LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Bassekabaka 22
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yosiya, kabaka wa Yuda (1, 2)

      • Ebikwata ku kuddaabiriza yeekaalu (3-7)

      • Ekitabo ky’Amateeka kizuulibwa (8-13)

      • Obunnabbi bwa Kuluda (14-20)

2 Bassekabaka 22:1

Marginal References

  • +1Sk 13:2; Yer 1:2; Zef 1:1
  • +2By 34:1, 2
  • +Yos 15:20, 39

2 Bassekabaka 22:2

Marginal References

  • +1Sk 15:5

2 Bassekabaka 22:3

Marginal References

  • +2By 34:8

2 Bassekabaka 22:4

Marginal References

  • +1By 6:13
  • +2Sk 12:4, 5; 2By 24:8
  • +2Sk 12:9; 2By 34:9

2 Bassekabaka 22:5

Footnotes

  • *

    Oba, “abanaddaabiriza enjatika ezirimu.”

Marginal References

  • +2Sk 12:11, 12; 2By 34:10

2 Bassekabaka 22:6

Marginal References

  • +2By 34:11

2 Bassekabaka 22:7

Marginal References

  • +2Sk 12:15; 2By 34:12

2 Bassekabaka 22:8

Marginal References

  • +2Sk 22:3
  • +Ma 31:24-26
  • +2By 34:14, 15

2 Bassekabaka 22:9

Marginal References

  • +2By 34:16-18

2 Bassekabaka 22:10

Marginal References

  • +Ma 31:9

2 Bassekabaka 22:11

Marginal References

  • +2By 34:19-21; Yow. 2:13

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/2000, lup. 30

2 Bassekabaka 22:12

Marginal References

  • +2Sk 25:22; Yer 26:24

2 Bassekabaka 22:13

Marginal References

  • +Ma 4:24; 29:27; 31:17

2 Bassekabaka 22:14

Marginal References

  • +Kuv 15:20; Bal 4:4; Nek 6:14; Luk 2:36; Bik 21:8, 9
  • +2By 34:22-28

2 Bassekabaka 22:16

Marginal References

  • +2Sk 22:8

2 Bassekabaka 22:17

Marginal References

  • +Kuv 20:3; Ma 32:17; Bal 2:12; Yer 2:11
  • +Is 2:8
  • +Ma 32:22; Is 33:14; Yer 7:20; Ezk 20:48

2 Bassekabaka 22:19

Marginal References

  • +1Sk 21:29; Yak 4:6
  • +2Sk 22:11

2 Bassekabaka 22:20

Footnotes

  • *

    Obut., “nja kukukuŋŋaanyiza eri.”

General

2 Bassek. 22:11Sk 13:2; Yer 1:2; Zef 1:1
2 Bassek. 22:12By 34:1, 2
2 Bassek. 22:1Yos 15:20, 39
2 Bassek. 22:21Sk 15:5
2 Bassek. 22:32By 34:8
2 Bassek. 22:41By 6:13
2 Bassek. 22:42Sk 12:4, 5; 2By 24:8
2 Bassek. 22:42Sk 12:9; 2By 34:9
2 Bassek. 22:52Sk 12:11, 12; 2By 34:10
2 Bassek. 22:62By 34:11
2 Bassek. 22:72Sk 12:15; 2By 34:12
2 Bassek. 22:82Sk 22:3
2 Bassek. 22:8Ma 31:24-26
2 Bassek. 22:82By 34:14, 15
2 Bassek. 22:92By 34:16-18
2 Bassek. 22:10Ma 31:9
2 Bassek. 22:112By 34:19-21; Yow. 2:13
2 Bassek. 22:122Sk 25:22; Yer 26:24
2 Bassek. 22:13Ma 4:24; 29:27; 31:17
2 Bassek. 22:14Kuv 15:20; Bal 4:4; Nek 6:14; Luk 2:36; Bik 21:8, 9
2 Bassek. 22:142By 34:22-28
2 Bassek. 22:162Sk 22:8
2 Bassek. 22:17Kuv 20:3; Ma 32:17; Bal 2:12; Yer 2:11
2 Bassek. 22:17Is 2:8
2 Bassek. 22:17Ma 32:22; Is 33:14; Yer 7:20; Ezk 20:48
2 Bassek. 22:191Sk 21:29; Yak 4:6
2 Bassek. 22:192Sk 22:11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Bassekabaka 22:1-20

2 Bassekabaka

22 Yosiya+ yalina emyaka munaana we yafuukira kabaka, era yafugira emyaka 31 mu Yerusaalemi.+ Nnyina yali ayitibwa Yedida, muwala wa Adaya ow’e Bozukasi.+ 2 Yakola ebirungi mu maaso ga Yakuwa, era yatambulira mu makubo ga Dawudi jjajjaawe gonna;+ teyakyuka kudda ku ddyo oba ku kkono.

