LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 28
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Zisanze abatamiivu ba Efulayimu! (1-6)

      • Bakabona ba Yuda ne bannabbi batagala (7-13)

      • “Endagaano n’Okufa” (14-22)

        • Ejjinja ery’omuwendo mu Sayuuni (16)

        • Omulimu gwa Yakuwa ogutali gwa bulijjo (21)

      • Ekyokulabirako ku ngeri Yakuwa gy’akangavvulamu (23-29)

Isaaya 28:1

Footnotes

  • *

    Kirabika, Samaliya, ekibuga ekikulu, kye kyogerwako wano.

  • *

    Oba, “ey’amalala.”

Marginal References

  • +Is 7:2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 4

Isaaya 28:2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/15/2011, lup. 3

    6/1/1992, lup. 4

Isaaya 28:3

Footnotes

  • *

    Oba, “ez’amalala.”

Marginal References

  • +2Sk 17:6; Is 17:3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 4

Isaaya 28:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 4

Isaaya 28:5

Marginal References

  • +Is 11:16

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 13

Isaaya 28:6

Marginal References

  • +Zb 18:34; 68:35

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 13-14

Isaaya 28:7

Marginal References

  • +2Sk 16:10, 11; Yer 5:31

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 4-5

Isaaya 28:8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 5

Isaaya 28:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 5-6

Isaaya 28:10

Footnotes

  • *

    Oba, “Omuguwa ogupima ku muguwa ogupima, omuguwa ogupima ku muguwa ogupima.”

Marginal References

  • +2Sk 21:13; Is 28:17; Kuk 2:8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 5-6

Isaaya 28:11

Marginal References

  • +Ma 28:49, 50; Yer 5:15; 1Ko 14:21

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 6

Isaaya 28:12

Marginal References

  • +Zb 81:10, 11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 6

Isaaya 28:13

Footnotes

  • *

    Oba, “Omuguwa ogupima ku muguwa ogupima, omuguwa ogupima ku muguwa ogupima.”

Marginal References

  • +Is 28:17
  • +2By 36:15, 16; Is 8:14, 15

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 6

Isaaya 28:15

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +Is 28:18
  • +Is 30:9, 10

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/2003, lup. 26

    6/1/1992, lup. 7-8

Isaaya 28:16

Marginal References

  • +Zb 118:22
  • +Mat 21:42; Mak 12:10; Luk 20:17; Bik 4:11
  • +Bef 2:19, 20
  • +Bar 9:33; 10:11; 1Pe 2:4, 6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 8

Isaaya 28:17

Footnotes

  • *

    Oba, “bbirigi.”

Marginal References

  • +2Sk 21:13
  • +Yer 11:20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/15/2011, lup. 3, 6-7

    6/1/1992, lup. 10, 14

Isaaya 28:18

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +Is 28:15

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 10

Isaaya 28:19

Footnotes

  • *

    Oba, “Bwe balitegeera, balifuna entiisa.”

Marginal References

  • +Is 24:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 10

Isaaya 28:20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 11-12

Isaaya 28:21

Marginal References

  • +Yos 10:8-14; 2Sa 5:20; 1By 14:10-16
  • +Kuk 2:15; Kab 1:5-7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 11-15

Isaaya 28:22

Footnotes

  • *

    Oba, “ensi yonna.”

Marginal References

  • +2By 36:15, 16; Yer 20:7
  • +Is 10:23; 24:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/1992, lup. 13

Isaaya 28:24

Marginal References

  • +Zb 30:5; 103:9; Mi 7:18

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2001, lup. 20

Isaaya 28:25

Footnotes

  • *

    Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunuddwa nga “eŋŋaano endala” kitegeeza ekika ky’eŋŋaano etaali nnungi nnyo eyalimwanga edda mu Misiri.

Marginal References

  • +Kuv 9:31, 32; Ezk 4:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2001, lup. 20

Isaaya 28:26

Footnotes

  • *

    Oba, “akangavvula; abonereza.”

