LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 14
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ekyeya, enjala, n’ekitala (1-12)

      • Bannabbi ab’obulimba basalirwa omusango (13-18)

      • Yeremiya akkiriza nti abantu boonoonye (19-22)

Yeremiya 14:1

Marginal References

  • +Ma 28:24

Yeremiya 14:2

Marginal References

  • +Yow. 1:10

Yeremiya 14:3

Footnotes

  • *

    Oba, “binnya; nzizi.”

Yeremiya 14:4

Marginal References

  • +Lev 26:20; Ma 28:23

Yeremiya 14:6

Marginal References

  • +Yer 12:4; Yow. 1:18

Yeremiya 14:7

Marginal References

  • +Yos 7:9; Zb 25:11; 115:1, 2
  • +Ezr 9:6; Nek 9:33; Dan 9:5, 8

Yeremiya 14:8

Marginal References

  • +Zb 106:8, 21; Is 45:15

Indexes

  • Research Guide

    Zuukuka!,

    4/22/2004,

Yeremiya 14:9

Marginal References

  • +Kuv 29:45; Ma 23:14
  • +Dan 9:19

Yeremiya 14:10

Marginal References

  • +Yer 2:23
  • +Yer 2:25
  • +Yer 6:20
  • +Kos 8:13

Yeremiya 14:11

Marginal References

  • +Yer 7:16; 11:14

Yeremiya 14:12

Marginal References

  • +Is 1:15; 58:3; Yer 11:11; Ezk 8:18
  • +Is 1:11
  • +Yer 9:16; Ezk 5:12

Yeremiya 14:13

Marginal References

  • +Yer 4:10; 5:31; 6:13, 14; 23:16, 17; 27:8-10; Ezk 13:10; Mi 3:11

Yeremiya 14:14

Marginal References

  • +Yer 23:25, 26; 29:21
  • +Yer 23:21; 27:15
  • +Kuk 2:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/15/2008, lup. 5

Yeremiya 14:15

Marginal References

  • +Yer 5:12, 13; 23:15; Ezk 12:24; 13:9

Yeremiya 14:16

Marginal References

  • +Zb 79:2, 3; Yer 9:22
  • +Yer 4:18

Yeremiya 14:17

Marginal References

  • +Yer 8:18, 21; 9:1
  • +Kuk 1:15

Yeremiya 14:18

Marginal References

  • +Ezk 7:15
  • +Kuk 5:10
  • +Ma 28:36

Yeremiya 14:19

Marginal References

  • +Yer 12:8; Kuk 5:22
  • +2By 36:15, 16
  • +Yer 8:15

Yeremiya 14:20

Marginal References

  • +Ezr 9:7; Dan 9:5, 8

Yeremiya 14:21

Marginal References

  • +Ezk 36:22; Dan 9:15
  • +Kuv 32:13; Lev 26:41, 42; Zb 106:43-45

Yeremiya 14:22

Marginal References

  • +Ma 28:12; Is 30:23; Yow. 2:23

General

Yer. 14:1Ma 28:24
Yer. 14:2Yow. 1:10
Yer. 14:4Lev 26:20; Ma 28:23
Yer. 14:6Yer 12:4; Yow. 1:18
Yer. 14:7Yos 7:9; Zb 25:11; 115:1, 2
Yer. 14:7Ezr 9:6; Nek 9:33; Dan 9:5, 8
Yer. 14:8Zb 106:8, 21; Is 45:15
Yer. 14:9Kuv 29:45; Ma 23:14
Yer. 14:9Dan 9:19
Yer. 14:10Yer 2:23
Yer. 14:10Yer 2:25
Yer. 14:10Yer 6:20
Yer. 14:10Kos 8:13
Yer. 14:11Yer 7:16; 11:14
Yer. 14:12Is 1:15; 58:3; Yer 11:11; Ezk 8:18
Yer. 14:12Is 1:11
Yer. 14:12Yer 9:16; Ezk 5:12
Yer. 14:13Yer 4:10; 5:31; 6:13, 14; 23:16, 17; 27:8-10; Ezk 13:10; Mi 3:11
Yer. 14:14Yer 23:25, 26; 29:21
Yer. 14:14Yer 23:21; 27:15
Yer. 14:14Kuk 2:14
Yer. 14:15Yer 5:12, 13; 23:15; Ezk 12:24; 13:9
Yer. 14:16Zb 79:2, 3; Yer 9:22
Yer. 14:16Yer 4:18
Yer. 14:17Yer 8:18, 21; 9:1
Yer. 14:17Kuk 1:15
Yer. 14:18Ezk 7:15
Yer. 14:18Kuk 5:10
Yer. 14:18Ma 28:36
Yer. 14:19Yer 12:8; Kuk 5:22
Yer. 14:192By 36:15, 16
Yer. 14:19Yer 8:15
Yer. 14:20Ezr 9:7; Dan 9:5, 8
Yer. 14:21Ezk 36:22; Dan 9:15
Yer. 14:21Kuv 32:13; Lev 26:41, 42; Zb 106:43-45
Yer. 14:22Ma 28:12; Is 30:23; Yow. 2:23
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 14:1-22

Yeremiya

14 Bino bye bigambo Yakuwa bye yagamba Yeremiya ku nsonga ey’ebyeya:+

 2 Yuda ekungubaga,+ era enzigi zaayo zimenyesemenyese.

Zigudde ku ttaka nga zinakuwadde,

Era okukaaba kuwuliddwa mu Yerusaalemi.

