LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ebikolwa 17
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Pawulo ne Siira mu Ssessalonika (1-9)

      • Pawulo ne Siira e Beroya (10-15)

      • Pawulo mu Asene (16-22a)

      • Pawulo ayogera eri abantu ng’ali mu Aleyopaago (22b-34)

Ebikolwa 17:1

Marginal References

  • +1Se 2:1

Ebikolwa 17:2

Marginal References

  • +Bik 9:19, 20; 13:13, 14; 14:1; 18:4
  • +Bik 18:19

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2009, lup. 22

    Ssomero ly’Omulimu, lup. 251-252

Ebikolwa 17:3

Marginal References

  • +Zb 22:7; 34:20; 69:21; 118:22; Is 50:6; 53:3, 5
  • +Zb 16:10; Luk 24:45, 46

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2009, lup. 22

    7/1/1991, lup. 10

Ebikolwa 17:4

Marginal References

  • +Bik 15:22, 40

Ebikolwa 17:5

Marginal References

  • +Bik 13:45

Ebikolwa 17:6

Marginal References

  • +Bik 16:19-21

Ebikolwa 17:7

Marginal References

  • +Luk 23:1, 2; Yok 19:12

Ebikolwa 17:11

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 2

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/15/2011, lup. 25

    6/1/1996, lup. 9-10

    7/1/1991, lup. 10

Ebikolwa 17:13

Marginal References

  • +Bik 14:2, 19

Ebikolwa 17:14

Marginal References

  • +Mat 10:23

Ebikolwa 17:15

Marginal References

  • +Bik 16:1, 2; 1Se 3:2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/2004, lup. 19

    7/1/1991, lup. 10

Ebikolwa 17:16

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/1989, lup. 3

Ebikolwa 17:17

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 18

Ebikolwa 17:18

Marginal References

  • +Yok 5:28, 29; 11:25; 1Ko 15:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2001, lup. 18

    7/1/1991, lup. 10

    9/1/1989, lup. 3-5

Ebikolwa 17:19

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2013

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/1991, lup. 10

    9/1/1989, lup. 4-5

Ebikolwa 17:21

Footnotes

  • *

    Oba, “abaakyalangayo.”

Ebikolwa 17:22

Footnotes

  • *

    Oba, “muli bannaddiini nnyo.”

Marginal References

  • +Bik 17:33, 34
  • +Bik 17:16

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2010, lup. 30

    9/1/1989, lup. 4-6

    Ssomero ly’Omulimu, lup. 252

Ebikolwa 17:23

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2010, lup. 30

    9/1/1989, lup. 4-6

Ebikolwa 17:24

Marginal References

  • +Zb 146:6
  • +1Sk 8:27

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2010, lup. 30

    9/1/1989, lup. 6

Ebikolwa 17:25

Marginal References

  • +Zb 50:12
  • +Is 42:5

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 38

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2010, lup. 30

    9/1/1989, lup. 6

Ebikolwa 17:26

Marginal References

  • +Lub 5:2
  • +Lub 1:28
  • +Ma 2:5, 19; 32:8; Zb 74:17

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2010, lup. 30

    7/1/1991, lup. 10

    9/1/1989, lup. 6-7

Ebikolwa 17:27

Marginal References

  • +Ma 4:29; Zb 145:18; Bar 1:20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2010, lup. 30

    9/1/1989, lup. 8

Ebikolwa 17:28

Footnotes

  • *

    Oba, “zzadde lye.”

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 38

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2010, lup. 30-31

    7/1/2004, lup. 8

    9/1/1989, lup. 8-9

Ebikolwa 17:29

Footnotes

  • *

    Oba, “ezzadde lya.”

Marginal References

  • +Lub 1:27
  • +Ma 5:8; Is 37:19; 40:18-20; 46:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2010, lup. 30-31