Marginal References

  • +Zb 119:71

Isaaya 28:27

Marginal References

  • +Is 41:15; Am 1:3

Isaaya 28:28

Marginal References

  • +Zb 103:9; Is 21:10; Mi 7:18
  • +Lev 26:44; Yer 10:24

Isaaya 28:29

Marginal References

  • +Zb 40:5; Yer 32:19; Bar 11:33

General

Is. 28:1Is 7:2
Is. 28:32Sk 17:6; Is 17:3
Is. 28:5Is 11:16
Is. 28:6Zb 18:34; 68:35
Is. 28:72Sk 16:10, 11; Yer 5:31
Is. 28:102Sk 21:13; Is 28:17; Kuk 2:8
Is. 28:11Ma 28:49, 50; Yer 5:15; 1Ko 14:21
Is. 28:12Zb 81:10, 11
Is. 28:13Is 28:17
Is. 28:132By 36:15, 16; Is 8:14, 15
Is. 28:15Is 28:18
Is. 28:15Is 30:9, 10
Is. 28:16Zb 118:22
Is. 28:16Mat 21:42; Mak 12:10; Luk 20:17; Bik 4:11
Is. 28:16Bef 2:19, 20
Is. 28:16Bar 9:33; 10:11; 1Pe 2:4, 6
Is. 28:172Sk 21:13
Is. 28:17Yer 11:20
Is. 28:18Is 28:15
Is. 28:19Is 24:1
Is. 28:21Yos 10:8-14; 2Sa 5:20; 1By 14:10-16
Is. 28:21Kuk 2:15; Kab 1:5-7
Is. 28:222By 36:15, 16; Yer 20:7
Is. 28:22Is 10:23; 24:1
Is. 28:24Zb 30:5; 103:9; Mi 7:18
Is. 28:25Kuv 9:31, 32; Ezk 4:9
Is. 28:26Zb 119:71
Is. 28:27Is 41:15; Am 1:3
Is. 28:28Zb 103:9; Is 21:10; Mi 7:18
Is. 28:28Lev 26:44; Yer 10:24
Is. 28:29Zb 40:5; Yer 32:19; Bar 11:33
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 28:1-29

Isaaya

28 Zisanze engule* y’abatamiivu ba Efulayimu+ ey’okweraga*

N’ekimuli ekiwotoka eky’obulungi bwayo obw’ekitiibwa

Ekiri ku mutwe gw’ekiwonvu ekigimu eky’abo abatamidde omwenge!

 2 Laba! Yakuwa alina omuntu ow’amaanyi.

Ng’enkuba erimu omuzira n’okubwatuka, nga kibuyaga ow’amaanyi ayonoona ebintu,

Ng’enkuba erimu okubwatuka, ereeta amataba ag’amaanyi,

Aligikkata ku ttaka.

 3 Engule z’abatamiivu ba Efulayimu ez’okweraga*

Ziririnnyirirwa n’ebigere.+

 4 N’ekimuli ekiwotoka eky’obulungi bwayo obw’ekitiibwa,

Ekiri ku mutwe gw’ekiwonvu ekigimu,

Kiriba ng’ettiini erisooka okwengera ng’ekiseera eky’omusana tekinnatandika.

Omuntu bw’aliraba alinoga n’alimira mangu ddala.

5 Ku lunaku olwo Yakuwa ow’eggye alifuuka ngule ey’ekitiibwa era omuge ogulabika obulungi eri abantu be abaliba basigaddewo.+ 6 Era oyo atuula okulamula alimuwa omwoyo gw’obwenkanya, n’abo abaziyiza abalabe ababa bazze okulumba ku mulyango alibawa amaanyi.+

 7 Ne bano bawaba olw’omwenge;

Emyenge gyabwe gibaleetera okutagala.

Kabona ne nnabbi bawaba olw’omwenge;

Omwenge gubatabulatabula,

Era batagala olw’omwenge gwabwe;

Okwolesebwa kwabwe kubawabya,

Era tebasalawo bulungi.+

 8 Emmeeza zaabwe zijjudde ebisesemye

—Biri buli wamu.

 9 Bagamba nti: “Ani gw’anaayigiriza,

Era ani gw’anannyonnyola obubaka?

Abo abaakava ku mata?

Abo abaakaggibwa ku mabeere?

10 Kubanga buli kiseera agamba nti: ‘Kiragiro ku kiragiro, kiragiro ku kiragiro,

Lunyiriri ku lunyiriri, lunyiriri ku lunyiriri,*+

Wano katono, na wali katono.’”

