LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Ekyamateeka 23
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Abatakkirizibwa mu kibiina kya Katonda (1-8)

      • Obuyonjo mu lusiisira (9-14)

      • Omuddu anaabanga adduse (15, 16)

      • Obwamalaaya tebukkirizibwa (17, 18)

      • Okusaba amagoba n’okutuukiriza obweyamo (19-23)

      • Abayise bakkirizibwa okulya ku by’omu nnimiro y’omulala (24, 25)

Ekyamateeka 23:1

Marginal References

  • +Lev 21:18, 20; Is 56:4, 5

Ekyamateeka 23:2

Marginal References

  • +Kuv 20:14; Lev 20:10

Ekyamateeka 23:3

Marginal References

  • +Nek 13:1, 2

Ekyamateeka 23:4

Marginal References

  • +Bal 11:18
  • +Kbl 22:6; Yos 24:9

Ekyamateeka 23:5

Marginal References

  • +Kbl 22:35
  • +Kbl 23:11, 25; 24:10
  • +Ma 7:7, 8

Ekyamateeka 23:6

Marginal References

  • +2Sa 8:2; 12:31

Ekyamateeka 23:7

Marginal References

  • +Lub 25:25, 26; 36:1; Kbl 20:14
  • +Lub 46:6; Lev 19:34; Zb 105:23

Ekyamateeka 23:9

Footnotes

  • *

    Oba, “ekyonoona.”

Marginal References

  • +1Sa 21:5; 2Sa 11:11

Ekyamateeka 23:10

Marginal References

  • +Lev 15:16

Ekyamateeka 23:11

Marginal References

  • +Lev 15:31

Ekyamateeka 23:12

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, kabuyonjo.

Indexes

  • Research Guide

    Essanyu mu Maka, lup. 46-47

Ekyamateeka 23:13

Indexes

  • Research Guide

    Essanyu mu Maka, lup. 46-47

Ekyamateeka 23:14

Marginal References

  • +Lev 26:12
  • +1Pe 1:16

Ekyamateeka 23:16

Marginal References

  • +Kuv 22:21

Ekyamateeka 23:17

Marginal References

  • +Lev 19:29; 21:9; 1Sk 14:24; 2Sk 23:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/1989, lup. 3

Ekyamateeka 23:18

Footnotes

  • *

    Oba, “musaala gwa.”

  • *

    Obut., “ey’embwa.”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/1989, lup. 3

Ekyamateeka 23:19

Marginal References

  • +Kuv 22:25; Lev 25:36, 37; Nek 5:10; Zb 15:5

Ekyamateeka 23:20

Marginal References

  • +Ma 15:6
  • +Nge 28:8
  • +Ma 15:4, 7, 10; Nge 19:17; Luk 6:34, 35

Ekyamateeka 23:21

Marginal References

  • +Bal 11:30, 31; 1Sa 1:11
  • +Yon 2:9
  • +Mub 5:4, 6

Ekyamateeka 23:22

Marginal References

  • +Mub 5:5

Ekyamateeka 23:23

Marginal References

  • +Kbl 30:2; Zb 15:4; Nge 20:25
  • +Bal 11:35; 1Sa 14:24; Mat 5:33

Ekyamateeka 23:24

Marginal References

  • +Mat 6:11; Bar 13:10

Ekyamateeka 23:25

Marginal References

  • +Mat 12:1; Luk 6:1

General

Ma. 23:1Lev 21:18, 20; Is 56:4, 5
Ma. 23:2Kuv 20:14; Lev 20:10
Ma. 23:3Nek 13:1, 2
Ma. 23:4Bal 11:18
Ma. 23:4Kbl 22:6; Yos 24:9
Ma. 23:5Kbl 22:35
Ma. 23:5Kbl 23:11, 25; 24:10
Ma. 23:5Ma 7:7, 8
Ma. 23:62Sa 8:2; 12:31
Ma. 23:7Lub 25:25, 26; 36:1; Kbl 20:14
Ma. 23:7Lub 46:6; Lev 19:34; Zb 105:23
Ma. 23:91Sa 21:5; 2Sa 11:11
Ma. 23:10Lev 15:16
Ma. 23:11Lev 15:31
Ma. 23:14Lev 26:12
Ma. 23:141Pe 1:16
Ma. 23:16Kuv 22:21
Ma. 23:17Lev 19:29; 21:9; 1Sk 14:24; 2Sk 23:7
Ma. 23:19Kuv 22:25; Lev 25:36, 37; Nek 5:10; Zb 15:5
Ma. 23:20Ma 15:6
Ma. 23:20Nge 28:8
Ma. 23:20Ma 15:4, 7, 10; Nge 19:17; Luk 6:34, 35
Ma. 23:21Bal 11:30, 31; 1Sa 1:11
Ma. 23:21Yon 2:9
Ma. 23:21Mub 5:4, 6
Ma. 23:22Mub 5:5
Ma. 23:23Kbl 30:2; Zb 15:4; Nge 20:25
Ma. 23:23Bal 11:35; 1Sa 14:24; Mat 5:33
Ma. 23:24Mat 6:11; Bar 13:10
Ma. 23:25Mat 12:1; Luk 6:1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Ekyamateeka 23:1-25

Ekyamateeka

23 “Omusajja gwe baalaawa nga bamwasa enjagi oba gwe baasalako ebitundu bye eby’ekyama, tajjanga mu kibiina kya Yakuwa.+

2 “Omwana eyazaalibwa ebweru w’obufumbo tajjanga mu kibiina kya Yakuwa;+ n’okutuukira ddala ku mulembe ogw’ekkumi tewabanga n’omu ku bazzukulu be ajja mu kibiina kya Yakuwa.

