Zabbuli ya Dawudi, bwe yali adduka Abusaalomu mutabani we.+
3 Ai Yakuwa, lwaki abalabe bange bayitiridde obungi?+
Lwaki bangi basituka okunnwanyisa?+
 2 Bangi banjogerako nti:
“Katonda tajja kumulokola.”+ (Seera)
 3 Naye ggwe, Ai Yakuwa, oli ngabo enneetoolodde,+
Ggwe kitiibwa kyange+ era ggwe ayimusa omutwe gwange.+
 4 Nja kukoowoola Yakuwa,
Era ajja kunziramu ng’ayima ku lusozi lwe olutukuvu.+ (Seera)
 5 Nja kugalamira wansi nneebake;
Era nja kuzuukuka nga situukiddwako kabi,
Kubanga Yakuwa annyamba.+
 6 Sitya nkumi na nkumi z’abantu
Abasimbye ennyiriri ku buli luuyi okunnwanyisa.+
 7 Situka Ai Yakuwa! Ndokola Ai Katonda wange!+
Ojja kukuba abalabe bange bonna ku luba;
Ojja kumenyaamenya amannyo g’ababi.+
 8 Obulokozi bwa Yakuwa.+
Omukisa gwo guli ku bantu bo. (Seera)