Yobu
29 Yobu n’ayongera okwogera, ng’agamba nti:
2 “Singa mbadde nga bwe nnali mu myezi egyayita,
Mu kiseera Katonda we yandabiriranga,
3 Ettaala ye bwe yagimulisanga ku mutwe gwange,
Bwe yammulisanga nga ntambulira mu kizikiza,+
4 Bwe nnali nga nkyali muvubuka,
Katonda bwe yali nga ye mukwano gwange ow’oku lusegere era ng’ali mu weema yange,+
5 Omuyinza w’Ebintu Byonna bwe yali ng’akyali nange,
Nga n’abaana* bange banneetoolodde,
6 Ebigere byange bwe byasaabanga omuzigo,
Nga n’enjazi zinfukira emigga gy’amafuta.+
7 Bwe nnagendanga ku mulyango gw’ekibuga,+
Ne ntuula mu kibangirizi ekya lukale,+
8 Abavubuka bandabanga ne bansegulira,*
N’abasajja abakadde baasitukanga ne bayimirira.+
9 Abakungu tebaayogeranga;
Baakwatanga ku mimwa.
10 Ab’ebitiibwa tebaanyeganga;
Olulimi lwabwe lwakwatiranga ku kibuno kyabwe.
11 Buli eyampuliranga yanjogerangako bulungi,
N’abo abandabanga banjogerangako birungi.
12 Kubanga nnayambanga abaavu abansabanga obuyambi,+
N’omwana atalina kitaawe n’omuntu yenna ataalina amuyamba.+
14 Obutuukirivu nnabwambalanga ng’olugoye;
Obwenkanya bwange bwali ng’ekyambalo* era ng’ekiremba.
15 Nnabanga maaso eri muzibe
Era nnabanga bigere eri omulema.
17 Nnamenyanga emba z’omwonoonyi+
Ne nzigya omuyiggo mu kamwa ke.
19 Emirandira gyange gijja kulanda gituuke awali amazzi,
N’omusulo gujja kubeera ku matabi gange ekiro kyonna.
20 Ekitiibwa kyange kizzibwa buggya buli kiseera,
Era omutego oguli mu mukono gwange gunaalasanga obusaale.’
21 Abantu bantegeranga amatu,
Ne balindirira mu kasirise mbawe amagezi.+
22 Bwe nnamalanga okwogera, tewali kye baayongerangako;
Ebigambo byange byagwanga* mpolampola mu matu gaabwe.
23 Bannindiriranga ng’abalindirira enkuba;
Baamiranga ebigambo byange ng’abamira enkuba eya ttoggo.+
24 Bwe nnabamwenyezanga, nga tebayinza na kukikkiriza;
Essanyu lye nnayolekanga ku maaso lyabazzangamu amaanyi.