LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yokaana 13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yesu anaaza abayigirizwa be ebigere (1-20)

      • Alaga nti Yuda y’agenda okumulyamu olukwe (21-30)

      • Etteeka eriggya (31-35)

        • “Bwe munaayagalananga” (35)

      • Peetero wa kwegaana Yesu (36-38)

Yokaana 13:1

Marginal References

  • +Mat 26:2; Yok 12:23; 17:1
  • +Yok 16:28; 17:11
  • +Yok 15:9; Bef 5:2; 1Yo 3:16

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/1992, lup. 7

Yokaana 13:2

Marginal References

  • +Luk 22:3, 4; Yok 13:27
  • +Mat 26:14-16, 24; Mak 14:10, 11

Yokaana 13:3

Marginal References

  • +Yok 16:28

Yokaana 13:4

Marginal References

  • +Baf 2:5-7

Yokaana 13:5

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 268

    Omuyigiriza, lup. 38-39

Yokaana 13:8

Marginal References

  • +1Ko 6:11; Bef 5:25, 26; Tit 3:5; Beb 10:22

Yokaana 13:11

Marginal References

  • +Yok 6:64

Yokaana 13:13

Marginal References

  • +Mat 23:8

Yokaana 13:14

Marginal References

  • +Luk 22:27
  • +Mat 20:26, 27; Luk 9:48; 22:26; Bar 12:10; 1Pe 5:5

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 268-269

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2002, lup. 23

    Omuyigiriza, lup. 38-39

Yokaana 13:15

Marginal References

  • +Baf 2:5; 1Pe 2:21; 1Yo 2:6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2005, lup. 19

    6/1/1995, lup. 18

Yokaana 13:17

Marginal References

  • +Mat 7:24, 25; Luk 11:28; Yak 1:25

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    9/2018, lup. 4

Yokaana 13:18

Footnotes

  • *

    Obut., “annyimusirizzaako ekisinziiro.”

Marginal References

  • +Yok 17:12
  • +Zb 41:9; Mat 26:23

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 270

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2011, lup. 13

Yokaana 13:19

Marginal References

  • +Yok 14:29; 16:4

Yokaana 13:20

Marginal References

  • +Mat 25:40
  • +Mat 10:40

Yokaana 13:21

Marginal References

  • +Mat 26:21; Mak 14:18; Luk 22:21; Yok 6:70

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 270

Yokaana 13:22

Marginal References

  • +Mat 26:22; Luk 22:23

Yokaana 13:23

Footnotes

  • *

    Obut., “mu kifuba kye.”

