LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Olubereberye 23
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okufa kwa Saala n’ekifo w’aziikibwa (1-20)

Olubereberye 23:1

Marginal References

  • +Lub 17:17

Olubereberye 23:2

Marginal References

  • +Yos 14:15
  • +Lub 35:27; Kbl 13:22
  • +Lub 12:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 3 2016 lup. 4

Olubereberye 23:3

Marginal References

  • +Lub 10:15

Olubereberye 23:4

Marginal References

  • +Lub 17:1, 8; Beb 11:9, 13

Olubereberye 23:6

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “oli mukungu mukulu.”

Marginal References

  • +Lub 21:22

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2001, lup. 12

Olubereberye 23:7

Marginal References

  • +1By 1:13

Olubereberye 23:9

Marginal References

  • +Lub 23:15
  • +Lub 25:9, 10; 49:29-33; 50:13, 14

Olubereberye 23:10

Marginal References

  • +Lus 4:1

Olubereberye 23:15

Footnotes

  • *

    Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.

Olubereberye 23:16

Footnotes

  • *

    Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +Bik 7:15, 16

Olubereberye 23:20

Marginal References

  • +Lub 25:9, 10; 49:29-33; 50:13, 14

General

Lub. 23:1Lub 17:17
Lub. 23:2Yos 14:15
Lub. 23:2Lub 35:27; Kbl 13:22
Lub. 23:2Lub 12:5
Lub. 23:3Lub 10:15
Lub. 23:4Lub 17:1, 8; Beb 11:9, 13
Lub. 23:6Lub 21:22
Lub. 23:71By 1:13
Lub. 23:9Lub 23:15
Lub. 23:9Lub 25:9, 10; 49:29-33; 50:13, 14
Lub. 23:10Lus 4:1
Lub. 23:16Bik 7:15, 16
Lub. 23:20Lub 25:9, 10; 49:29-33; 50:13, 14
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Olubereberye 23:1-20

Olubereberye

23 Saala yawangaala emyaka 127.+ 2 Saala n’afiira mu Kiriyasu-aluba,+ kwe kugamba, e Kebbulooni+ mu nsi ya Kanani,+ era Ibulayimu n’akungubagira Saala era n’amukaabira. 3 Ibulayimu n’asituka n’ava awaali omulambo gwa mukazi we n’agamba abaana ba Keesi+ nti: 4 “Ndi mugwira era musenze mu mmwe;+ munguze ekifo mu mmwe eky’okuziikangamu, nzigyewo omuntu wange afudde mmuziike.” 5 Abaana ba Keesi ne baddamu Ibulayimu nti: 6 “Mukama waffe, wulira kye tugamba. Tulaba nti oli mukungu eyalondebwa Katonda.*+ Ziika omuntu wo mu kifo ekisingayo obulungi mu ebyo bye tuziikamu. Tewali n’omu ku ffe ajja kukumma kifo kya kuziikamu muntu wo.”

7 Awo Ibulayimu n’ayimuka n’avunnamira bannansi, abaana ba Keesi,+ 8 n’abagamba nti: “Bwe muba nga munzikiriza okuziika omuntu wange, mumpulirize munneegayiririre Efulooni mutabani wa Zokali 9 anguze empuku ye ey’e Makupeera eri ku nkomerero y’ekibanja kye. Aginguze nga weemuli ku muwendo gwa ffeeza omujjuvu+ nsobole okufuna ekifo eky’okuziikangamu.”+

10 Efulooni yali atudde mu baana ba Keesi. Bw’atyo Efulooni Omukiiti n’addamu Ibulayimu ng’abaana ba Keesi bawulira, ne mu maaso g’abo bonna abaayingira mu mulyango gw’ekibuga,+ n’agamba nti: 11 “Nedda mukama wange! Mpuliriza. Ekibanja nkikuwadde era n’empuku erimu ngikuwadde. Mbikuweeredde mu maaso g’abaana b’abantu bange, oziikemu omuntu wo.” 12 Awo Ibulayimu n’avunnama mu maaso ga bannansi, 13 n’agamba Efulooni ng’abantu bawulira nti: “Mpuliriza! Nja kukuwa omuwendo gwa ffeeza omujjuvu ogw’ekibanja; gukkirize nziikemu omuntu wange.”

14 Awo Efulooni n’addamu Ibulayimu nti: 15 “Mukama wange mpuliriza. Ekibanja kino kya sekeri* za ffeeza 400, naye ekyo si kikulu gye ndi ne gy’oli. Kale ziika omuntu wo.” 16 Awo Ibulayimu n’awuliriza Efulooni, n’apimira Efulooni omuwendo gwa ffeeza gwe yali ayogedde ng’abaana ba Keesi bawulira, kwe kugamba, sekeri* za ffeeza 400 okusinziira ku kipimo ekyali kikkirizibwa abasuubuzi.+ 17 Bwe kityo ne kikakasibwa nti ekibanja kya Efulooni eky’e Makupeera ekiri mu maaso ga Mamule—ekibanja n’empuku, n’emiti gyonna egyakirimu 18 Ibulayimu ye yabigula mu maaso g’abaana ba Keesi, mu maaso g’abo bonna abaali bayingira mu mulyango gw’ekibuga kye. 19 Ebyo bwe byaggwa, Ibulayimu n’aziika mukazi we Saala mu mpuku eri mu kibanja eky’e Makupeera ekiri mu maaso ga Mamule, kwe kugamba, mu Kebbulooni mu nsi ya Kanani. 20 Bwe kityo abaana ba Keesi ne bawa Ibulayimu ekibanja n’empuku eyakirimu okuba ekifo eky’okuziikangamu.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share