LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Abakkolinso 1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okulamusa (1, 2)

      • Katonda atubudaabuda mu kubonaabona kwonna (3-11)

      • Pawulo akyusa mu nteekateeka z’olugendo lwe (12-24)

2 Abakkolinso 1:1

Marginal References

  • +Bik 16:1, 2; Baf 2:19, 20
  • +1Se 1:8

2 Abakkolinso 1:3

Marginal References

  • +Yok 20:17
  • +Kuv 34:6; Zb 86:5; Mi 7:18
  • +Is 51:3; Bar 15:5

Indexes

  • Research Guide

    Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana,

    4/2019, lup. 7

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    7/2017, lup. 13, 16

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/15/2011, lup. 23-24

    10/1/2008, lup. 21

    10/1/2008, lup. 7

    3/15/2008, lup. 15

    11/1/1996, lup. 27-28

2 Abakkolinso 1:4

Footnotes

  • *

    Oba, “atuzzaamu amaanyi.”

  • *

    Oba, “kugezesebwa.”

  • *

    Oba, “kugezesebwa.”

Marginal References

  • +Zb 23:4; 2Ko 7:6
  • +Bef 6:21, 22; 1Se 4:18
  • +Bar 15:4; 2Se 2:16, 17

Indexes

  • Research Guide

    Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana,

    4/2019, lup. 7

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/15/2011, lup. 23-24

    10/1/2008, lup. 21

    3/15/2008, lup. 15

    11/1/1996, lup. 27-28

2 Abakkolinso 1:5

Marginal References

  • +1Ko 4:11-13; Bak 1:24

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1996, lup. 28

2 Abakkolinso 1:6

Footnotes

  • *

    Oba, “tugezesebwa.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1996, lup. 28

2 Abakkolinso 1:7

Marginal References

  • +Bar 8:18; 2Ti 2:11, 12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1996, lup. 27, 30

2 Abakkolinso 1:8

Marginal References

  • +Bik 20:18, 19
  • +1Ko 15:32

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/15/2014, lup. 23

    11/1/1996, lup. 30-31

2 Abakkolinso 1:9

Marginal References

  • +2Ko 12:10

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1996, lup. 30-31

2 Abakkolinso 1:10

Marginal References

  • +Zb 34:7, 19; 2Ti 4:18; 2Pe 2:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1996, lup. 30

2 Abakkolinso 1:11

Marginal References

  • +Baf 1:19; Fir 22
  • +Bik 12:5; Bar 15:30-32

2 Abakkolinso 1:12

Marginal References

  • +1Ko 2:4, 5

2 Abakkolinso 1:13

Footnotes

  • *

    Obut., “okutuukira ddala ku nkomerero.”

2 Abakkolinso 1:15

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “musobole okuganyulwa emirundi ebiri.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2014, lup. 30-31

2 Abakkolinso 1:16

Marginal References

  • +1Ko 16:5, 6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2014, lup. 30-31

    10/15/2012, lup. 28-29

2 Abakkolinso 1:17

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2014, lup. 31

2 Abakkolinso 1:19

Footnotes

  • *

    Era ayitibwa Siira.

Marginal References

  • +Bik 18:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2014, lup. 31

2 Abakkolinso 1:20

Marginal References

  • +Bar 15:8
  • +Kub 3:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2014, lup. 31

    12/15/2008, lup. 13

2 Abakkolinso 1:21

Marginal References

  • +1Yo 2:20, 27

2 Abakkolinso 1:22

Marginal References

  • +Bef 4:30
  • +Bar 8:23; 2Ko 5:5; Bef 1:13, 14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    4/2016, lup. 32

    1/2016, lup. 18-19

2 Abakkolinso 1:23

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/15/2012, lup. 28-29

2 Abakkolinso 1:24

Marginal References

  • +Beb 13:17; 1Pe 5:2, 3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/15/2013, lup. 27-28

    2/1/2003, lup. 11

    6/1/1999, lup. 27-28

    9/1/1996, lup. 31

    7/1/1995, lup. 12

    6/1/1995, lup. 9

General

2 Kol. 1:1Bik 16:1, 2; Baf 2:19, 20
2 Kol. 1:11Se 1:8
2 Kol. 1:3Yok 20:17
2 Kol. 1:3Kuv 34:6; Zb 86:5; Mi 7:18
2 Kol. 1:3Is 51:3; Bar 15:5
2 Kol. 1:4Zb 23:4; 2Ko 7:6
2 Kol. 1:4Bef 6:21, 22; 1Se 4:18
2 Kol. 1:4Bar 15:4; 2Se 2:16, 17
2 Kol. 1:51Ko 4:11-13; Bak 1:24
2 Kol. 1:7Bar 8:18; 2Ti 2:11, 12
2 Kol. 1:8Bik 20:18, 19
2 Kol. 1:81Ko 15:32
2 Kol. 1:92Ko 12:10
2 Kol. 1:10Zb 34:7, 19; 2Ti 4:18; 2Pe 2:9
2 Kol. 1:11Baf 1:19; Fir 22
2 Kol. 1:11Bik 12:5; Bar 15:30-32
2 Kol. 1:121Ko 2:4, 5
2 Kol. 1:161Ko 16:5, 6
2 Kol. 1:19Bik 18:5
2 Kol. 1:20Bar 15:8
2 Kol. 1:20Kub 3:14
2 Kol. 1:211Yo 2:20, 27
2 Kol. 1:22Bef 4:30
2 Kol. 1:22Bar 8:23; 2Ko 5:5; Bef 1:13, 14
2 Kol. 1:24Beb 13:17; 1Pe 5:2, 3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Abakkolinso 1:1-24