Ebikolwa 17:30

Marginal References

  • +Bef 4:17, 18

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2010, lup. 31

    9/1/1989, lup. 9-10

Ebikolwa 17:31

Marginal References

  • +Zb 96:13; 98:9; Yok 5:22; Bik 10:42
  • +Yok 11:25; Bik 2:24; 13:32, 33

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2010, lup. 31

    1/15/2008, lup. 20

    7/1/1991, lup. 10

    9/1/1989, lup. 10-14

Ebikolwa 17:32

Marginal References

  • +1Ko 1:23

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2010, lup. 31

Ebikolwa 17:34

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2010, lup. 31

General

Bik. 17:11Se 2:1
Bik. 17:2Bik 9:19, 20; 13:13, 14; 14:1; 18:4
Bik. 17:2Bik 18:19
Bik. 17:3Zb 22:7; 34:20; 69:21; 118:22; Is 50:6; 53:3, 5
Bik. 17:3Zb 16:10; Luk 24:45, 46
Bik. 17:4Bik 15:22, 40
Bik. 17:5Bik 13:45
Bik. 17:6Bik 16:19-21
Bik. 17:7Luk 23:1, 2; Yok 19:12
Bik. 17:13Bik 14:2, 19
Bik. 17:14Mat 10:23
Bik. 17:15Bik 16:1, 2; 1Se 3:2
Bik. 17:18Yok 5:28, 29; 11:25; 1Ko 15:12
Bik. 17:22Bik 17:33, 34
Bik. 17:22Bik 17:16
Bik. 17:24Zb 146:6
Bik. 17:241Sk 8:27
Bik. 17:25Zb 50:12
Bik. 17:25Is 42:5
Bik. 17:26Lub 5:2
Bik. 17:26Lub 1:28
Bik. 17:26Ma 2:5, 19; 32:8; Zb 74:17
Bik. 17:27Ma 4:29; Zb 145:18; Bar 1:20
Bik. 17:29Lub 1:27
Bik. 17:29Ma 5:8; Is 37:19; 40:18-20; 46:5
Bik. 17:30Bef 4:17, 18
Bik. 17:31Zb 96:13; 98:9; Yok 5:22; Bik 10:42
Bik. 17:31Yok 11:25; Bik 2:24; 13:32, 33
Bik. 17:321Ko 1:23
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ebikolwa 17:1-34

Ebikolwa

17 Awo ne bayita mu Anfipoli ne Apoloniya ne batuuka e Ssessalonika,+ awaali ekkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. 2 Pawulo n’agenda gye baali munda mu kkuŋŋaaniro nga bwe yakolanga,+ n’akubaganya nabo ebirowoozo ku Byawandiikibwa+ okumala ssabbiiti ssatu ez’omuddiriŋŋanwa, 3 ng’annyonnyola era ng’akozesa obukakafu obuli mu buwandiike okulaga nti Kristo yalina okubonaabona+ n’okuzuukizibwa mu bafu,+ ng’agamba nti: “Yesu oyo gwe mbabuulira ye Kristo.” 4 N’ekyavaamu, abamu ku bo baafuuka bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira,+ n’Abayonaani bangi abaasinzanga Katonda era n’abakazi bangi ab’ebitiibwa nabo ne babeegattako.

5 Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya,+ ne bakuŋŋaanya abantu ababi abaali bakireereese mu katale, ne bakola ekibinja ne basasamaza ekibuga. Ne balumba ennyumba ya Yasooni nga banoonya Pawulo ne Siira babatwale eri ekibinja ky’abantu. 6 Bwe bataabasangayo, ne bawalaawala Yasooni awamu n’ab’oluganda abamu ne babatwala eri abafuzi b’ekibuga, nga bwe boogerera waggulu nti: “Abasajja bano abaleeta emitawaana buli wamu batuuse ne wano,+ 7 era Yasooni abasembezza. Abasajja bano bonna bawakanya amateeka ga Kayisaali nga bagamba nti waliwo kabaka omulala, Yesu.”+ 8 Ekibiina ky’abantu n’abafuzi b’ekibuga bwe baawulira ebyo ne bakyankalana; 9 bwe baamala okusasuza Yasooni ne banne ssente ez’okweyimirirwa, ne babata ne bagenda.

10 Obudde olwali okuziba, ab’oluganda ne basindika Pawulo ne Siira e Beroya. Bwe baatuukayo, ne bagenda mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. 11 Ab’e Beroya baalina endowooza ennuŋŋamu okusinga ab’e Ssessalonika, kubanga bakkiriza mangu ekigambo, era buli lunaku beekenneenyanga n’obwegendereza Ebyawandiikibwa okulaba obanga ebyo bye baawulira byali bituufu. 12 N’olw’ekyo, bangi ku bo baafuuka bakkiriza, n’abakazi bangi Abayonaani ab’ebitiibwa baafuuka bakkiriza awamu n’abasajja abamu. 13 Naye Abayudaaya ab’omu Ssessalonika bwe baawulira nti Pawulo yali abuulira ekigambo kya Katonda ne mu Beroya, ne bagendayo okukuma omuliro mu bantu n’okubasasamaza.+ 14 Amangu ago ab’oluganda ne basindika Pawulo ku nnyanja,+ naye Siira ne Timoseewo ne basigala. 15 Abo abaawerekera Pawulo baamutuusa mu Asene, era bwe yamala okubalagira okugamba Siira ne Timoseewo+ okujja gy’ali amangu ddala nga bwe kisoboka, ne bavaayo.

