LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Zabbuli 64
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okuwonyezebwa enkwe ezisalibwa mu kyama

        • “Katonda ajja kubalasa” (7)

Zabbuli 64:1

Marginal References

  • +Zb 55:1

Zabbuli 64:2

Marginal References

  • +Zb 56:6; 109:2

Zabbuli 64:5

Footnotes

  • *

    Oba, “Buli omu akubiriza munne okukola ebibi.”

Marginal References

  • +Zb 10:4, 11; 59:7

Zabbuli 64:6

Marginal References

  • +Zb 140:5

Zabbuli 64:7

Marginal References

  • +Zb 7:11, 12

Zabbuli 64:8

Marginal References

  • +Nge 12:13; 18:7

Zabbuli 64:9

Marginal References

  • +Zb 107:40, 43

Zabbuli 64:10

Footnotes

  • *

    Oba, “kwenyumiriza.”

Marginal References

  • +Zb 58:10; 68:2, 3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    12/2018, lup. 29-31

General

Zab. 64:1Zb 55:1
Zab. 64:2Zb 56:6; 109:2
Zab. 64:5Zb 10:4, 11; 59:7
Zab. 64:6Zb 140:5
Zab. 64:7Zb 7:11, 12
Zab. 64:8Nge 12:13; 18:7
Zab. 64:9Zb 107:40, 43
Zab. 64:10Zb 58:10; 68:2, 3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Zabbuli 64:1-10

Zabbuli

Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.

64 Ai Katonda, wulira eddoboozi lyange nga nkwegayirira.+

Kuuma obulamu bwange nneme okutya omulabe.

 2 Mponya enkwe ababi ze basala mu kyama,+

Mponya ekibinja ky’abakozi b’ebibi.

 3 Olulimi lwabwe baluwagala ng’ekitala;

Ebigambo byabwe eby’obukambwe babireega ng’obusaale,

 4 Okulasa ataliiko musango nga basinziira mu bifo gye beekweka;

Bamulasa mangu ddala awatali kutya.

 5 Banywerera ku bigendererwa byabwe ebibi;*

Bateesa ku ngeri gye bayinza okukweka emitego gyabwe.

Bagamba nti: “Ani anaagiraba?”+

 6 Banoonyayo engeri endala ez’okukolamu ebibi;

Basala enkwe mu kyama,+

Ebirowoozo ebiri mu mutima gwa buli omu ku bo tebitegeerekeka.

 7 Naye Katonda ajja kubalasa;+

Mangu ddala akasaale kajja kubafumita.

 8 Olulimi lwabwe lujja kubaleetera okugwa;+

Abo bonna abanaakiraba bajja kunyeenya emitwe.

 9 Abantu bonna bajja kutya;

Bajja kulangirira Katonda by’akoze,

Era bajja kutegeera ebikolwa bye.+

10 Omutuukirivu ajja kusanyuka olw’ebyo Yakuwa by’amukoledde era ajja kuddukira gy’ali;+

Abo bonna abalina omutima omugolokofu bajja kujaganya.*

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share