11 Alyogera n’abantu bano ng’akozesa abo abananaagira era aboogera olulimi olugwira.+ 12 Lumu yabagamba nti: “Kino kye kifo eky’okuwummuliramu. Oyo akooye k’awummule; kino kye kifo eky’okuddiramu obuggya,” naye ne bagaana okuwuliriza.+ 13 N’olwekyo ekigambo kya Yakuwa gye bali kiriba kiti:

“Kiragiro ku kiragiro, kiragiro ku kiragiro,

Lunyiriri ku lunyiriri, lunyiriri ku lunyiriri,*+

Wano katono, na wali katono,”

Ne kiba nti bwe balitambula,

Balyesittala ne bagwa kya bugazi

Ne bamenyeka era ne bagwa mu mutego ne bakwatibwa.+

14 N’olwekyo muwulire ekigambo kya Yakuwa mmwe abeewaana,

Mmwe abafuga abantu bano abali mu Yerusaalemi,

15 Kubanga mugamba nti:

“Twakola endagaano n’Okufa,+

Era twalagaana n’amagombe.*

Mukoka ow’amaanyi bw’alikulugguka,

Talitutuukako,

Kubanga obulimba twabufuula kiddukiro kyaffe

Era mu bulimba mwe twekwese.”+

16 N’olwekyo bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:

“Laba nteeka mu Sayuuni ejjinja eryagezesebwa, libeere omusingi,+

Ejjinja ery’omuwendo ery’oku nsonda,+ ery’omusingi omunywevu.+

Tewali n’omu alikkiririzaamu alitiitiira.+

17 Obwenkanya ndibufuula omuguwa ogupima+

N’obutuukirivu ndibufuula ekikozesebwa okupima obutereevu bw’ekintu.*+

Omuzira gulisaanyaawo ekiddukiro eky’obulimba,

Era amazzi galyanjaala mu kifo eky’okwekwekamu.

18 Endagaano gye mwakola n’Okufa erijjululwa,

Era endagaano gye mwakola n’amagombe* eriggwaawo.+

Mukoka ow’amaanyi bw’alikulugguka,

Alibasesebbula.

19 Buli lw’alikulugguka,

Alibatwala;+

Kubanga alikulugguka buli ku makya,

Alikulugguka emisana n’ekiro.

Ntiisa yokka y’eribaleetera okutegeera ebyawulirwa.”*

20 Kubanga ekitanda kimpi nnyo omuntu okukyegololerako,

N’eky’okwebikka kifunda nnyo omuntu okukyezingamu.

21 Yakuwa aliyimuka nga bwe yakola ku Lusozi Perazimu;

Aligolokoka nga bwe yakola mu kiwonvu okumpi ne Gibiyoni,+

Asobole okukola ekikolwa kye—ekikolwa kye ekitali kya bulijjo—

Era asobole okukola omulimu gwe—omulimu gwe ogutali gwa bulijjo.+

22 Kale nno temuseka,+

Enjegere ezibasibye zireme okwongera okunywezebwa,

Kubanga mpulidde okuva eri Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye

Nti kisaliddwawo nti ensi eno yonna* egenda kuzikirizibwa.+

23 Mutege amatu muwulire eddoboozi lyange;

Musseeyo omwoyo muwulirize kye ŋŋamba.

24 Omulimi amala ekiseera kyonna ng’atema amavuunike,

Ng’akabala era ng’akuba ettaka naye n’atasiga nsigo?+

25 Bw’amala okuttaanya ettaka,

Tamansa kkumino omuddugavu era n’asiga kkumino,

Era tasimba eŋŋaano n’obulo ne ssayiri mu bifo byabyo

N’eŋŋaano endala*+ ku nsalosalo?

26 Katonda ayigiriza* omuntu ekkubo ettuufu;

Katonda we amuyigiriza.+

27 Kubanga kkumino omuddugavu tebamuwuula nga bakozesa ekyuma ekiwuula,+

Era nnamuziga y’ekigaali teyisibwa ku kkumino.

Wabula kkumino omuddugavu awuulibwa na muggo,

Ne kkumino naye awuulibwa na muggo.

28 Omuntu asekula emmere ey’empeke okusobola okukolamu omugaati?

Nedda, tagiwuula butaddiriza;+

Era bw’agiyisaako nnamuziga y’ekigaali kye ng’akozesa embalaasi,

Tagibetenta.+

29 Kino nakyo kiva eri Yakuwa ow’eggye,

Awa amagezi ag’ekitalo

Era akola ebintu eby’ekitalo.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share