16 Pawulo bwe yali ng’abalindirira mu Asene, n’ayisibwa bubi bwe yalaba ng’ekibuga kijjudde ebifaananyi. 17 N’atandika okukubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya mu kkuŋŋaaniro n’abalala abaali basinza Katonda. Era buli lunaku yakubaganyanga ebirowoozo n’abo abaabanga mu katale. 18 Naye abamu ku bafirosoofo Abepikuliyo n’Abasutoyiiko ne batandika okumuwakanya, era abamu ne bagamba nti: “Ono ajoboja ayagala kutugamba ki?” Ate abalala ne bagamba nti: “Alabika abuulira bikwata ku bakatonda abatali ba kuno.” Baagamba bwe batyo olw’okuba Pawulo yali abuulira amawulire amalungi agakwata ku Yesu ne ku kuzuukira.+ 19 Awo ne bamukwata ne bamutwala mu Aleyopaago, nga bagamba nti: “Oyinza okutubuulira enjigiriza eno empya gy’oyogerako? 20 Kubanga ebintu by’oyogerako tetubiwulirangako, era twagala okumanya kye bitegeeza.” 21 Abaasene bonna n’abagwira abaabeerangayo* tebaakolanga kintu kirala wabula okuwuliriza n’okwogera ku bintu ebiggya. 22 Awo Pawulo n’ayimirira wakati mu Aleyopaago+ n’agamba nti:

“Abasajja b’omu Asene, nkirabye nti mutya nnyo bakatonda* okusinga abantu abalala bonna.+ 23 Ng’ekyokulabirako, bwe mbadde nga ntambulatambula nga nneetegereza ebintu bye musinza, ndabye ekyoto ekiwandiikiddwako nti, ‘Ekyoto kya Katonda Gwe Tutamanyi.’ N’olwekyo, oyo gwe musinza kyokka nga temumumanyi gwe mbabuulira. 24 Katonda eyakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu ye Mukama w’eggulu n’ensi,+ era tabeera mu yeekaalu zikolebwa bantu;+ 25 teyeetaaga bantu kumuweereza nga gy’obeera nti alina kye yeetaaga kyonna,+ kubanga y’awa abantu bonna obulamu,+ omukka gwe bassa, n’ebintu byonna. 26 Yakola okuva mu muntu omu+ amawanga gonna ag’abantu okubeera ku nsi yonna,+ era yabateerawo ebiseera ebigereke n’ensalo ez’ebitundu omw’okubeera,+ 27 basobole okunoonya Katonda, bamuwammante, era bamuzuule,+ wadde nga tali wala wa buli omu ku ffe. 28 Ku bw’oyo tuli balamu, tutambula, era weetuli, era ng’abamu ku bayiiya b’ebitontome mu mmwe bwe bagamba nti, ‘Naffe tuli baana be.’*

29 “N’olwekyo, okuva bwe tuli abaana ba* Katonda,+ tetusaanidde kulowooza nti Katonda alinga zzaabu, ffeeza, oba ejjinja, oba ekintu ekyole abantu kye baakola okusinziira ku magezi gaabwe.+ 30 Kyo kituufu nti Katonda yabuusa amaaso ebiseera eby’obutamanya obwo,+ naye kaakano agamba abantu yonna gye bali nti beenenye. 31 Kubanga ataddewo olunaku lw’ajja okulamulirako+ ensi mu butuukirivu ng’ayitira mu muntu gw’alonze, era awadde abantu bonna obukakafu ng’amuzuukiza mu bafu.”+

32 Bwe baawulira ng’ayogera ku kuzuukira kw’abafu, abamu ne bamujerega,+ naye abalala ne bagamba nti: “Tujja kukuwuliriza n’omulundi omulala ng’oyogera ku nsonga eno.” 33 Awo Pawulo n’ava we baali, 34 naye abantu abamu ne bamwegattako ne bafuuka bakkiriza. Mu bano mwalimu Diyonusiyo eyali omulamuzi mu kkooti y’oku Aleyopaago, n’omukyala ayitibwa Damali, n’abalala.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share