LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • 1 Abakkolinso 7
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Okubuulirira eri abafumbo n’abatali bafumbo (1-16)

      • Sigala mu mbeera gye walimu ng’oyitibwa (17-24)

      • Abatali bafumbo ne bannamwandu (25-40)

        • Emiganyulo gy’obutaba mufumbo (32-35)

        • Wasa oba fumbirwa “mu Mukama waffe mwokka” (39)

1 Abakkolinso 7:1

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Kwe kugamba, obuteegatta na.

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1996, lup. 7-8

1 Abakkolinso 7:2

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Mu Luyonaani, por·neiʹa. Laba Awanny.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Nge 5:18, 19
  • +Lub 2:24; Beb 13:4

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Essanyu mu Maka, lup. 156-157

1 Abakkolinso 7:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kuv 21:10; 1Ko 7:5

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/15/2011, lup. 17

    11/1/1996, lup. 13

    11/1/1989, lup. 12

    Essanyu mu Maka, lup. 157

1 Abakkolinso 7:4

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1996, lup. 13

1 Abakkolinso 7:5

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/15/2015, lup. 27

    10/15/2011, lup. 17

    11/1/1996, lup. 13

    11/1/1989, lup. 12

    Essanyu mu Maka, lup. 157-158

1 Abakkolinso 7:7

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mat 19:10, 11

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1996, lup. 8

1 Abakkolinso 7:8

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 7:39, 40; 9:5

1 Abakkolinso 7:9

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Se 4:4, 5; 1Ti 5:11, 14

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1991, lup. 6-7

1 Abakkolinso 7:10

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mat 5:32; 19:6

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    12/2018, lup. 13-14

1 Abakkolinso 7:11

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mak 10:11; Luk 16:18

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    12/2018, lup. 13-14

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/15/2012, lup. 11

1 Abakkolinso 7:12

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 7:25, 40

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1996, lup. 18-19

1 Abakkolinso 7:13

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    12/2018, lup. 14

1 Abakkolinso 7:14

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    8/2016, lup. 16

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2006, lup. 28-30

    Emirembe n’Obutebenkevu, lup. 174

1 Abakkolinso 7:15

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Beb 12:14

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    8/2016, lup. 16-17

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/15/2012, lup. 11-12

1 Abakkolinso 7:16

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Pe 3:1, 2

1 Abakkolinso 7:17

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 7:7

1 Abakkolinso 7:18

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 21:20
  • +Bik 10:45; 15:1, 24; Bag 5:2

1 Abakkolinso 7:19

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bag 6:15; Bak 3:11
  • +Mub 12:13; Yer 7:23; Bar 2:25; Bag 5:6; 1Yo 5:3

1 Abakkolinso 7:20

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 7:17

1 Abakkolinso 7:21

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bag 3:28

1 Abakkolinso 7:22

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yok 8:36; Fir 15, 16

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2020

1 Abakkolinso 7:23

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 6:19, 20; Beb 9:12; 1Pe 1:18, 19

1 Abakkolinso 7:25

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “embeerera oba enteeka.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 7:12, 40

1 Abakkolinso 7:26

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1996, lup. 8

1 Abakkolinso 7:27

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mal 2:16; Mat 19:6; Bef 5:33

1 Abakkolinso 7:28

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “embeerera oba enteeka.”

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    7/2020, lup. 3

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    6/2017, lup. 4-6

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/15/2015, lup. 18-19

    10/15/2011, lup. 15-16

    4/15/2008, lup. 20

    5/1/2007, lup. 23

    10/1/2006, lup. 13-14

    11/1/1996, lup. 16

1 Abakkolinso 7:29

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 13:11; 1Pe 4:7

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    8/2016, lup. 17

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2008, lup. 27

    10/1/1999, lup. 20

    11/1/1996, lup. 16

    1/1/1993,

1 Abakkolinso 7:31

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    8/2016, lup. 17

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/15/2015, lup. 20

    11/15/2011, lup. 19

    11/15/2010, lup. 24

    1/15/2008, lup. 17-19

    10/1/2007, lup. 21-22

    2/1/2004, lup. 28-29

    2/1/2003, lup. 4

    11/1/1996, lup. 16

1 Abakkolinso 7:32

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 42

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1996, lup. 9-11

1 Abakkolinso 7:33

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ti 5:8

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 42

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2008, lup. 27

    11/1/1996, lup. 13

1 Abakkolinso 7:34

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ti 5:5

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2008, lup. 27

    11/1/1996, lup. 13-14

    5/1/1988, lup. 5-6

1 Abakkolinso 7:35

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1996, lup. 9-11

    1/1/1993,

1 Abakkolinso 7:36

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mat 19:12; 1Ko 7:28

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 42

    11/1/1996, lup. 11

    1/1/1993, lup. 19-20

    5/1/1988, lup. 6-7

    Essanyu mu Maka, lup. 15-16

1 Abakkolinso 7:37

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mat 19:10, 11

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/15/2011, lup. 17

    5/1/1988, lup. 6-8

1 Abakkolinso 7:38

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 7:32

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 42

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/15/2012, lup. 20

    10/15/2011, lup. 17

    1/1/1993,

    5/1/1988, lup. 3-8

1 Abakkolinso 7:39

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “bwe yeebaka mu kufa.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 7:2
  • +Lub 24:2, 3; Ma 7:3, 4; Nek 13:25, 26; 2Ko 6:14