3 “Omwamoni oba Omumowaabu tajjanga mu kibiina kya Yakuwa;+ n’okutuukira ddala ku mulembe ogw’ekkumi tewabanga n’omu ku bazzukulu baabwe ajja mu kibiina kya Yakuwa, 4 olw’okuba tebaabawa mmere na mazzi bwe mwali mu kkubo nga muva e Misiri+ n’olw’okuba baagulirira Balamu mutabani wa Byoli ow’e Pesoli eky’omu Mesopotamiya okukukolimira.+ 5 Naye Yakuwa Katonda wo yagaana okuwuliriza Balamu;+ era ku lulwo Yakuwa Katonda wo yakyusa ekikolimo okuba omukisa+ kubanga Yakuwa Katonda wo yali akwagala.+ 6 Tobayambanga kubeera mu mirembe oba okuba obulungi ennaku zo zonna.+

7 “Tokyawanga Omwedomu kubanga muganda wo.+

“Tokyawanga Omumisiri kubanga wali mugwira mu nsi ye.+ 8 Bazzukulu baabwe abalizaalibwa bayinza okujja mu kibiina kya Yakuwa.

9 “Bw’onoosiisiranga okulwanyisa abalabe bo, weewalenga ekintu kyonna ekibi.*+ 10 Omusajja bw’anaafuukanga atali mulongoofu olw’okwerooterera ekiro,+ anaagendanga ebweru w’olusiisira. Tayingiranga nate mu lusiisira. 11 Bwe bunaabanga buwungeera, anaanaabanga amazzi, era anaayingiranga mu lusiisira ng’enjuba egwa.+ 12 Wanassibwangawo ekifo eky’okukozesa* ebweru w’olusiisira, era eyo gy’onoogendanga. 13 Onoobanga n’ekifumu mu bintu byo. Bw’onoositamanga ebweru, onookisimisanga ekinnya era oluvannyuma n’obikka ku bubi bwo. 14 Olw’okuba Yakuwa Katonda wo atambulatambula mu lusiisira lwo+ okukununula n’okukugabulira abalabe bo, olusiisira lwo lulina okuba olutukuvu,+ aleme okulaba ekintu kyonna ekitasaana mu ggwe n’alekera awo okugenda naawe.

15 “Omuddu bw’addukanga ku mukama we n’ajja gy’oli, tomuzzangayo eri mukama we. 16 Anaabeeranga naawe mu kifo kyonna ky’anaabanga yeerobozza mu kimu ku bibuga byo, wonna w’anaayagalanga. Tomuyisanga bubi.+

17 “Tewabanga n’omu ku bawala ba Isirayiri oba omwana ow’obulenzi mu Isirayiri afuuka malaaya ow’omu yeekaalu.+ 18 Toleetanga mpeera ya* malaaya omukazi oba eya malaaya omusajja* mu nnyumba ya Yakuwa Katonda wo okusasula obweyamo, kubanga empeera eyo ya muzizo eri Yakuwa Katonda wo.

19 “Bw’owolanga muganda wo ssente, emmere, oba ekintu ekirala kyonna ekiwolwa olw’amagoba, tomuggyangako magoba.+ 20 Omugwira ye oyinza okumuggyako amagoba,+ naye muganda wo tomuggyangako magoba,+ Yakuwa Katonda wo alyoke akuwe omukisa mu byonna by’onookola mu nsi gy’ogenda okutwala.+

21 “Bwe weeyamanga eri Yakuwa Katonda wo,+ tolonzalonzanga kutuukiriza kye weeyama,+ kubanga Yakuwa Katonda wo ajja kukwetaagisa okukituukiriza, era bw’otolikituukiriza, oliba oyonoonye.+ 22 Naye bw’oteeyamenga onoobanga toyonoonye.+ 23 Ky’onoobanga oyogedde okikolanga,+ era otuukirizanga ekyo akamwa ko kye kanaabanga keeyamye okuwaayo eri Yakuwa Katonda wo ng’ekiweebwayo ekya kyeyagalire.+

24 “Bw’ogendanga mu nnimiro ya munno ey’emizabbibu, onoolyanga ezzabbibu nga bw’onoobanga oyagadde, naye tobangako gy’oteeka mu nsawo yo.+

25 “Bw’ogendanga mu musiri gwa munno ogw’emmere ey’empeke, onoganga n’omukono gwo ebirimba ebyengedde, naye emmere ya munno togisalanga na kiwabyo.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share