuv 12:8; Ma 16:6, 7
2 Byom. 35:151By 16:37
2 Byom. 35:151By 23:5
2 Byom. 35:151By 25:1, 2
2 Byom. 35:151By 16:41, 42; 25:3
2 Byom. 35:151By 26:12, 13
2 Byom. 35:16Lev 23:5
2 Byom. 35:162Sk 23:21
2 Byom. 35:17Kuv 12:15; Lev 23:6; Ma 16:3; 2By 30:1, 21
2 Byom. 35:182Sk 23:22, 23; 2By 30:5, 26
2 Byom. 35:20Yer 46:2
2 Byom. 35:202Sk 23:29
2 Byom. 35:221Sk 22:30
2 Byom. 35:22Bal 1:27; 5:19; Zek 12:11; Kub 16:16
2 Byom. 35:242Sk 23:30; 2By 34:28
2 Byom. 35:25Yer 1:1
2 Byom. 35:25Yer 9:17, 20
2 Byom. 35:272Sk 23:28
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:1-27

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri

35 Awo Yosiya n’akwata embaga ya Yakuwa ey’Okuyitako+ mu Yerusaalemi, ne batta ensolo ey’Embaga ey’Okuyitako+ ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogusooka.+ 2 N’awa bakabona emirimu gyabwe era n’abakubiriza okukola omulimu gw’ennyumba ya Yakuwa.+ 3 N’agamba Abaleevi, abayigiriza ba Isirayiri yonna,+ abo abaali abatukuvu eri Yakuwa nti: “Muteeke Essanduuko entukuvu mu nnyumba Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isirayiri gye yazimba;+ temukyalina kugisitulira ku bibegaabega byammwe.+ Kaakano muweereze Yakuwa Katonda wammwe n’abantu be Isirayiri. 4 Mweteeketeeke okusinziira ku nnyumba za bakitammwe, ng’ebibinja byammwe bwe biri, nga mugoberera ebyo Dawudi+ kabaka wa Isirayiri ne mutabani we Sulemaani bye baawandiika.+ 5 Mugende mu kifo ekitukuvu muyimirire mu bibinja byammwe, musobole okuweereza abantu era mukole omulimu ogwaweebwa Abaleevi okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe. 6 Mutte ensolo ey’embaga ey’Okuyitako,+ mwetukuze, era muteekereteekere baganda bammwe okukola nga Yakuwa bwe yagamba okuyitira mu Musa.”

7 Awo Yosiya n’awa abantu endiga ento ennume n’embuzi ento ennume 30,000 eza ssaddaaka z’embaga y’Okuyitako ku lw’abantu bonna abaaliwo, era n’abawa n’ente 3,000. Ensolo ezo zaggibwa ku bintu bya kabaka.+ 8 Abaami ba kabaka nabo baawaayo kyeyagalire ku lw’abantu ne ku lwa bakabona ne ku lw’Abaleevi. Kirukiya+ ne Zekkaliya ne Yekyeri abakulu b’omu nnyumba ya Katonda ow’amazima baawa bakabona ensolo 2,600 ez’okuttibwa ku mbaga ey’Okuyitako n’ente 300. 9 Konaniya ne baganda be, Semaaya ne Nesaneeri, awamu ne Kasukabiya ne Yeyeri ne Yozabadi, abaali bakulira Abaleevi, baawa Abaleevi ensolo 5,000 ez’okuttibwa ku mbaga ey’Okuyitako n’ente 500.

10 Awo okuteekateeka ne kuggwa, era bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe n’Abaleevi ne bayimirira mu bibinja byabwe+ nga kabaka bwe yali alagidde. 11 Ne batta ensolo ez’embaga ey’Okuyitako,+ bakabona ne bamansira ku kyoto omusaayi ogwabaweebwa,+ ng’Abaleevi bwe babaaga ensolo.+ 12 Ne bateekateeka ebiweebwayo ebyokebwa basobole okubiwa abantu abaali bagabanyiziddwamu ng’ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, biweebweyo eri Yakuwa nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa; era bwe batyo bwe baakola ne ku nte. 13 Ne bafumba* ekiweebwayo eky’embaga ey’Okuyitako ng’empisa bw’eri.+ Ebiweebwayo ebitukuvu ne babifumbira mu ntamu ne mu nsaka ne mu ssefuliya, oluvannyuma ne babitwala mangu eri abantu. 14 Oluvannyuma bo bennyini beeteekerateekera era ne bateekerateekera ne bakabona, kubanga bakabona, bazzukulu ba Alooni, baawaayo ssaddaaka ezookebwa era n’amasavu okutuusa ekiro; Abaleevi kyebaava beeteekerateekera era ne bateekerateekera ne bakabona, bazzukulu ba Alooni.