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 42

    Okusigala mu Kwagala kwa Katonda, lup. 134-135

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2015, lup. 30-32

    1/15/2015, lup. 31-32

    10/15/2011, lup. 15

    3/15/2008, lup. 8

    7/1/2004, lup. 31

    6/1/2001, lup. 15-17

    11/1/1991, lup. 8-13

    12/1/1989, lup. 6

1 Abakkolinso 7:40

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/1988, lup. 9-14

Ebirala

1 Kol. 7:2Nge 5:18, 19
1 Kol. 7:2Lub 2:24; Beb 13:4
1 Kol. 7:3Kuv 21:10; 1Ko 7:5
1 Kol. 7:7Mat 19:10, 11
1 Kol. 7:81Ko 7:39, 40; 9:5
1 Kol. 7:91Se 4:4, 5; 1Ti 5:11, 14
1 Kol. 7:10Mat 5:32; 19:6
1 Kol. 7:11Mak 10:11; Luk 16:18
1 Kol. 7:121Ko 7:25, 40
1 Kol. 7:15Beb 12:14
1 Kol. 7:161Pe 3:1, 2
1 Kol. 7:171Ko 7:7
1 Kol. 7:18Bik 21:20
1 Kol. 7:18Bik 10:45; 15:1, 24; Bag 5:2
1 Kol. 7:19Bag 6:15; Bak 3:11
1 Kol. 7:19Mub 12:13; Yer 7:23; Bar 2:25; Bag 5:6; 1Yo 5:3
1 Kol. 7:201Ko 7:17
1 Kol. 7:21Bag 3:28
1 Kol. 7:22Yok 8:36; Fir 15, 16
1 Kol. 7:231Ko 6:19, 20; Beb 9:12; 1Pe 1:18, 19
1 Kol. 7:251Ko 7:12, 40
1 Kol. 7:27Mal 2:16; Mat 19:6; Bef 5:33
1 Kol. 7:29Bar 13:11; 1Pe 4:7
1 Kol. 7:331Ti 5:8
1 Kol. 7:341Ti 5:5
1 Kol. 7:36Mat 19:12; 1Ko 7:28
1 Kol. 7:37Mat 19:10, 11
1 Kol. 7:381Ko 7:32
1 Kol. 7:39Bar 7:2
1 Kol. 7:39Lub 24:2, 3; Ma 7:3, 4; Nek 13:25, 26; 2Ko 6:14
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
  • 40
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Abakkolinso 7:1-40

1 Abakkolinso

7 Ku bikwata ku bintu bye mwawandiika, kiba kirungi omusajja obutakwata ku* mukazi; 2 naye olw’obwenzi* obuyitiridde, buli musajja abeere ne mukyala we,+ n’omukazi abeere n’omwami we.+ 3 Omwami asasule mukyala we ekimugwanira, n’omukyala naye asasule omwami we ekimugwanira.+ 4 Omukyala tafuga mubiri gwe, wabula omwami we y’agufuga; mu ngeri y’emu, n’omwami naye tafuga mubiri gwe wabula mukyala we y’agufuga. 5 Buli omu tammanga munne, okuggyako nga waliwo ekiseera kye mulagaanye, musobole okufuna ekiseera okusaba era musobole okuddamu okuba awamu, Sitaani alemenga okubakema olw’obuteefuga. 6 Kyokka, kino sikiwa ng’ekiragiro wabula muyinza okukikola. 7 Naye nnandyagadde abantu bonna babeere nga nze. Kyokka, buli muntu alina ekirabo kye+ Katonda kye yamuwa, omu mu ngeri eno, omulala mu ngeri endala.

8 Naye abatali bafumbo ne bannamwandu mbagamba nti, kirungi basigale nga nze.+ 9 Naye bwe baba tebasobola kwefuga, bayingire obufumbo, kubanga okuyingira obufumbo kisinga okufugibwa okwegomba okw’amaanyi.+

10 Abafumbo mbalagira, naye si nze abalagira wabula Mukama waffe, nti omukyala talekanga mwami we.+ 11 Naye bw’amulekanga, tafumbirwanga, oba si ekyo addiŋŋane n’omwami we; n’omwami talekanga mukyala we.+

12 Abalala nze mbagamba, so si Mukama waffe,+ nti ow’oluganda yenna bw’aba n’omukyala atali mukkiriza, naye ng’omukyala oyo mwetegefu okuba naye, tamulekanga; 13 n’omukyala alina omwami atali mukkiriza era ng’omwami oyo mwetegefu okuba naye, tamulekanga. 14 Kubanga omwami atali mukkiriza atukuzibwa lwa mukyala we, n’omukyala atali mukkiriza atukuzibwa lwa wa luganda; singa tekyali bwe kityo abaana bammwe tebandibadde balongoofu, naye kaakano batukuvu. 15 Naye atali mukkiriza bw’asalawo okugenda, muleke agende; muganda waffe oba mwannyinaffe tavunaanyizibwa mu mbeera ng’eyo, naye Katonda yabayita okuba mu mirembe.+ 16 Ggwe omukyala, omanyi otya obanga ojja kulokola omwami wo?+ Oba ggwe omwami, omanyi otya obanga ojja kulokola mukyala wo?

