LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yokaana 16
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Abayigirizwa ba Yesu bayinza okuttibwa (1-4a)

      • Omwoyo omutukuvu bye gukola (4b-16)

      • Ennaku y’abayigirizwa ya kufuulibwa ssanyu (17-24)

      • Yesu awangula ensi (25-33)

Yokaana 16:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2002, lup. 25

Yokaana 16:2

Marginal References

  • +Yok 9:22
  • +Mat 24:9; Bik 8:1; 12:1, 2; 26:11

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 278

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/1992, lup. 18

Yokaana 16:3

Marginal References

  • +Yok 8:19; 15:20, 21; Bar 10:2; 1Ko 2:8

Yokaana 16:4

Marginal References

  • +Yok 13:19; 14:29

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 278

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/1992, lup. 18

Yokaana 16:5

Marginal References

  • +Yok 7:33; 13:3

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 278

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/1992, lup. 18

Yokaana 16:6

Marginal References

  • +Yok 16:22

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 278

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/1992, lup. 18

Yokaana 16:7

Marginal References

  • +Yok 14:16, 26; 15:26; Bik 2:32, 33

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 278

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/15/2008, lup. 32

    5/1/1993, lup. 17

    9/1/1992, lup. 18

Yokaana 16:8

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 278

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/15/2008, lup. 32

    9/1/1992, lup. 18

Yokaana 16:9

Marginal References

  • +Yok 15:22
  • +Yok 5:37, 38

Yokaana 16:11

Marginal References

  • +Yok 12:31; 14:30

Yokaana 16:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/15/2012, lup. 6-7

Yokaana 16:13

Footnotes

  • *

    Ayogerwako nga “oyo” mu lunyiriri 13 ne 14 ye ‘muyambi’ ayogerwako mu lunyiriri 7. Wadde Yesu yakozesa ekigambo “omuyambi,” ebigambo by’Oluyonaani ebikozesebwa ku mwoyo omutukuvu tebitegeeza muntu.

Marginal References

  • +Yok 16:7
  • +Bik 11:28; 21:10, 11; 1Ti 4:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/15/2008, lup. 32

    9/1/1992, lup. 18

Yokaana 16:14

Marginal References

  • +1Yo 4:2
  • +Yok 15:26; 1Yo 2:27

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/15/2008, lup. 32

Yokaana 16:15

Marginal References

  • +Yok 17:10

Yokaana 16:16

Marginal References

  • +Yok 7:33; 14:19

Yokaana 16:17

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/1992, lup. 18-19

Yokaana 16:20

Marginal References

  • +Mat 28:8; Luk 24:39-41; Yok 20:19, 20

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 278

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/1992, lup. 19

Yokaana 16:22

Marginal References

  • +Luk 24:51, 52

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/1992, lup. 19

Yokaana 16:23

Marginal References

  • +Baf 4:6
  • +Yok 14:13; 15:16; 1Yo 5:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 1 2021 lup. 10

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 17

Yokaana 16:24

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 17

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2008, lup. 9-12

Yokaana 16:27

Marginal References

  • +Yok 14:21
  • +Yok 17:7, 8

Yokaana 16:28

Marginal References

  • +Yok 13:3; Beb 9:24

Yokaana 16:32

Marginal References

  • +Zek 13:7; Mat 26:31; Mak 14:27
  • +Yok 8:29

Yokaana 16:33

Marginal References

  • +Yok 14:27; Bef 2:14
  • +Yok 14:30; Bik 14:22; 1Yo 4:4; 5:4; Kub 3:21

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    4/2021, lup. 4

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    4/2016, lup. 30-31

    Yesu—Ekkubo, lup. 279

    9/1/1992, lup. 19

General

Yok. 16:2Yok 9:22
Yok. 16:2Mat 24:9; Bik 8:1; 12:1, 2; 26:11
Yok. 16:3Yok 8:19; 15:20, 21; Bar 10:2; 1Ko 2:8
Yok. 16:4Yok 13:19; 14:29
Yok. 16:5Yok 7:33; 13:3
Yok. 16:6Yok 16:22
Yok. 16:7Yok 14:16, 26; 15:26; Bik 2:32, 33
Yok. 16:9Yok 15:22
Yok. 16:9Yok 5:37, 38
Yok. 16:11Yok 12:31; 14:30
Yok. 16:13Yok 16:7
Yok. 16:13Bik 11:28; 21:10, 11; 1Ti 4:1
Yok. 16:141Yo 4:2
Yok. 16:14Yok 15:26; 1Yo 2:27
Yok. 16:15Yok 17:10
Yok. 16:16Yok 7:33; 14:19
Yok. 16:20Mat 28:8; Luk 24:39-41; Yok 20:19, 20
Yok. 16:22Luk 24:51, 52
Yok. 16:23Baf 4:6
Yok. 16:23Yok 14:13; 15:16; 1Yo 5:14
Yok. 16:27Yok 14:21
Yok. 16:27Yok 17:7, 8
Yok. 16:28Yok 13:3; Beb 9:24
Yok. 16:32Zek 13:7; Mat 26:31; Mak 14:27
Yok. 16:32Yok 8:29
Yok. 16:33Yok 14:27; Bef 2:14
Yok. 16:33Yok 14:30; Bik 14:22; 1Yo 4:4; 5:4; Kub 3:21
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yokaana 16:1-33

Yokaana

16 “Mbabuulidde ebintu bino muleme kwesittala. 2 Abantu balibagoba mu makuŋŋaaniro.+ Mu butuufu, ekiseera kijja, buli anaabatta+ alowooze nti aweereza Katonda. 3 Naye bajja kukola ebintu ebyo kubanga Kitange tebamumanyi era nange tebammanyi.+ 4 Kyokka mbabuulidde ebintu bino, ekiseera kyabyo bwe kirituuka mujjukire nti nnabibabuulira.+

“Ebintu bino saabibabuulira mu kusooka kubanga nnali nammwe. 5 Naye kaakano ŋŋenda eri Oyo eyantuma;+ kyokka tewali n’omu ku mmwe ambuuza nti, ‘Ogenda wa?’ 6 Naye olw’okuba mbabuulidde ebintu bino, emitima gyammwe gijjudde ennaku.+ 7 Kyokka, mbabuulira mazima nti okugenda kwange kuganyula mmwe. Kubanga bwe siigende omuyambi+ tajja kujja gye muli; naye bwe ŋŋenda nja kumubaweereza. 8 Era oyo bw’anajja ajja kuwa ensi obukakafu obumatiza obukwata ku kibi, ku butuukirivu, ne ku kusala omusango: 9 okusooka, obukwata ku kibi,+ kubanga tebanzikiririzaamu;+ 10 oluvannyuma, obukwata ku butuukirivu, kubanga ŋŋenda eri Kitange era temujja kuddayo kundaba; 11 era oluvannyuma, obukwata ku musango, kubanga omufuzi w’ensi eno asaliddwa omusango.+

12 “Nkyalina ebintu bingi eby’okubabuulira naye temuyinza kubitegeera kati. 13 Naye oyo* bw’anajja, omwoyo ogw’amazima,+ ajja kubawa obulagirizi musobole okutegeera amazima gonna, kubanga tajja kwogera ku bubwe, naye ebintu by’awulira by’ajja okwogera, era ajja kubabuulira ebintu ebirina okujja.+ 14 Oyo ajja kungulumiza+ kubanga ajja kubabuulira by’ajja okufuna okuva gye ndi.+ 15 Ebintu byonna Kitange by’alina byange.+ Eyo ye nsonga lwaki ŋŋambye nti ajja kubabuulira by’ajja okufuna okuva gye ndi. 16 Mu kaseera katono mugenda kuba temukyandaba,+ ate wayitewo akaseera katono mundabe.”

17 Awo abamu ku bayigirizwa be ne bagambagana nti: “Ategeeza ki bw’atugamba nti, ‘Mu kaseera katono mugenda kuba temukyandaba, ate wayitewo akaseera katono mundabe,’ era nti ‘kubanga ŋŋenda eri Kitange’?” 18 Era ne bagamba nti: “Ategeeza ki bw’agamba nti, ‘mu kaseera katono’? Tetutegeera ky’ayogerako.” 19 Yesu yamanya nti baali baagala kumubuuza, kyeyava abagamba nti: “Mwebuuzaganya mmwekka na mmwekka olw’ekyo kye mbagambye nti: ‘Mu kaseera katono mugenda kuba temukyandaba, ate wayitewo akaseera katono mundabe?’ 20 Mazima ddala mbagamba nti, mujja kukaaba era mukube ebiwoobe, naye ensi ejja kusanyuka; mujja kunakuwala, naye ennaku yammwe ejja kufuulibwa ssanyu.+ 21 Omukazi bw’aba azaala aba mu bulumi, kubanga ekiseera kye kiba kituuse; naye bw’amala okuzaala omwana aba takyajjukira bulumi olw’essanyu ly’aba nalyo olw’okuba omuntu azaaliddwa mu nsi. 22 Nammwe kati mulumwa; naye nja kuddamu okubalaba era emitima gyammwe gijja kusanyuka,+ era tewali ajja kubaggyako ssanyu lyammwe. 23 Ku lunaku olwo temugenda kumbuuza kibuuzo kyonna. Mazima ddala mbagamba nti bwe musaba Kitange ekintu kyonna,+ ajja kukibawa mu linnya lyange.+ 24 N’okutuusa kati tewali kintu kye mwali musabye mu linnya lyange. Musabe mujja kuweebwa, essanyu lyammwe liryoke lituukirire.

25 “Ebintu bino mbibabuulidde mu ngero. Ekiseera kijja kutuuka nga sikyayogera nammwe mu ngero, wabula nga mbabuulira butereevu ebifa ku Kitange. 26 Ku lunaku olwo mulisaba Kitange mu linnya lyange; bwe njogera bwe ntyo mba sitegeeza nti nja kubaako kye mbasabira. 27 Kitange kennyini abaagala olw’okuba munjagala+ era mukkirizza nti nnajja kukiikirira Kitange.+ 28 Nnajja kukiikirira Kitange era nnajja mu nsi. Kati nva mu nsi ŋŋenda eri Kitange.”+

29 Abayigirizwa be ne bagamba nti: “Laba! Kati oyogera kaati, toyogerera mu ngero. 30 Kati tumanyi nti omanyi ebintu byonna era nti teweetaaga muntu yenna kukubuuza. Kyetuva tukkiriza nti wava eri Katonda.” 31 Yesu n’abaddamu nti: “Kati mukkiriza? 32 Laba! Ekiseera kijja era kituuse musaasaane buli omu adde ewuwe mundeke nzekka. Naye siri nzekka,+ kubanga Kitange ali nange.+ 33 Mbabuulidde ebintu bino musobole okuba n’emirembe okuyitira mu nze.+ Mujja kubonaabona mu nsi, naye mugume! Nze mpangudde ensi.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share