15 Abayimbi abaana ba Asafu+ baali mu bifo byabwe nga bwe baalagirwa Dawudi+ ne Asafu+ ne Kemani ne Yedusuni+ eyategeezanga kabaka okwolesebwa okwavanga eri Katonda; n’abakuumi b’oku miryango baali ku miryango egy’enjawulo.+ Kyali tekibeetaagisa kuva ku mirimu gyabwe kubanga baganda baabwe Abaleevi baali babategekedde. 16 Awo ku lunaku olwo ne bamaliriza okuteekateeka byonna Yakuwa bye yali abeetaagisa okusobola okukwata embaga ey’Okuyitako+ n’okuwaayo ku kyoto kya Yakuwa ebiweebwayo ebyokebwa, ng’ekiragiro kya Kabaka Yosiya bwe kyali.+

17 Awo Abayisirayiri abaaliwo ne bakwata Okuyitako mu kiseera ekyo era ne bakwata n’Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse okumala ennaku musanvu.+ 18 Waali tewabangawo mbaga ya Kuyitako eringa eyo mu Isirayiri okuva mu nnaku za nnabbi Samwiri, era waali tewabangawo kabaka wa Isirayiri yenna eyakwata embaga ey’Okuyitako eringa eyo Yosiya gye yakwata+ ne bakabona n’Abaleevi n’abantu b’omu Yuda bonna n’ab’omu Isirayiri abaaliwo era n’ab’omu Yerusaalemi. 19 Embaga eyo ey’Okuyitako baagikwata mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Yosiya.

20 Oluvannyuma lw’ebyo byonna nga Yosiya amaze okuteekateeka yeekaalu,* Neeko+ kabaka wa Misiri n’ajja e Kalukemisi okumpi n’Omugga Fulaati okulwana. Awo Yosiya n’agenda okumwaŋŋanga.+ 21 Neeko n’atuma ababaka gy’ali n’amugamba nti: “Lwaki ozze okulwana nange ggwe kabaka wa Yuda? Sizze kulwana naawe wabula nzize kulwana na ggwanga ddala, era Katonda agambye nti nnyanguwe. Ku lw’obulungi bwo weewale okuziyiza Katonda ali nange, aleme okukuzikiriza.” 22 Naye Yosiya n’agaana okumuvaako, wabula ne yeefuula ng’omuntu omulala+ n’agenda okulwana naye; n’atawuliriza bigambo bya Neeko ebyava mu kamwa ka Katonda. Bw’atyo n’agenda mu kiwonvu ky’e Megiddo+ okulwana.

23 Abalasi ne balasa Kabaka Yosiya, kabaka n’agamba abaweereza be nti: “Munzigye wano kubanga nfunye ebisago eby’amaanyi.” 24 Awo abaweereza be ne bamuggya mu ggaali ne bamuteeka mu ggaali lye ery’okubiri ery’olutalo ne bamuleeta e Yerusaalemi. Bw’atyo n’afa, ne bamuziika ku biggya bya bajjajjaabe.+ Abantu b’omu Yuda bonna n’ab’omu Yerusaalemi ne bakungubagira Yosiya. 25 Yeremiya+ n’akungubagira Yosiya ng’ayimba oluyimba olw’okukungubaga; era abayimbi abasajja n’abakazi+ bamuyimbako mu nnyimba zaabwe ez’okukungubaga n’okutuusa leero. Era kyasalibwawo nti ennyimba ezo zirina okuyimbibwa mu Isirayiri, era zaawandiikibwa mu kitabo ky’ennyimba ez’okukungubaga.

26 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Yosiya n’ebikolwa bye eby’okwagala okutajjulukuka, ng’atuukiriza ebyo ebiwandiikiddwa mu Mateeka ga Yakuwa, 27 era n’ebyo bye yakola, okuva ku byasooka okutuukira ddala ku byasembayo, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Isirayiri n’aba Yuda.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share