 3 Bakama baabwe batuma abaweereza baabwe amazzi.

Bagenda ku bidiba* naye tebagasangayo.

Bakomawo ng’ensumbi zaabwe nkalu.

Baswala era banakuwala,

Era beebikka ku mitwe.

 4 Ettaka lyatiseyatise,

Olw’okuba enkuba tetonnya mu nsi,+

Abalimi basobeddwa ne beebikka ku mitwe.

 5 N’empeewo ey’oku ttale erekawo omwana gwayo gwe yaakazaala

Olw’okuba tewali muddo.

 6 Endogoyi ez’omu nsiko ziyimirira ku busozi obutaliiko bimera.

Ziwejjawejja ng’ebibe;

Amaaso gaazo tegakyalaba bulungi olw’okuba tewali muddo.+

 7 Wadde ng’ensobi zaffe zitulumiriza,

Ai Yakuwa, baako ky’okolawo ku lw’erinnya lyo.+

Kubanga ebikolwa byaffe eby’obutali bwesigwa bingi,+

Era twonoonye mu maaso go.

 8 Ai ggwe essuubi lya Isirayiri, Omulokozi we+ mu biseera eby’okulaba ennaku,

Lwaki obeera ng’omugenyi mu nsi?

Lwaki oba ng’omuntu ali ku lugendo akyama awantu n’asulawo olumu?

 9 Lwaki oba ng’omuntu asobeddwa?

Lwaki obeera ng’omusajja ow’amaanyi atasobola kulokola?

Ai Yakuwa, oli mu ffe,+

Era tuyitiddwa erinnya lyo.+

Totwabulira.

10 Bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku bantu bano: “Baagala okubungeeta;+ tebaziyizza bigere byabwe.+ Yakuwa kyava tabasanyukira.+ Kaakano agenda kujjukira ensobi zaabwe era ababonereze olw’ebibi byabwe.”+

11 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Abantu bano tobasabira birungi.+ 12 Bwe basiiba, siwuliriza kwegayirira kwabwe,+ era bwe bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, sibisanyukira,+ era nja kubatta n’ekitala, n’enjala, n’endwadde.”+

13 Awo ne ŋŋamba nti: “Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna! Laba, bannabbi babagamba nti, ‘Temujja kuba na lutalo, wadde enjala, naye Katonda ajja kubawa emirembe egya nnamaddala mu kifo kino.’”+

14 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Bannabbi balagula bya bulimba mu linnya lyange.+ Sibatumye wadde okubalagira wadde okwogera nabo.+ Okwolesebwa okw’obulimba n’eby’obulaguzi ebitagasa, era n’obulimba obuli mu mitima gyabwe bye bababuulira.+ 15 Kale bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku bannabbi abalagula mu linnya lyange wadde nga saabatuma, era abagamba nti tewajja kubaawo lutalo na njala mu nsi eno. ‘Bannabbi abo bajja kufa ekitala n’enjala.+ 16 Era abantu abo abawuliriza bye balagula bajja kufa ekitala n’enjala, emirambo gyabwe gisuulibwe mu nguudo za Yerusaalemi, era tewajja kubaawo abaziika,+ bo ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, ne bawala baabwe, kubanga nja kubatuusaako akabi akabagwanira.’+

17 “Bategeeze ebigambo bino:

‘Amaaso gange ka gakulukuse amaziga emisana n’ekiro; ka galeme kulekera awo,+

Kubanga omuwala embeerera ow’abantu bange akubiddwa nnyo,+

Era alina ekiwundu kinene.

18 Bwe ŋŋenda ku ttale ne ntunula,

Ndaba abo abattiddwa ekitala!+

Bwe nnyingira mu kibuga,

Ndaba endwadde ezireeteddwa enjala!+

Bannabbi ne bakabona babundirabundira mu nsi gye batamanyi.’”+

19 Ai Katonda, weesambidde ddala Yuda, era okyaye Sayuuni?+

Lwaki otukubye, ne tuba nga tetusobola kuwona?+

Waaliwo essuubi ery’okufuna emirembe, naye tewali kirungi ekyajja,

N’essuubi ery’okuwonyezebwa, naye entiisa y’eriwo!+

20 Tukkirizza nti tuli bantu babi nnyo, Ai Yakuwa,

Era tukkirizza n’ensobi za bajjajjaffe,

Kubanga twonoonye mu maaso go.+

21 Totwesamba ku lw’erinnya lyo;+

Tonyooma ntebe yo ey’ekitiibwa.

Jjukira endagaano gye wakola naffe, era togimenya.+

22 Ebifaananyi by’ab’amawanga ebitalina mugaso bisobola okutonnyesa enkuba?

Oba eggulu lisobola okutonnyesa enkuba ku bwalyo?

Ggwe wekka asobola okukikola, Ai Yakuwa Katonda waffe.+

Essuubi lyaffe liri mu ggwe,

Kubanga ggwe wekka akoze ebintu ebyo byonna.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share