2 Abakkolinso

1 Nze Pawulo omutume wa Kristo Yesu nga Katonda bwe yayagala, nga ndi wamu ne muganda waffe Timoseewo,+ mpandiikira ab’omu kibiina kya Katonda ekiri mu Kkolinso, awamu n’abatukuvu bonna abali mu Akaya yenna:+

2 Ekisa eky’ensusso n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n’eri Mukama waffe Yesu Kristo bibeere nammwe.

3 Atenderezebwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo,+ Kitaffe ow’okusaasira+ era Katonda ow’okubudaabuda kwonna,+ 4 atubudaabuda* mu kubonaabona* kwaffe kwonna,+ naffe tusobole okubudaabuda+ abo abali mu kubonaabona* okwa buli ngeri nga tuyitira mu kubudaabuda kwe tufuna okuva eri Katonda.+ 5 Nga bwe tubonaabona ennyo olwa Kristo,+ n’okubudaabuda kwe tufuna okuyitira mu Kristo nakwo kungi. 6 Bwe tuba nga tubonaabona,* tubonaabona mmwe musobole okubudaabudibwa n’okulokolebwa; oba bwe tubudaabudibwa, nammwe muba mubudaabudibwa musobole okugumira okubonaabona naffe kwe tuyitamu. 7 Essuubi lye tubalinamu linywevu, nga tukimanyi nti nga bwe mubonaabonera awamu naffe era mujja kubudaabudibwa wamu naffe.+

8 Ab’oluganda, twagala mumanye okubonaabona kwe twayolekagana nakwo mu ssaza ly’e Asiya.+ Twabonaabona nnyo ekisukkiridde, ne kiba nti twali tetumanyi nti tusobola okusigala nga tuli balamu.+ 9 Mu butuufu, muli twawulira nti twali tusaliddwa ogw’okufa. Kino kyali bwe kityo tuleme kussa bwesige mu ffe kennyini, wabula mu Katonda+ azuukiza abafu. 10 Yatuwonya okufa era ajja kutuwonya, era tumulinamu obwesige nti ajja kwongera okutuwonya.+ 11 Nammwe muyinza okutuyamba nga mwegayirira ku lwaffe,+ bangi balyoke beebaze ku lwaffe olw’ekisa ekitulagibwa olw’okusaba kw’abangi.+

12 Ekintu kye twenyumiririzaamu era omuntu waffe ow’omunda ky’atuwaako obujulirwa kye kino, nti mu nsi muno, n’okusingira ddala eri mmwe, tutambulira mu butukuvu era mu bwesimbu obuva eri Katonda nga tetwesigama ku magezi ga bantu,+ wabula ku kisa kya Katonda eky’ensusso. 13 Tubawandiikira ebintu bye musobola okusoma ne mutegeera, era nsuubira mujja kweyongera okubitegeera mu bujjuvu,* 14 nga nammwe bwe mukitegeddeko nti tubaleetera okwenyumiriza era nga nammwe bwe mujja okutuleetera okwenyumiriza ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.

15 N’olwekyo, nga nnina obugumu buno, nnali njagala okusooka okujja gye muli musobole okusanyuka omulundi ogw’okubiri;* 16 kubanga nnayagala okubakyalirako nga ŋŋenda e Masedoniya, oluvannyuma nkomewo gye muli nga nva e Masedoniya era oluvannyuma munsiibule ŋŋende mu Buyudaaya.+ 17 Bwe nnalina ekigendererwa ekyo, nnakitwala ng’ekitali kikulu? Oba ebyo bye nteekateeka okukola, mbiteekateeka ng’omuntu ow’omubiri, ne kiba nti ŋŋamba nti “Yee,” ate oluvannyuma ne ŋŋamba nti “Nedda?” 18 Naye nga Katonda bw’ali omwesigwa, bye twabagamba tebyali nti “yee” ate oluvannyuma ne biba nti “nedda.” 19 Kubanga Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, eyabuulirwa mu mmwe okuyitira mu nze ne Siruvano* ne Timoseewo,+ teyafuuka “yee” ate oluvannyuma n’aba “nedda,” naye mu oyo, “yee” afuuse “yee.” 20 Kubanga ebisuubizo bya Katonda ka bibe bingi kwenkana wa, bifuuse “yee” okuyitira mu oyo.+ N’olwekyo, okuyitira mu ye, Katonda agambibwa nti “Amiina,”+ ekimuleetera okugulumizibwa okuyitira mu ffe. 21 Naye oyo akakasa nti mmwe naffe tuli ba Kristo, era oyo eyatufukako amafuta ye Katonda.+ 22 Atutaddeko akabonero+ era atuwadde obukakafu ku ekyo ekigenda okujja, nga guno gwe mwoyo+ oguli mu mitima gyaffe.

23 Kaakano mpita Katonda okuba omujulirwa wange nti olw’obutaagala mweyongere kunakuwala, ye nsonga lwaki sinnajja Kkolinso. 24 Sigamba nti ffe tulina obuyinza ku kukkiriza kwammwe,+ naye tuli bakozi bannammwe olw’essanyu lyammwe, kubanga muyimiridde lwa kukkiriza kwammwe.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share