Yeremiya
27 Ku ntandikwa y’obufuzi bwa Kabaka Yekoyakimu owa Yuda, mutabani wa Yosiya, ekigambo kino okuva eri Yakuwa kyajjira Yeremiya: 2 “Bw’ati Yakuwa bw’aŋŋambye, ‘Weekolere enkoba n’ebikoligo obyeyambike mu bulago, 3 oluvannyuma obiwe ababaka abazze mu Yerusaalemi eri Kabaka Zeddeekiya owa Yuda babitwalire kabaka wa Edomu,+ kabaka wa Mowaabu,+ kabaka w’Abaamoni,+ kabaka wa Ttuulo,+ ne kabaka wa Sidoni.+ 4 Bawe obubaka buno babutwalire bakama baabwe:
“‘“Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba; bakama bammwe mubagambe nti, 5 ‘Nze nnakola ensi, abantu, n’ensolo eziri ku nsi nga nkozesa amaanyi gange amangi n’omukono gwange ogugoloddwa, era mbiwa oyo yenna gwe njagala. + 6 Kaakano ensi zino zonna nziwadde omuweereza wange Kabaka Nebukadduneeza+ owa Babulooni; n’ensolo ez’omu nsiko nzimuwadde zimuweereze. 7 Amawanga gonna gajja kumuweereza ye ne mutabani we ne muzzukulu we okutuusa ekiseera ky’obwakabaka bwe lwe kiriggwaako,+ amawanga mangi ne bakabaka ab’amaanyi ne bamufuula omuddu waabwe.’+
8 “‘“‘Ab’eggwanga lyonna oba obwakabaka abanaagaana okuweereza Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni era abanaagaana okuteeka ensingo yaabwe wansi w’ekikoligo kya kabaka wa Babulooni, nja kubabonereza nga nkozesa ekitala,+ enjala, n’endwadde,’ Yakuwa bw’agamba, ‘okutuusa lwe nnaabasaanyaawo nga nkozesa omukono gwe.’
9 “‘“‘N’olwekyo temuwuliriza bannabbi bammwe, n’abalaguzi bammwe, n’abaloosi bammwe, n’abafumu bammwe, n’abalogo bammwe ababagamba nti: “Temujja kuweereza kabaka wa Babulooni.” 10 Kubanga babalagula bya bulimba, era ekyo kijja kubaviirako okuggibwa mu nsi yammwe mutwalibwe eyo ewala; nja kubasaasaanya era mujja kuzikirira.
11 “‘“‘Naye eggwanga erinaateeka ensingo yaalyo wansi w’ekikoligo kya kabaka wa Babulooni era ne limuweereza, nja kulireka lisigale* mu nsi yaalyo,’ Yakuwa bw’agamba, ‘ligirime era ligibeeremu.’”’”
12 Ne Kabaka Zeddeekiya+ owa Yuda nnamugamba ekintu kye kimu nti: “Muteeke ensingo yammwe wansi w’ekikoligo kya kabaka wa Babulooni, mumuweereze ye n’abantu be, mulyoke musigale nga muli balamu.+ 13 Ggwe n’abantu bo mwagalira ki okufa ekitala,+ enjala,+ n’endwadde,+ nga Yakuwa bw’ayogedde ku ggwanga erinaagaana okuweereza kabaka wa Babulooni? 14 Temuwuliriza bigambo bya bannabbi ababagamba nti, ‘Temujja kuweereza kabaka wa Babulooni,’+ kubanga babagamba bya bulimba.+
15 “‘Sibatumye,’ Yakuwa bw’agamba, ‘naye balagula eby’obulimba mu linnya lyange, era n’ekinaavaamu, nja kubasaasaanya; mujja kuzikirira mmwe ne bannabbi bammwe.’”+
16 Ate era nnagamba bakabona n’abantu bonna nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Temuwuliriza bigambo bya bannabbi bammwe ababagamba nti: “Laba! Ebintu by’omu nnyumba ya Yakuwa bijja kuzzibwa mangu okuva e Babulooni!”+ kubanga babagamba bya bulimba.+ 17 Temubawuliriza. Muweereze kabaka wa Babulooni mweyongere okuba abalamu.+ Ekibuga kino kifuukira ki amatongo? 18 Naye bwe baba nga bannabbi era nga balina ekigambo kya Yakuwa, ka beegayirire Yakuwa ow’eggye ebintu ebyasigalawo mu nnyumba ya Yakuwa, mu nnyumba ya* kabaka wa Yuda, ne mu Yerusaalemi bireme kutwalibwa e Babulooni.’
19 “Kubanga bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’ayogera ku mpagi,+ ttanka,*+ amagaali,+ n’ebintu ebyasigalawo mu kibuga kino, 20 Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni by’ataatwala bwe yaggya Kabaka Yekoniya owa Yuda, mutabani wa Yekoyakimu, mu Yerusaalemi n’amutwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni awamu n’abakungu bonna ab’omu Yuda ne Yerusaalemi;+ 21 Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, ayogera bw’ati ku bintu ebyasigalawo mu nnyumba ya Yakuwa, mu nnyumba ya* kabaka wa Yuda, ne mu Yerusaalemi: 22 ‘“Bijja kutwalibwa e Babulooni+ bisigale eyo okutuusa lwe ndibijjukira,” Yakuwa bw’agamba. “Olwo ndibikomyawo ne mbiteeka mu kifo kino.”’”+