3 Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Kabaka Yosiya, kabaka yatuma Safani omuwandiisi, mutabani wa Azaliya mutabani wa Mesulamu, mu nnyumba ya Yakuwa,+ ng’agamba nti: 4 “Genda eri Kirukiya+ kabona asinga obukulu, omugambe akuŋŋaanye ssente zonna ezireeteddwa mu nnyumba ya Yakuwa,+ abakuumi b’oku miryango ze bakuŋŋaanyizza ku bantu.+ 5 Bagambe bazikwase abo abaalondebwa okulabirira omulimu ogukolebwa mu nnyumba ya Yakuwa, era abo be bajja okusasula abakozi mu nnyumba ya Yakuwa abanaagiddaabiriza,*+ 6 kwe kugamba, abakugu mu by’emikono, abazimbi, n’abazimbisa amayinja, era bajja kuzikozesa okugula embaawo n’amayinja amateme okuddaabiriza ennyumba.+ 7 Naye temubasaba kunnyonnyola ngeri gye bakozesaamu ssente, kubanga beesigika.”+

8 Oluvannyuma Kirukiya kabona asinga obukulu yagamba Safani omuwandiisi+ nti: “Nzudde ekitabo ky’Amateeka+ mu nnyumba ya Yakuwa.” Awo Kirukiya n’awa Safani ekitabo ekyo, Safani n’atandika okukisoma.+ 9 Safani omuwandiisi n’agenda eri kabaka n’amugamba nti: “Abaweereza bo baggyeeyo ssente ezibadde mu nnyumba ne bazikwasa abo abaalondebwa okulabirira omulimu gw’ennyumba ya Yakuwa.”+ 10 Ate era Safani omuwandiisi n’agamba kabaka nti: “Waliwo ekitabo+ Kirukiya kabona ky’ampadde.” Awo Safani n’atandika okukisomera mu maaso ga kabaka.

11 Kabaka olwawulira ebigambo ebiri mu kitabo ky’Amateeka, n’ayuza ebyambalo bye.+ 12 Awo kabaka n’alagira Kirukiya kabona, ne Akikamu+ mutabani wa Safani, ne Akubooli mutabani wa Mikaaya, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuweereza wa kabaka nti: 13 “Mugende mwebuuze ku Yakuwa ku lwange, ne ku lw’abantu, ne ku lwa Yuda yonna, ebikwata ku bigambo ebiri mu kitabo ekizuuliddwa, kubanga obusungu bwa Yakuwa obutwolekedde bungi,+ olw’okuba bajjajjaffe tebaawuliriza bigambo bya mu kitabo kino, era tebaakola byonna ebyatuwandiikirwa.”

14 Awo Kirukiya kabona ne Akikamu ne Akubooli ne Safani ne Asaya, ne bagenda eri nnabbi Kuluda.+ Kuluda yali mukyala wa Salumu mutabani wa Tikuva mutabani wa Kalukasi, eyali alabirira etterekero ly’ebyambalo. Kuluda yali abeera mu Kitundu Ekipya eky’ekibuga Yerusaalemi; awo ne boogera naye nga bali eyo.+ 15 N’abagamba nti: “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Mugambe omusajja abatumye gye ndi nti: 16 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Nja kuleeta akabi ku kifo kino ne ku bantu abakibeeramu; nja kubaleetako ebigambo byonna ebiri mu kitabo kabaka wa Yuda ky’asomye.+ 17 Olw’okuba banvuddeko, ne banyookereza omukka gwa ssaddaaka eri bakatonda abalala+ okunnyiiza n’ebyo byonna bye bakola n’emikono gyabwe,+ obusungu bwange bujja kubuubuukira ekifo kino era tebujja kukoma.’”+ 18 Naye kabaka wa Yuda abatumye okwebuuza ku Yakuwa mumugambe nti, “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba: ‘Ku bikwata ku bigambo by’owulidde, 19 olw’okuba omutima gwo gubadde mugonvu ne weetoowaza+ mu maaso ga Yakuwa bw’owulidde ebigambo bye njogedde ku kifo kino ne ku bantu abakibeeramu—nti bajja kufuuka ekintu eky’entiisa era ekikolimo—n’oyuza ebyambalo byo+ era n’okaaba amaziga mu maaso gange, nange nkuwulidde, bw’ayogera Yakuwa. 20 Eyo ye nsonga lwaki ojja kugoberera* bajjajjaabo, era ojja kugalamizibwa mu ntaana yo mirembe; amaaso go tegajja kulaba kabi ke ŋŋenda okuleeta ku kifo kino.’”’” Awo ne bagenda ne babibuulira kabaka.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share