Marginal References

  • +Yok 19:26; 20:2

Yokaana 13:25

Marginal References

  • +Yok 21:20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2015, lup. 15

    Yesu—Ekkubo, lup. 270

Yokaana 13:26

Marginal References

  • +Mat 26:23

Yokaana 13:27

Marginal References

  • +Luk 22:3, 4

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 270

Yokaana 13:29

Marginal References

  • +Yok 12:4-6

Yokaana 13:30

Marginal References

  • +Mat 26:20

Yokaana 13:31

Marginal References

  • +Yok 12:23

Yokaana 13:32

Marginal References

  • +Yok 17:1

Yokaana 13:33

Marginal References

  • +Yok 7:34; 8:21

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2003, lup. 22

Yokaana 13:34

Marginal References

  • +Yok 15:9
  • +Lev 19:18; Yok 15:12; 1Se 4:9; Yak 2:8; 1Pe 1:22; 1Yo 3:14

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 18

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 301

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/15/2013, lup. 10-11

    11/15/2009, lup. 20

    2/1/2002, lup. 23

    3/1/1992, lup. 7

    2/1/1990, lup. 13

    12/1/1990, lup. 9

    Emirembe n’Obutebenkevu, lup. 164-165

Yokaana 13:35

Marginal References

  • +Bar 13:8; 1Ko 13:8, 13; 1Yo 4:20

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 18

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 301

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/15/2009, lup. 20

    2/1/2003, lup. 22-23

    3/1/1999, lup. 16

    2/1/1990, lup. 13

    9/1/1988, lup. 12

Yokaana 13:36

Marginal References

  • +Yok 14:3

Yokaana 13:37

Marginal References

  • +Mat 26:33; Mak 14:29; Luk 22:33

Yokaana 13:38

Marginal References

  • +Mat 26:34; Mak 14:30; Luk 22:34; Yok 18:27

General

Yok. 13:1Mat 26:2; Yok 12:23; 17:1
Yok. 13:1Yok 16:28; 17:11
Yok. 13:1Yok 15:9; Bef 5:2; 1Yo 3:16
Yok. 13:2Luk 22:3, 4; Yok 13:27
Yok. 13:2Mat 26:14-16, 24; Mak 14:10, 11
Yok. 13:3Yok 16:28
Yok. 13:4Baf 2:5-7
Yok. 13:81Ko 6:11; Bef 5:25, 26; Tit 3:5; Beb 10:22
Yok. 13:11Yok 6:64
Yok. 13:13Mat 23:8
Yok. 13:14Luk 22:27
Yok. 13:14Mat 20:26, 27; Luk 9:48; 22:26; Bar 12:10; 1Pe 5:5
Yok. 13:15Baf 2:5; 1Pe 2:21; 1Yo 2:6
Yok. 13:17Mat 7:24, 25; Luk 11:28; Yak 1:25
Yok. 13:18Yok 17:12
Yok. 13:18Zb 41:9; Mat 26:23
Yok. 13:19Yok 14:29; 16:4
Yok. 13:20Mat 25:40
Yok. 13:20Mat 10:40
Yok. 13:21Mat 26:21; Mak 14:18; Luk 22:21; Yok 6:70
Yok. 13:22Mat 26:22; Luk 22:23
Yok. 13:23Yok 19:26; 20:2
Yok. 13:25Yok 21:20
Yok. 13:26Mat 26:23
Yok. 13:27Luk 22:3, 4
Yok. 13:29Yok 12:4-6
Yok. 13:30Mat 26:20
Yok. 13:31Yok 12:23
Yok. 13:32Yok 17:1
Yok. 13:33Yok 7:34; 8:21
Yok. 13:34Yok 15:9
Yok. 13:34Lev 19:18; Yok 15:12; 1Se 4:9; Yak 2:8; 1Pe 1:22; 1Yo 3:14
Yok. 13:35Bar 13:8; 1Ko 13:8, 13; 1Yo 4:20
Yok. 13:36Yok 14:3
Yok. 13:37Mat 26:33; Mak 14:29; Luk 22:33
Yok. 13:38Mat 26:34; Mak 14:30; Luk 22:34; Yok 18:27
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yokaana 13:1-38

Yokaana

13 Olw’okuba Yesu yakimanya ng’embaga ey’Okuyitako tennatuuka nti ekiseera kye kyali kituuse+ okuva mu nsi agende eri Kitaawe,+ ababe abaali mu nsi be yali ayagadde, yabaagala okutuukira ddala ku nkomerero.+ 2 Baali bali ku kya kiro, era Omulyolyomi yali amaze okuteeka mu mutima gwa Yuda Isukalyoti,+ mutabani wa Simooni ekirowoozo eky’okulya mu Yesu olukwe.+ 3 Awo Yesu, ng’akimanyi nti Kitaawe yali amukwasizza ebintu byonna, era nti yava eri Katonda era nga gye yali agenda okudda,+ 4 yasituka ku kijjulo n’aggyako ekyambalo kye eky’okungulu n’akissa ebbali. N’akwata ttawulo n’agyesiba mu kiwato,+ 5 n’ateeka amazzi mu bbenseni n’atandika okunaaza abayigirizwa be ebigere era n’abisiimuula ng’akozesa ttawulo gye yali yeesibye. 6 Awo n’atuuka ku Simooni Peetero. Peetero n’amugamba nti: “Mukama wange, ggwe onaaza nze ebigere?” 7 Yesu n’amuddamu nti: “Kye nkola toyinza kukitegeera kati, naye ojja kukitegeera oluvannyuma lw’ebintu bino.” 8 Peetero n’amugamba nti: “Tolinnaaza bigere n’omulundi n’ogumu.” Yesu n’amuddamu nti: “Okuggyako nga nkunaazizza,+ toyinza kuba na mugabo nange.” 9 Simooni Peetero n’amugamba nti: “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka naye nnaaza n’emikono n’omutwe.” 10 Yesu n’amugamba nti: “Oyo aba anaabye aba muyonjo yenna, era aba yeetaaga kunaaba bigere byokka. Era nammwe muli bayonjo, naye si mmwenna.” 11 Yali amanyi omuntu eyali agenda okumulyamu olukwe.+ Eyo ye nsonga lwaki yagamba nti: “Muli bayonjo, naye si mmwenna.”

12 Bwe yamala okubanaaza ebigere n’okwambala ekyambalo kye eky’okungulu, yaddayo n’atuula era n’abagamba nti: “Mutegedde kye mbakoze? 13 Mumpita ‘Muyigiriza,’ era ‘Mukama waffe,’ era muli batuufu okumpita bwe mutyo kubanga ekyo kye ndi.+ 14 Kale, oba nga nze, Mukama wammwe era Omuyigiriza, mbanaazizza ebigere,+ nammwe mugwanidde buli omu okunaazanga ebigere bya munne.+ 15 Mbateereddewo ekyokulabirako; nga bwe nkoze nammwe bwe musaanidde okukola.+ 16 Mazima ddala mbagamba nti omuddu tasinga mukama we, n’oyo eyatumibwa tasinga oyo eyamutuma. 17 Bwe mumanya ebintu bino, muba basanyufu bwe mubikola.+ 18 Soogera ku mmwe mmwenna; mmanyi be nnalonda. Naye ekyawandiikibwa kirina okutuukirira ekigamba nti,+ ‘Oyo eyalyanga ku mmere yange anneefuulidde.’*+ 19 Okuva kati, kino nkibabuulira nga tekinnabaawo, bwe kinaamala okubaawo mulyoke mukkirize nti ye nze.+ 20 Mazima ddala mbagamba nti, oyo asembeza omuntu yenna gwe ntuma, nange aba ansembezza,+ era oyo ansembeza aba asembeza n’Oyo eyantuma.”+

21 Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n’awulira ennaku ey’amaanyi, n’agamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti, omu ku mmwe ajja kundyamu olukwe.”+ 22 Abayigirizwa ne batandika buli omu okutunula ku munne nga tebamanyi gw’ayogerako.+ 23 Omu ku bayigirizwa Yesu gwe yali ayagala ennyo,+ yali agalamidde kumpi naye.* 24 Simooni Peetero n’amuwenyaako n’amugamba nti: “Tubuulire gw’ayogerako.” 25 Omuyigirizwa oyo n’asembera okumpi ne Yesu n’amubuuza nti: “Mukama waffe, ani oyo?”+ 26 Yesu n’amugamba nti: “Y’oyo gwe ŋŋenda okuwa ekitundu ky’omugaati kye ŋŋenda okukoza.”+ Awo bwe yamala okukoza omugaati, n’aguwa Yuda mutabani wa Simooni Isukalyoti. 27 Bwe yamala okuweebwa omugaati, Sitaani n’amuyingiramu.+ Yesu n’amugamba nti: “Ky’okola kikole mu bwangu.” 28 Naye tewali n’omu ku abo abaali batudde ku mmeeza eyamanya ensonga lwaki yali amugambye bw’atyo. 29 Abamu baali balowooza nti okuva Yuda bwe yali abeera n’akasanduuko mwe baaterekanga ssente,+ Yesu yali amugamba nti, “Gula ebintu bye twetaaga ku mbaga,” oba nti abeeko ky’awa abaavu. 30 Bwe yamala okuweebwa omugaati, amangu ago n’afuluma ebweru. Obudde bwali buzibye.+

31 Bwe yamala okufuluma, Yesu n’agamba nti: “Kaakano Omwana w’omuntu agulumiziddwa,+ era ne Katonda agulumiziddwa okuyitira mu ye. 32 Katonda kennyini ajja kumugulumiza,+ era ajja kumugulumiza mangu ddala. 33 Abaana abaagalwa, nkyali nammwe akaseera katono. Mujja kunnoonya; naye nga bwe nnagamba Abayudaaya nti, ‘Gye ŋŋenda temuyinza kujjayo,’+ nammwe ekyo kye mbagamba kati. 34 Mbawa etteeka eriggya, mwagalanenga; nga bwe mbadde mbaagala,+ nammwe bwe muba mwagalana.+ 35 Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange–bwe munaayagalananga.”+

36 Simooni Peetero n’amugamba nti: “Mukama waffe, ogenda wa?” Yesu n’amuddamu nti: “Gye ŋŋenda toyinza kungoberera kati naye ojja kungoberera oluvannyuma.”+ 37 Peetero n’amugamba nti: “Mukama wange, lwaki siyinza kukugoberera kati? Nja kuwaayo obulamu bwange ku lulwo.”+ 38 Yesu n’amugamba nti: “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Mazima ddala nkugamba nti enkoko eneegenda okukookolima leero, ng’omaze okunneegaana emirundi esatu.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share