17 Buli omu atambule nga Yakuwa* bwe yamuwa omugabo, era nga Katonda bwe yamuyita.+ Bwe ntyo bwe ndagira ebibiina byonna. 18 Waliwo eyayitibwa nga mukomole?+ Alemenga okufuuka atali mukomole. Waliwo eyayitibwa nga si mukomole? Alemenga okukomolebwa.+ 19 Okukomolebwa si kikulu, n’obutakomolebwa si kikulu,+ ekikulu kwe kukwata ebiragiro bya Katonda.+ 20 Buli muntu asigale mu mbeera gye yayitirwamu.+ 21 Wayitibwa ng’oli muddu? Ekyo tekikweraliikiriza;+ naye bw’oba ng’osobola okufuuka ow’eddembe, kozesa akakisa ako. 22 Omuntu yenna mu Mukama waffe eyayitibwa nga muddu afuna eddembe era aba wa Mukama waffe;+ mu ngeri y’emu, oyo eyayitibwa nga wa ddembe, muddu wa Kristo. 23 Mwagulwa omuwendo munene;+ mulekere awo okubeera abaddu b’abantu. 24 Ab’oluganda, buli muntu embeera gye yayitirwamu, asigale mu mbeera eyo mu maaso ga Katonda.

25 Ku bikwata ku batali bafumbo,* sirina kiragiro kye mbawa kuva eri Mukama waffe, naye mbawa endowooza yange+ ng’oyo eyasaasirwa Mukama waffe nsobole okubeera omwesigwa. 26 N’olwekyo, olw’ebizibu ebiriwo, ndowooza nti kiba kirungi omuntu okusigala nga bw’ali. 27 Wagattibwa n’omukyala? Toyawukana naye.+ Wayawukana n’omukyala? Tonoonya mukyala. 28 Naye ne bw’oyingira obufumbo, oba tokoze kibi. Era omuntu atali mufumbo* bw’ayingira obufumbo aba takoze kibi. Naye abo abayingira obufumbo bajja kubonaabona mu mibiri gyabwe. Naye mmwe mbawonya okubonaabona.

29 Ate era ab’oluganda, mbagamba nti ekiseera ekisigaddeyo kitono.+ N’olwekyo, abo abalina abakyala babe ng’abatabalina, 30 n’abo abakaaba babe ng’abatakaaba, abo abasanyuka babe ng’abatasanyuka, abagula babe ng’abatalina bintu, 31 n’abo abakozesa ensi babe ng’abo abatagikozesa mu bujjuvu; kubanga embeera y’ensi eno ekyukakyuka. 32 Njagala muleme kweraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeeraliikirira ebintu bya Mukama waffe, engeri gy’ayinza okusanyusaamu Mukama waffe. 33 Naye omusajja omufumbo yeeraliikirira bintu bya nsi,+ engeri gy’ayinza okusanyusaamu mukyala we, 34 era aba agabanyiziddwamu. Ate omukazi atali mufumbo oba embeerera, yeeraliikirira bintu bya Mukama waffe,+ asobole okuba omutukuvu mu mubiri ne mu mwoyo. Naye omukazi omufumbo yeeraliikirira bintu bya nsi, engeri gy’ayinza okusanyusaamu omwami we. 35 Kino nkibagamba olw’okubaganyula mmwe, si lwa kubakugira, wabula okubasobozesa okukola ekisaanira n’okuweereza Mukama waffe nga tewali kibataataaganya.

36 Naye omuntu yenna alowooza nti okusigala nga si mufumbo kimuleetera okweyisa mu ngeri etesaana, bw’aba ng’amaze okuyita mu kiseera ekya kabuvubuka, era ng’okuyingira obufumbo kye kintu ekituufu okukola, akole ky’ayagala; aba takoze kibi. Abantu ng’abo bayingire obufumbo.+ 37 Naye singa omuntu yenna aba amaliridde mu mutima gwe, nga talina bwetaavu buno, naye ng’asobola okwefuga, era ng’asazeewo mu mutima gwe okusigala nga si mufumbo, ajja kuba akoze bulungi.+ 38 N’olwekyo, oyo ayingira obufumbo aba akoze bulungi, naye oyo asigala nga si mufumbo y’asingako.+

39 Omukyala aba asibiddwa ng’omwami we akyali mulamu.+ Naye omwami we bw’afa* aba wa ddembe okufumbirwa gw’ayagala, naye mu Mukama waffe mwokka.+ 40 Naye okusinziira ku ndowooza yange, bw’asigala nga bw’ali lw’asinga okuba omusanyufu. Ndi mukakafu nti nnina omwoyo gwa Katonda.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza